2 Samwiri 1 – LCB & HTB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 1:1-27

Dawudi Ategeezebwa Okufa kwa Sawulo

1Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. 2Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.

3Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” 4Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” 5Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”

6Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. 7Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’

8“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’

“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’

9“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’

10“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”

11Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 15Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”

Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani

17Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

19“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!

Ab’amaanyi nga bagudde!

20“Temukyogeranga mu Gaasi,1:20 Gaasi kyali kibuga ky’Abafirisuuti

temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,1:20 Asukulooni kyali kibuga by’Abafirisuuti.

abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,

abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.

21“Mmwe ensozi za Girubowa,

muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,

newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.

Kubanga eyo engabo1:21 Engabo zaakolebwanga mu maliba, ne gasiigibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Omuzigo gwe gwagikuumanga obutavunda, ate era ne guziyiza n’obusaale okuyitamu mu ngabo. Engabo ezoogerebwako wano zaali zisaabye omusaayi nga tezikyayinzika kukozesebwa mu ntalo. ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa

n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.

22Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega

n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,

olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,

n’amasavu g’ab’amaanyi.

23“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,

ne mu kufa tebaayawukana.

Baali bangu okusinga empungu,

era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.

24“Mmwe abawala ba Isirayiri,

mukaabire Sawulo,

eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,

eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

25“Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!

Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.

26Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,

kubanga wali mukwano gwange ddala.

Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,

nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.

27“Ab’amaanyi nga bagudde,

n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

Het Boek

2 Samuel 1:1-27

1Na de dood van Saul bleef David, toen hij terug was van zijn overwinning op de Amalekieten, twee dagen in Sikelag. 2Daar verscheen op de derde dag iemand uit de legerplaats van Saul: zijn kleren waren gescheurd en aarde lag op zijn hoofd. Bij David aangekomen, viel hij ter aarde en boog zich tot op de grond voor hem neer. 3David vroeg hem: Waar komt ge vandaan? Hij antwoordde: Ik ben uit de legerplaats van Saul ontsnapt. 4David zeide tot hem: Vertel me toch, wat er gebeurd is! Hij sprak: Het volk is gevlucht uit de strijd, velen van het volk zijn gesneuveld, en ook Saul en zijn zoon Jonatan zijn dood! 5Toen vroeg David den jongen man, die met die tijding kwam: Hoe weet ge, dat Saul en zijn zoon Jonatan dood zijn? 6En de jonge man, die met die tijding kwam, antwoordde: Heel toevallig was ik op het gebergte Gilbóa. Daar stond Saul, leunend op zijn lans; en de wagens en de ruiters waren al vlak bij hem. 7Hij keek om, en toen hij mij bemerkte, riep hij mij. Ik antwoordde: Hier ben ik. 8Hij vroeg me: Wie zijt ge? Ik antwoordde hem: Ik ben een Amalekiet. 9Hij zeide tot mij: Kom hier, en steek me dood; want een kramp heeft mij beet, ofschoon ik al mijn krachten nog heb. 10Ik ging naar hem toe, en daar ik wist, dat hij zijn val niet zou overleven, stak ik hem dood. Ik nam de diadeem, die op zijn hoofd stond, en de armband, die aan zijn arm hing; ik heb ze meegebracht voor mijn heer. 11Toen greep David zijn klederen en scheurde ze vaneen; en heel zijn gevolg deed eveneens. 12Wenend en vastend rouwden zij tot de avond over Saul en zijn zoon Jonatan, over het volk van Jahweh en het huis Israël, omdat zij door het zwaard waren gevallen. 13Daarop sprak David tot den jongen man, die met die tijding kwam: Wat is uw afkomst? Hij antwoordde: Ik ben de zoon van een vreemdeling uit Amalek. 14David zeide tot hem: Hoe is het dan mogelijk, dat ge er niet voor zijt teruggeschrokken, uw hand uit te steken en den gezalfde van Jahweh te doden! 15Daarop gaf David aan een van de soldaten het bevel: Kom hier, sla hem neer! Deze sloeg hem dood, 16terwijl David tot hem sprak: Uw bloed kome neer op uw eigen hoofd; ge hebt uw eigen oordeel geveld met te zeggen: Ik heb den gezalfde van Jahweh gedood! 17Toen dichtte David op Saul en op zijn zoon Jonatan een klaaglied, 18dat de Judeërs op zijn bevel moesten leren. Het staat in het boek van den Rechtvaardige. Hij sprak: 19Op uw hoogten, o Israël, liggen de besten gesneuveld; Ach, hoe zijn nu de helden gevallen! 20Bericht het niet in Gat, Verkondigt het niet in Asjkelons straten; Anders juichen de dochters der Filistijnen, Jubelen de dochters der onbesnedenen! 21Geen dauw en geen regen, bergen van Gilbóa, Dale op uw velden, o bergen des doods; Want daar ligt het schild der helden verroest, Het schild van Saul niet met olie gewreven! 22Zonder het bloed van verslagenen En het vet van helden Week de boog van Jonatan nimmer terug, Keerde het zwaard van Saul niet ledig weer. 23Saul en Jonatan waren bemind en geliefd, In leven en dood niet gescheiden! Ze waren sneller dan adelaars, Sterker dan leeuwen. 24Dochters van Israël, weent over Saul, Die u hulde in karmozijn en batist, En op uw gewaad gouden sieraden hechtte: 25Hoe zijn de helden gevallen in de strijd? Ach Jonatan, ik ben zeer bedroefd om uw dood, 26Om u zo verslagen, Jonatan, mijn broeder! Gij waart mij zo dierbaar, Uw liefde telde ik meer dan de liefde van vrouwen. 27Ach, hoe zijn nu de helden gevallen, Hoe gingen de wapenen verloren!