2 Bassekabaka 20 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 20:1-21

Okulwala kwa Keezeekiya

1Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”

2Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, 3“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.

4Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, 5“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. 6Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

7Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.

8Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”

9Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”

10Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”

11Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.

Obusirusiru bwa Keezeekiya

12Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

14Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”

15Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”

N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”

16Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”

19Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”

20Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.

O Livro

2 Reis 20:1-21

A doença de Ezequias

(2 Cr 32.24; Is 38.1-8, 21-22)

1Ezequias adoeceu gravemente, ficando às portas da morte. O profeta Isaías veio visitá-lo. “Põe todos os teus assuntos em ordem”, disse-lhe Isaías, “e prepara-te para morreres. O Senhor manda dizer-te que não recuperarás a saúde.”

2Ezequias voltou-se para o lado da parede e orou assim ao Senhor: 3“Ó Senhor, lembra-te de como eu tenho sido honesto e sincero contigo e como procurei obedecer a tudo o que tens dito!” E começou a chorar intensamente.

4Antes que o profeta tivesse deixado o pátio do palácio, o Senhor tornou a falar-lhe: 5“Volta para trás e vai ter com Ezequias, o chefe do meu povo; diz-lhe que o Senhor, o Deus do seu antepassado David, ouviu a sua oração e viu as lágrimas que verteu. Curá-lo-ei; daqui a três dias levantar-se-á da cama e estará no templo! 6Acrescentarei 15 anos à sua vida e salvarei esta cidade do rei da Assíria. Tudo isto será feito para glória do meu próprio nome e por amor do meu servo David.”

7Isaías mandou preparar uma pomada de figos e aplicou-a sobre a chaga do rei. E ele sarou.

8Entretanto, o rei Ezequias perguntou a Isaías: “Que sinal me dará o Senhor como prova de que me curará e de que estarei em condições de ir ao templo daqui a três dias?”

9Isaías respondeu: “O Senhor vai dar-te uma prova. O que é que preferes? Que a sombra do relógio de Sol avance 10 graus ou que recue 10 graus?”

10“A sombra avançar, isso é o seu movimento normal. Faz com que ela recue.” 11Então o profeta Isaías pediu ao Senhor que fizesse isso e, com efeito, a sombra recuou 10 graus no relógio de sol de Acaz!

Os embaixadores da Babilónia

(Is 39.1-8)

12Pouco tempo depois, Merodaque-Baladã, filho do rei Baladã da Babilónia, enviou embaixadores com cartas e um presente a Ezequias, porque tinha ouvido dizer que estivera muito doente. 13Ezequias apreciou muito este gesto e concedeu-lhes uma audiência, na qual levou os delegados da Babilónia a visitar o seu palácio, mostrando-lhes inclusivamente a casa do tesouro, cheia de peças de prata e de ouro, de especiarias raras e dos melhores perfumes. Levou-os ainda à casa das armas e mostrou-lhes tudo; não lhes escondeu nada; abriu-lhes todas as portas.

14Então o profeta Isaías foi ter com o rei e disse-lhe: “Donde vieram esses homens? Que foi que te disseram?” Ezequias respondeu: “Vieram de muito longe! Vieram da Babilónia!”

15“Que foi que eles viram do teu palácio?”, perguntou Isaías. “Viram tudo! Mostrei-lhes todos os meus tesouros.”

16“Ouve-me!”, disse-lhe Isaías. “Dá atenção à palavra do Senhor: 17Há de vir a altura em que tudo neste palácio será transportado para a Babilónia. Todos os tesouros dos teus antepassados serão levados; nada ficará aqui. 18Alguns dos teus filhos até serão feitos escravos. Sim, eunucos do palácio do rei da Babilónia.”

19“Essa é uma boa notícia da parte do Senhor”, respondeu Ezequias. É que pensou: “Pelo menos, haverá paz e segurança durante a minha vida!”

O fim do reinado de Ezequias

(2 Cr 32.32-33)

20Os outros acontecimentos da história de Ezequias e os seus feitos, incluindo o poço e a conduta que mandou construir para trazer água à cidade, estão escritos no Livro das Crónicas dos Reis de Judá. 21Quando faleceu, o seu filho Manassés ascendeu ao trono.