2 Bassekabaka 24 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 24:1-20

1Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. 2Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. 3Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, 4ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.

5Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 6Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. 7Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.

Yekoyakini Kabaka wa Yuda

8Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.

10Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 12Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 13Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. 14N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.

15Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 16Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 17Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.

Zeddekiya, Kabaka wa Yuda

18Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola. 20Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge.

Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

New International Reader’s Version

2 Kings 24:1-20

1During Jehoiakim’s rule, Nebuchadnezzar marched into the land and attacked it. He was king of Babylon. He became Jehoiakim’s master for three years. But then Jehoiakim decided he didn’t want to remain under Nebuchadnezzar’s control. 2The Lord sent robbers against Jehoiakim from Babylon, Aram, Moab and Ammon. He sent them to destroy Judah. That’s what the Lord had said would happen. He had spoken that message through his servants the prophets. 3These things happened to Judah in keeping with what the Lord had commanded. He brought enemies against his people in order to remove them from his land. He removed them because of all the sins Manasseh had committed. 4Manasseh had spilled the blood of many people who weren’t guilty of doing anything wrong. In fact, he spilled so much of their blood that he filled Jerusalem with it. So the Lord refused to forgive him.

5The other events of the rule of Jehoiakim are written down. Everything he did is written in the official records of the kings of Judah. 6Jehoiakim joined the members of his family who had already died. Jehoiakim’s son Jehoiachin became the next king after him.

7The king of Egypt didn’t march out from his own country again. That’s because the king of Babylon had taken so much of his territory. It reached from the Wadi of Egypt all the way to the Euphrates River.

Jehoiachin King of Judah

8Jehoiachin was 18 years old when he became king. He ruled in Jerusalem for three months. His mother’s name was Nehushta. She was the daughter of Elnathan. She was from Jerusalem. 9Jehoiachin did what was evil in the eyes of the Lord. He did just as his father Jehoiakim had done.

10At that time the officers of Nebuchadnezzar, the king of Babylon, marched to Jerusalem. They surrounded it and got ready to attack it. 11Nebuchadnezzar himself came up to the city. He arrived while his officers were attacking it. 12Jehoiachin, the king of Judah, handed himself over to Nebuchadnezzar. Jehoiachin’s mother did the same thing. And so did all his attendants, nobles and officials.

The king of Babylon took Jehoiachin away as his prisoner. It was in the eighth year of Nebuchadnezzar’s rule. 13Nebuchadnezzar removed the treasures from the Lord’s temple. He also removed the treasures from the royal palace. He cut up the gold objects that Solomon, the king of Israel, had made for the temple. That’s what the Lord had announced would happen. 14Nebuchadnezzar took all the people of Jerusalem to the land of Babylon as prisoners. That included all the officers and fighting men. It also included all the skilled workers. The total number of prisoners was 10,000. Only the poorest people were left in the land.

15Nebuchadnezzar took Jehoiachin to Babylon as his prisoner. He also took the king’s mother from Jerusalem to Babylon. And he took Jehoiachin’s wives, his officials and the most important people of the land. 16The king also forced the whole army of 7,000 soldiers to go away to the land of Babylon. Those men were strong and able to go to war. And the king forced 1,000 skilled workers to go to Babylon. 17Nebuchadnezzar made Jehoiachin’s uncle Mattaniah king in his place. And Nebuchadnezzar changed Mattaniah’s name to Zedekiah.

Zedekiah King of Judah

18Zedekiah was 21 years old when he became king. He ruled in Jerusalem for 11 years. His mother’s name was Hamutal. She was the daughter of Jeremiah. She was from Libnah. 19Zedekiah did what was evil in the eyes of the Lord. He did just as Jehoiakim had done. 20The enemies of Jerusalem and Judah attacked them because the Lord was angry. In the end the Lord threw them out of his land.

The Fall of Jerusalem

Zedekiah also refused to remain under the control of Nebuchadnezzar.