2 Ebyomumirembe 19 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 19:1-11

1Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. 2Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako. 3Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”

Yekosafaati Alonda Abalamuzi

4Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. 5N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe. 6N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. 7Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

8Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu. 9N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu. 10Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.

11“Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”

New Russian Translation

2 Паралипоменон 19:1-11

1Когда Иосафат, царь Иудеи, благополучно вернулся в свой дворец в Иерусалиме, 2провидец Ииуй, сын Ханани, вышел ему навстречу и сказал царю:

– Разве следовало тебе помогать нечестивцу и любить тех, кто ненавидит Господа? За это на тебе Господень гнев. 3Есть, однако, в тебе и доброе, потому что ты очистил землю от столбов Ашеры и отдал сердце тому, чтобы искать Бога.

Иосафат обновляет судебный порядок

4Иосафат жил в Иерусалиме. Он опять начал путешествовать среди народа от Вирсавии до нагорий Ефрема и обращать их к Господу, Богу их отцов. 5Он назначил судей в стране, в каждом из укрепленных городов Иудеи. 6Он сказал им:

– Внимательно смотрите за тем, что вы делаете, потому что вы судите не от имени людей, но от имени Господа, Который будет с вами всякий раз, как вы выносите приговор. 7Итак, пусть будет у вас страх перед Господом. Судите осмотрительно, потому что у Господа, нашего Бога, нет ни несправедливости, ни пристрастия, ни подкупа.

8И в Иерусалиме Иосафат тоже назначил некоторых из левитов, священников и глав израильских семейств творить Господень суд. Возвратившись в Иерусалим19:8 Или: «и решать тяжбы между горожанами»., 9он повелел им:

– Вы должны служить верно и от всего сердца, в страхе перед Господом. 10Во всяком деле, какое поступит к вам от ваших соплеменников, живущих в своих городах, – будь то кровопролитие или вопросы Закона, повелений, установлений и правил, – вы должны предостерегать их не грешить против Господа, иначе Его гнев падет на вас и на ваших сородичей. Поступайте так, и вы не согрешите.

11Первосвященник Амария будет у вас главным во всяком деле, которое касается Господа, Зевадия, сын Исмаила, правитель дома Иуды, будет у вас главным во всяком деле, которое касается царя, а левиты будут у вас сановниками. Действуйте смело, и пусть будет Господь с теми, кто творит добро.