2 Bassekabaka 23 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 23:1-37

Endagaano Eragaanibwa buggya

1Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 2N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira. 3Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.

4Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri23:4 Beseri kye kifo awasinzibwanga Mukama Katonda mu biro eby’edda (Lub 28:19). Ekifo ekyo bakabaka ba Isirayiri baasinzizangayo balubaale (1Bk 12:25-29). 5N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. 6N’aggya empagi ya Asera23:6 Empagi ya Asera yali ezikirizibbwa Keezeekiya, kyokka Manase n’agizzaawo mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. 7Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.

8Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. 9Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.

10Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.

Amasabo n’Ebyoto Bimenyebwamenyebwa

15Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.

17Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.

Okukuuma Embaga ey’Okuyitako

21Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. 25Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.

26Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala. 27Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.” 28Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

29Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo. 30Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka.

Yekoyakaazi kabaka wa Yuda

31Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32N’akola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola. 33Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya. 34Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira. 35Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.

Yekoyakimu, Kabaka wa Yuda

36Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.

La Bible du Semeur

2 Rois 23:1-37

Le renouvellement de l’alliance avec l’Eternel

(2 Ch 34.29-32)

1Le roi Josias fit convoquer auprès de lui tous les responsables de Juda et de Jérusalem. 2Puis il monta au temple de l’Eternel accompagné de toute la population de Juda et de tous les habitants de Jérusalem, des prêtres, des prophètes et de tous les gens du peuple, quelle que fût leur condition sociale. Devant tous, il lut tout ce qui était écrit dans le livre de l’alliance que l’on avait retrouvé dans le temple de l’Eternel. 3Le roi se tenait sur une estrade. Il conclut devant l’Eternel une alliance par laquelle il s’engagea à être fidèle à l’Eternel et à obéir à ses commandements, à ses lois et à ses ordonnances, de tout son cœur et de tout son être, et à respecter toutes les clauses de l’alliance figurant dans ce livre. De son côté, tout le peuple adhéra à cette alliance.

La réforme en Juda

(2 Ch 34.3-7, 33)

4Ensuite le roi ordonna au grand-prêtre Hilqiya, aux prêtres adjoints et aux prêtres qui surveillaient l’entrée du Temple de jeter hors du sanctuaire de l’Eternel tous les objets qu’on avait fabriqués pour le culte de Baal, d’Ashéra et des astres du ciel. Ils furent brûlés à l’extérieur de Jérusalem, dans les champs de la vallée du Cédron, et l’on transporta leur cendre à Béthel23.4 Lieu d’un ancien sanctuaire (Gn 28.19) où les rois d’Israël avaient installé le centre de leur culte idolâtre (1 R 12.25-29).. 5Le roi destitua les prêtres idolâtres institués par les rois de Juda pour brûler l’encens sur les hauts lieux dans les villes de Juda et près de Jérusalem. Il destitua aussi ceux qui offraient des parfums à Baal, au soleil, à la lune, aux étoiles et à tous les astres. 6Il fit ôter du temple de l’Eternel le pieu sacré de la déesse Ashéra23.6 Ce pieu sacré détruit par Ezéchias (18.4) fut rétabli par Manassé (21.7). A la fin de sa vie, il s’en défit sans doute (2 Ch 33.15), mais son fils Amôn a dû le réinstaller (2 R 21.21 ; 2 Ch 33.22). et on le fit transporter hors de Jérusalem dans la vallée du Cédron, où on le brûla et le réduisit en cendres que l’on jeta dans la fosse commune. 7Le roi fit démolir les maisons des prostitués sacrés qui se trouvaient dans le temple de l’Eternel, et où les femmes tissaient des robes pour Ashéra. 8Il fit venir tous les prêtres des villes de Juda. Il profana les hauts lieux depuis Guéba jusqu’à Beer-Sheva23.8 C’est-à-dire de l’extrême nord (à 10 kilomètres de Jérusalem) à l’extrême sud (à 70 kilomètres au sud-ouest) du royaume de Juda. où les prêtres brûlaient des parfums. Il fit aussi démolir les sanctuaires construits près des portes des villes, en particulier celui qui se trouvait à l’entrée de la porte de Josué, le gouverneur de la ville, et qui était sur la gauche en entrant par la porte de la ville. 9On ne permit pas aux prêtres des hauts lieux d’officier à l’autel de l’Eternel à Jérusalem, ils furent seulement autorisés à manger du pain sans levain avec les autres prêtres.

10Le roi profana aussi le brûloir de Topheth qui se trouvait dans la vallée de Ben-Hinnom, pour que personne ne brûle plus son fils ou sa fille pour l’offrir en sacrifice à Molok. 11Il fit disparaître de l’entrée du temple de l’Eternel les chevaux que les rois de Juda avaient dédiés au culte du soleil et qui se trouvaient près de la salle du chambellan Netân-Mélek, situé dans les annexes ; il fit aussi brûler les chars du soleil. 12Le roi fit abattre les autels qui se trouvaient sur la terrasse des appartements d’Ahaz et que les rois de Juda avaient érigés, ainsi que ceux que Manassé avait bâtis dans les deux parvis du temple de l’Eternel. Après les avoir mis en pièces, il les enleva de là et en fit disperser les débris dans la vallée du Cédron. 13Il profana également les sanctuaires des hauts lieux situés en face de Jérusalem, à droite de la montagne de la Destruction23.13 Désignation de l’extrémité sud du mont des Oliviers à cause du culte idolâtre qui y avait été pratiqué. Voir 1 R 11.7., et qui avaient été érigés par Salomon, roi d’Israël, en l’honneur d’Astarté, l’abominable idole des Sidoniens, de Kemosh, l’abominable dieu des Moabites et de Milkom, l’abominable divinité des Ammonites. Il les profana tous. 14Josias brisa les stèles, renversa les pieux sacrés d’Ashéra et remplit d’ossements humains les emplacements sacrés qu’ils occupaient.

La réforme en Israël

15Il fit de même à Béthel23.15 Voir v. 4 et note., où il détruisit l’autel qui se trouvait dans le haut lieu construit par Jéroboam, fils de Nebath, le roi qui avait entraîné le peuple d’Israël dans le péché. Il détruisit cet autel et le haut lieu, brûla le pieu sacré d’Ashéra et incendia le haut lieu pour le réduire en cendres. 16A cette occasion, regardant autour de lui, Josias vit les tombes qui se trouvaient là sur la montagne, alors il fit exhumer les ossements des tombes et les brûla sur l’autel pour le profaner ; il accomplit ainsi la parole de l’Eternel que l’homme de Dieu avait proclamée et qui annonçait ces événements. 17Puis il demanda : Quel est ce monument que je vois là ?

Les gens de la ville lui répondirent : C’est la tombe de l’homme de Dieu qui était venu de Juda et qui a annoncé que se produirait ce que tu viens de faire à l’autel de Béthel.

18– Alors, laissez-le, dit le roi. Que personne ne touche à ses ossements.

On respecta donc les ossements de ce prophète ainsi que ceux du prophète qui était venu de Samarie23.18 Voir 1 R 13.29-31..

19Josias démolit aussi tous les bâtiments des hauts lieux qui avaient été construits par les rois d’Israël dans les villes de la Samarie et qui avaient irrité l’Eternel. Il agit à leur égard exactement comme il l’avait fait à Béthel. 20Il fit exécuter tous les prêtres des hauts lieux qui se trouvaient là en les immolant sur leurs propres autels, puis il y brûla des ossements humains. Ensuite, il retourna à Jérusalem.

La célébration de la Pâque

(2 Ch 35.1, 18-19)

21Là-dessus, le roi ordonna à tout le peuple : Célébrez la Pâque en l’honneur de l’Eternel votre Dieu, comme cela est prescrit dans ce livre de l’alliance23.21 Voir Dt 16.1-8..

22De fait, aucune Pâque pareille à celle-ci n’avait été célébrée depuis l’époque où les chefs gouvernaient Israël et durant toute la période des rois d’Israël et des rois de Juda. 23Ce fut seulement la dix-huitième année23.23 En 622 av. J.-C. du règne de Josias que l’on célébra cette Pâque en l’honneur de l’Eternel à Jérusalem.

La réforme n’empêchera pas la destruction de Jérusalem

24Josias fit aussi disparaître du pays de Juda et de Jérusalem ceux qui évoquaient les esprits des morts et ceux qui prédisaient l’avenir23.24 Voir Lv 19.26-31 ; 2 R 21.6. Ces pratiques occultes étaient liées aux cultes païens., il fit détruire les statuettes sacrées, les idoles et tous les autres objets de culte païens, pour faire respecter les articles de la Loi contenus dans le livre que le prêtre Hilqiya avait retrouvé dans le temple de l’Eternel. 25Aucun roi avant Josias ne revint comme lui à l’Eternel de tout son cœur, de tout son être et de toutes ses forces, en observant toute la Loi de Moïse ; et après lui, il n’en a point paru de semblable.

26Néanmoins, l’Eternel n’abandonna pas la grande et ardente colère dans laquelle il était entré contre Juda, à cause des nombreux crimes par lesquels Manassé l’avait irrité. 27C’est pourquoi il décida : Je chasserai aussi Juda loin de moi, comme j’ai chassé Israël, et je rejetterai cette ville, Jérusalem, que j’avais choisie, ainsi que le temple où j’avais promis d’établir ma présence23.27 Voir 1 R 8.29..

La fin de Josias

(2 Ch 35.20 à 36.1)

28Les autres faits et gestes de Josias et toutes ses réalisations sont cités dans le livre des Annales des rois de Juda.

29Sous son règne, le pharaon Néko, roi d’Egypte23.29 le pharaon Néko, roi d’Egypte: il a régné de 610 à 595 av. J.-C. Il s’était mis en campagne pour aller prêter main-forte aux Assyriens en guerre contre les Babyloniens., alla rejoindre le roi d’Assyrie près de l’Euphrate. Le roi Josias essaya de lui barrer la route, mais dans l’affrontement, le pharaon le tua à Meguiddo23.29 Josias a tenté d’arrêter Néko au défilé de Meguiddo par souci de garantir l’indépendance du pays (2 Ch 35.20-24).. 30Ses officiers mirent son corps sur un char, le ramenèrent de Meguiddo à Jérusalem et l’enterrèrent dans son tombeau. Le peuple du pays prit Yoahaz, fils de Josias, et l’établit roi par l’onction pour succéder à son père sur le trône.

Le règne de Yoahaz sur Juda

(2 Ch 36.2-4)

31Yoahaz avait vingt-trois ans à son avènement et il régna trois mois à Jérusalem23.31 En 609 av. J.-C. Plus jeune qu’Elyaqim (v. 34 ; voir 1 Ch 3.15), Yoahaz a dû être préféré à son frère à cause des tendances pro-égyptiennes de celui-ci. Voir Jr 22.11-12.. Sa mère s’appelait Hamoutal, elle était fille de Jérémie de Libna. 32Il fit ce que l’Eternel considère comme mal, tout comme ses ancêtres. 33Le pharaon Néko le fit prisonnier et l’enchaîna à Ribla23.33 Petit village syrien sur l’Oronte où Néko avait établi son quartier général (comme Nabuchodonosor le fera plus tard : 25.6, 20). dans le pays de Hamath, mettant ainsi fin à son règne à Jérusalem. Il imposa au pays un tribut de trois mille quatre cents kilos d’argent et trente-quatre kilos d’or. 34Le pharaon Néko établit Elyaqim, fils de Josias, comme roi à la place de son père. Il changea son nom en celui de Yehoyaqim. Quant à Yoahaz, il fut emmené en Egypte23.34 Voir Jr 22.10-12.. C’est là qu’il mourut.

35Yehoyaqim versa au pharaon l’or et l’argent exigés. Pour être en mesure de le faire, il fit estimer les ressources de chaque habitant du pays et leva un impôt calculé suivant la fortune de chacun.

Le règne de Yehoyaqim sur Juda

(2 Ch 36.5-8)

36Yehoyaqim avait vingt-cinq ans à son avènement, et il régna onze ans à Jérusalem23.36 609 à 598 av. J.-C.. Sa mère s’appelait Zeboudda, elle était fille de Pedaya de Rouma. 37Il fit ce que l’Eternel considère comme mal, tout comme ses ancêtres23.37 Pour les v. 36-37, voir Jr 22.18-19 ; 26.1-6..