2 Ebyomumirembe 5 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 5:1-14

1Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.

Essanduuko Ereetebwa mu Yeekaalu

2Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi. 3Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu.

4Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko, 5ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula.

6Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.

7Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. 8Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo. 9Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero. 10Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.

11Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe. 12Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere. 13Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,

kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”

Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire. 14Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

New International Version – UK

2 Chronicles 5:1-14

1When all the work Solomon had done for the temple of the Lord was finished, he brought in the things his father David had dedicated – the silver and gold and all the furnishings – and he placed them in the treasuries of God’s temple.

The ark brought to the temple

2Then Solomon summoned to Jerusalem the elders of Israel, all the heads of the tribes and the chiefs of the Israelite families, to bring up the ark of the Lord’s covenant from Zion, the City of David. 3And all the Israelites came together to the king at the time of the festival in the seventh month.

4When all the elders of Israel had arrived, the Levites took up the ark, 5and they brought up the ark and the tent of meeting and all the sacred furnishings in it. The Levitical priests carried them up; 6and King Solomon and the entire assembly of Israel that had gathered about him were before the ark, sacrificing so many sheep and cattle that they could not be recorded or counted.

7The priests then brought the ark of the Lord’s covenant to its place in the inner sanctuary of the temple, the Most Holy Place, and put it beneath the wings of the cherubim. 8The cherubim spread their wings over the place of the ark and covered the ark and its carrying poles. 9These poles were so long that their ends, extending from the ark, could be seen from in front of the inner sanctuary, but not from outside the Holy Place; and they are still there today. 10There was nothing in the ark except the two tablets that Moses had placed in it at Horeb, where the Lord made a covenant with the Israelites after they came out of Egypt.

11The priests then withdrew from the Holy Place. All the priests who were there had consecrated themselves, regardless of their divisions. 12All the Levites who were musicians – Asaph, Heman, Jeduthun and their sons and relatives – stood on the east side of the altar, dressed in fine linen and playing cymbals, harps and lyres. They were accompanied by 120 priests sounding trumpets. 13The trumpeters and musicians joined in unison to give praise and thanks to the Lord. Accompanied by trumpets, cymbals and other instruments, the singers raised their voices in praise to the Lord and sang:

‘He is good;

his love endures for ever.’

Then the temple of the Lord was filled with the cloud, 14and the priests could not perform their service because of the cloud, for the glory of the Lord filled the temple of God.