2 Ebyomumirembe 32 – LCB & HCV

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 32:1-33

Sennakeribu Atiisatiisa Okulumba Yerusaalemi

1Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira. 2Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi, 3n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola. 4Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?” 5N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi.

6N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti, 7“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. 8Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.

9Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,

10“Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa? 11Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta? 12Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”?

13“ ‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange? 14Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange? 15Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ”

16Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya. 17Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.” 18Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga. 19Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.

20Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. 21Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.

22Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna. 23Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.

Amalala ga Keezeekiya, Obuwanguzi bwe, n’Okufa kwe

24Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero. 25Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. 26Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.

27Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo. 28N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga. 29Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.

30Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga. 31Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.

32Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 33Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.

Hindi Contemporary Version

2 इतिहास 32:1-33

सेनहेरीब द्वारा येरूशलेम पर धमकी

1पूरी विश्वासयोग्यता में हुए इन कामों के पूरा होने पर अश्शूर के राजा सेनहेरीब ने यहूदिया पर हमला कर दिया और उसने गढ़ नगरों को घेर लिया. उसकी योजना इन्हें अपने अधिकार ले लेने की थी. 2जब हिज़किय्याह ने यह देखा कि सेनहेरीब निकट आ गया है और उसका लक्ष्य येरूशलेम पर हमला करने का है, 3अपने अधिकारियों और योद्धाओं के साथ उसने योजना की कि नगर के बाहर के झरनों से जल की आपूर्ति काट दी जाए. इसमें उन्होंने उसकी सहायता की. 4इसके लिए बड़ी संख्या में लोग इकट्ठा हो गए. उन्होंने वे सारे झरने और जल के सोते बंद कर दिए, जो उस क्षेत्र से बह रहे थे. उनका विचार था, “भला क्यों अश्शूर के राजा यहां आकर भारी जल प्राप्‍त करें?” 5तब हिज़किय्याह ने बड़े साहस के साथ सारी टूटी पड़ी शहरपनाह को दोबारा बनवाया, इन पर पहरेदारों की मचानों को बनवाया. इसके अलावा उसने एक और बाहरी शहरपनाह को बनवाया, दावीद के नगर में उसने छतों को मजबूत किया. तब उसने बड़ी मात्रा में हथियारों और ढालों को बनवाया.

6उसने लोगों के ऊपर सैन्य अधिकारी रख दिए और उन्हें नगर द्वार के चौक पर इकट्ठा कर उन्हें प्रोत्साहित करते हुए कहा: 7“मजबूत और साहसी बनो. अश्शूर के राजा के कारण न तो भयभीत हो, और न ही कमजोर बनो और न ही उनका विचार करो, जो बड़ी सेना उसके साथ आई हुई है; क्योंकि वह जो हमारे साथ है, उससे महान है, जो उसके साथ है. 8उसके साथ तो सिर्फ मानवीय हाड़-मांस का हाथ है, किंतु हमारे साथ हैं हमारी सहायता के लिए याहवेह हमारे परमेश्वर कि वह हमारे युद्ध लड़े.” प्रजा ने यहूदिया के राजा हिज़किय्याह की बातों का विश्वास किया.

9कुछ समय बाद अश्शूर के राजा सेनहेरीब ने येरूशलेम को अपने दूत भेजे. इस समय वह अपनी सारी सेनाओं के साथ लाकीश नगर पर घेरा डाले हुए था. उसका संदेश यहूदिया के राजा हिज़किय्याह और येरूशलेम में पड़ाव डाली हुई यहूदिया की सेना के लिए यह था:

10“अश्शूर के राजा सेनहेरीब का संदेश यह है: ऐसा क्या है जिस पर तुम भरोसा किए हुए येरूशलेम के घिरे हुए होने पर भी बैठे हो? 11क्या यह सच नहीं है कि, हिज़किय्याह तुम सभी को यह कहते छलावे में रखे हुए है, ‘याहवेह हमारे परमेश्वर ही हमें अश्शूर के राजा से छुटकारा दिलाएंगे,’ कि वह तुम्हें भूख और प्यास की मृत्यु को सौंप दे? 12क्या यह वही हिज़किय्याह नहीं है, जिसने ऊंचे स्थानों की वेदियों को गिराते हुए यहूदिया और येरूशलेम को कहा था, ‘वेदी एक ही है, तुम्हें जिसके सामने आराधना करना और धूप जलाना है’?

13“क्या तुम जानते नहीं कि मैंने और मेरे पूर्वजों ने दूसरे देशों के लोगों के साथ क्या-क्या किया है? क्या किसी भी देश के देवताओं में यह क्षमता थी कि उन्हें मेरी शक्ति से सुरक्षित रख सके? 14मेरे पूर्वजों द्वारा नाश किए गए राष्ट्रों के उन सभी देवताओं में ऐसा कौन था जो उन्हें मुझसे सुरक्षा प्रदान करेगा? 15अब हिज़किय्याह न तो तुमसे छल कर सके और न तुम्हें इस तरह भटकाए. तुम उसका विश्वास ही मत करो. क्योंकि किसी भी राष्ट्र का कोई भी देवता अपनी प्रजा को न तो मुझसे और न मेरे पूर्वजों से बचा सका है, तो फिर कैसे हो सकता है कि तुम्हारा परमेश्वर मेरे हाथों से तुम्हारी रक्षा कर सके!”

16उसके दूत याहवेह परमेश्वर और उनके सेवक हिज़किय्याह के विरुद्ध बातें करते रहें. 17सेनहेरीब ने याहवेह, इस्राएल के परमेश्वर के प्रति अपमानजनक पत्र भी भेजे. इनमें उसने यह लिखा था, “जैसा विभिन्‍न देशों के देवता उन्हें मुझसे सुरक्षा प्रदान करने में असफल रहे हैं, वैसे ही हिज़किय्याह का परमेश्वर भी उसके लोगों को मुझसे सुरक्षा देने में असफल रहेगा.” 18उन्होंने यह संदेश ऊंची आवाज में येरूशलेम के उन लोगों को, जो इस समय शहरपनाह पर यह सब सुन रहे थे, यहूदियावासियों ही की भाषा में पढ़ सुनाया, कि वे इसके द्वारा उन्हें भयभीत और निराश कर दें और वे नगर पर अधिकार कर लें. 19उन्होंने यह कहते हुए येरूशलेम के परमेश्वर को पृथ्वी के दूसरे राष्ट्रों के देवताओं के बराबर रख दिया था, जो देवता स्वयं उन्हीं के हाथों की रचना थे.

20राजा हिज़किय्याह और आमोज़ के पुत्र भविष्यद्वक्ता यशायाह ने इस विषय पर प्रार्थना की और स्वर्ग की दोहाई दी. 21तब याहवेह ने एक ऐसा स्वर्गदूत भेजा, जिसने अश्शूर राजा की छावनी में जाकर हर एक वीर योद्धा, प्रधान और अधिकारी को मार दिया. तब सेनहेरीब घोर लज्जा में अपने देश को लौट गया. वहां पहुंचकर जब अपने देवता के मंदिर में गया, उसी के कुछ पुत्रों ने उसे तलवार से घात कर दिया.

22इस प्रकार याहवेह ने हिज़किय्याह और येरूशलेम निवासियों को अश्शूर के राजा सेनहेरीब और अन्यों के वार से सुरक्षा प्रदान की और उन्हें चारों ओर से सुरक्षा दी. 23अनेक-अनेक याहवेह के लिए भेंटें लेकर येरूशलेम आने लगे. वे यहूदिया के राजा हिज़किय्याह के लिए उत्तम भेंटें ला रहे थे. इससे इसके बाद सभी राष्ट्रों की दृष्टि में हिज़किय्याह की प्रतिष्ठा बहुत ही बढ़ती चली गई.

हिज़किय्याह का घमण्ड़, विजय और मृत्यु

24कुछ समय बाद हिज़किय्याह घातक रोग से बीमार हो गया. उसने याहवेह से विनती की और याहवेह ने उससे बातें करते हुए उसे चिन्ह दिया. 25मगर घमण्ड़ में हिज़किय्याह ने इस उपकार का कोई बदला न दिया. उसका मन फूल चुका था. इसलिये उस पर और यहूदिया और येरूशलेम पर याहवेह का क्रोध टूट पड़ा. 26तब हिज़किय्याह ने अपने हृदय को नम्र किया, उसने और येरूशलेम वासियों ने; फलस्वरूप याहवेह का प्रकोप हिज़किय्याह के जीवनकाल में हावी न हुआ.

27हिज़किय्याह अब बहुत धनी और प्रतिष्ठित हो चुका था. उसने अपने लिए चांदी, सोने, रत्नों, मसालों, ढालों और सभी प्रकार की कीमती सामग्री के रखने के लिए भंडार बनवाए. 28उसने अनाज, अंगूर के रस और तेल रखने के लिए भंडार-घर बनाए और पशुओं और भेड़ों के लिए पशु-शालाएं और भेड़-शालाएं बनवाई. 29उसने अपने लिए नगर बनवाए और पशु और भेड़ें बड़ी संख्या में इकट्ठा कर ली, क्योंकि परमेश्वर ही ने उसे यह बड़ी सम्पन्‍नता दी थी.

30यह हिज़किय्याह ही का काम था, जो उसने गीहोन नदी के ऊपर के सोते को बंद कर बहाव को दावीद के नगर के पश्चिमी ओर मोड़ दिया था. हिज़किय्याह जिस किसी काम को शुरू करता था, उसमें वह सफल होता था. 31बाबेल के शासकों के राजदूत उससे उसके अद्धुत कामों के बारे में जानने के लिए भेजे गए थे. परमेश्वर ने उसे अकेला इसलिये छोड़ दिया था कि वह उसको परखें, कि वह पहचान जाएं कि हिज़किय्याह के हृदय में हकीकत में है क्या.

32हिज़किय्याह द्वारा किए गए बाकी कामों का और उसके श्रद्धा के कामों का वर्णन आमोज़ के पुत्र यशायाह भविष्यद्वक्ता के दर्शन और राजा नामक पुस्तक में किया गया है. 33हिज़किय्याह हमेशा के लिए अपने पूर्वजों से जा मिला. उन्होंने उसके शव को दावीद के पुत्रों की कब्रों के ऊंचे भाग में रख दिया. उसकी मृत्यु के अवसर पर सारे यहूदिया और येरूशलेम वासियों ने उसे सम्मानित किया. उसके स्थान पर उसका पुत्र मनश्शेह राजा हो गया.