2 Ebyomumirembe 26 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 26:1-23

Uzziya Kabaka wa Yuda

1Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. 2N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.

3Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. 5N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.

6N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. 7Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. 8Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.

9Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. 10Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.

11Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. 12Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. 14Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. 15N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.

16Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 17Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 18ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”

19Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. 20Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.

21Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. 22Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. 23Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.

New International Version – UK

2 Chronicles 26:1-23

Uzziah king of Judah

1Then all the people of Judah took Uzziah,26:1 Also called Azariah who was sixteen years old, and made him king in place of his father Amaziah. 2He was the one who rebuilt Elath and restored it to Judah after Amaziah rested with his ancestors.

3Uzziah was sixteen years old when he became king, and he reigned in Jerusalem for fifty-two years. His mother’s name was Jekoliah; she was from Jerusalem. 4He did what was right in the eyes of the Lord, just as his father Amaziah had done. 5He sought God during the days of Zechariah, who instructed him in the fear26:5 Many Hebrew manuscripts, Septuagint and Syriac; other Hebrew manuscripts vision of God. As long as he sought the Lord, God gave him success.

6He went to war against the Philistines and broke down the walls of Gath, Jabneh and Ashdod. He then rebuilt towns near Ashdod and elsewhere among the Philistines. 7God helped him against the Philistines and against the Arabs who lived in Gur Baal and against the Meunites. 8The Ammonites brought tribute to Uzziah, and his fame spread as far as the border of Egypt, because he had become very powerful.

9Uzziah built towers in Jerusalem at the Corner Gate, at the Valley Gate and at the angle of the wall, and he fortified them. 10He also built towers in the wilderness and dug many cisterns, because he had much livestock in the foothills and in the plain. He had people working his fields and vineyards in the hills and in the fertile lands, for he loved the soil.

11Uzziah had a well-trained army, ready to go out by divisions according to their numbers as mustered by Jeiel the secretary and Maaseiah the officer under the direction of Hananiah, one of the royal officials. 12The total number of family leaders over the fighting men was 2,600. 13Under their command was an army of 307,500 men trained for war, a powerful force to support the king against his enemies. 14Uzziah provided shields, spears, helmets, coats of armour, bows and slingstones for the entire army. 15In Jerusalem he made devices invented for use on the towers and on the corner defences so that soldiers could shoot arrows and hurl large stones from the walls. His fame spread far and wide, for he was greatly helped until he became powerful.

16But after Uzziah became powerful, his pride led to his downfall. He was unfaithful to the Lord his God, and entered the temple of the Lord to burn incense on the altar of incense. 17Azariah the priest with eighty other courageous priests of the Lord followed him in. 18They confronted King Uzziah and said, ‘It is not right for you, Uzziah, to burn incense to the Lord. That is for the priests, the descendants of Aaron, who have been consecrated to burn incense. Leave the sanctuary, for you have been unfaithful; and you will not be honoured by the Lord God.’

19Uzziah, who had a censer in his hand ready to burn incense, became angry. While he was raging at the priests in their presence before the incense altar in the Lord’s temple, leprosy26:19 The Hebrew for leprosy was used for various diseases affecting the skin; also in verses 20, 21 and 23. broke out on his forehead. 20When Azariah the chief priest and all the other priests looked at him, they saw that he had leprosy on his forehead, so they hurried him out. Indeed, he himself was eager to leave, because the Lord had afflicted him.

21King Uzziah had leprosy until the day he died. He lived in a separate house26:21 Or in a house where he was relieved of responsibilities – leprous, and excluded from the temple of the Lord. Jotham his son had charge of the palace and governed the people of the land.

22The other events of Uzziah’s reign, from beginning to end, are recorded by the prophet Isaiah son of Amoz. 23Uzziah rested with his ancestors and was buried near them in a cemetery that belonged to the kings, for people said, ‘He had leprosy.’ And Jotham his son succeeded him as king.