2 Bassekabaka 15 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 15:1-38

Azaliya Kabaka wa Yuda

1Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda15:1 Ebyo byabaawo mu mwaka 767 bc.. 2Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi. 3Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze. 4Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.

5Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala15:5 Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46), ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu15:5 Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu. mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.

6Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 7Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Zekkaliya Kabaka wa Isirayiri

8Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga. 9N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

10Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka. 11Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 12Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”

13Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. 14Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye. 15Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 16Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.

Menakemu Kabaka wa Isirayiri

17Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya. 18Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

19Awo Puli15:19 Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26) kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka. 20Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.

21Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 22Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Pekakiya Kabaka wa Isirayiri

23Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri. 24Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 25Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.

26Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

Peka Kabaka wa Isirayiri

27Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri. 28Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

29Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli. 30Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.

31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

Yosamu Kabaka wa Yuda

32Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda. 33Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki. 34N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. 35Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.

36Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 37Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya. 38Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Thai New Contemporary Bible

2พงศ์กษัตริย์ 15:1-38

กษัตริย์อาซาริยาห์แห่งยูดาห์

(2พศด.26:3-4,21-23)

1อาซาริยาห์โอรสกษัตริย์อามาซิยาห์แห่งยูดาห์ขึ้นครองราชย์ตรงกับปีที่ยี่สิบเจ็ดของรัชกาลกษัตริย์เยโรโบอัมแห่งอิสราเอล 2เมื่อพระองค์ขึ้นเป็นกษัตริย์ทรงมีพระชนมายุสิบหกพรรษา ทรงครองราชย์อยู่ในกรุงเยรูซาเล็ม 52 ปี ราชมารดาคือเยโคลียาห์จากเยรูซาเล็ม 3พระองค์ทรงทำสิ่งที่ถูกต้องในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้าเช่นเดียวกับอามาซิยาห์ราชบิดา 4แต่สถานบูชาบนที่สูงทั้งหลายยังไม่ได้ถูกทำลายไป ประชากรยังคงถวายเครื่องบูชาและเผาเครื่องหอมที่นั่น

5องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงให้กษัตริย์อาซาริยาห์เป็นโรคเรื้อน15:5 คำภาษาฮีบรูอาจหมายถึงโรคผิวหนังต่างๆ ไม่จำเป็นต้องหมายถึงโรคเรื้อนเท่านั้นจนสิ้นพระชนม์ อาซาริยาห์จึงแยกประทับอยู่ในพระตำหนักต่างหาก15:5 หรืออยู่ในตำหนักซึ่งพระองค์ไม่ต้องรับผิดชอบบ้านเมือง โยธามราชโอรสของพระองค์ทรงดูแลพระราชวังและปกครองประชาชนในแผ่นดินนั้น

6เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลของอาซาริยาห์และพระราชกิจทั้งปวงมีบันทึกไว้ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งยูดาห์ไม่ใช่หรือ? 7อาซาริยาห์ทรงล่วงลับไปอยู่กับบรรพบุรุษและถูกฝังไว้ใกล้ๆ กับพวกเขาในเมืองดาวิด แล้วโยธามโอรสของพระองค์ขึ้นครองราชย์แทน

กษัตริย์เศคาริยาห์แห่งอิสราเอล

8เศคาริยาห์โอรสเยโรโบอัมขึ้นเป็นกษัตริย์แห่งอิสราเอลตรงกับปีที่สามสิบแปดของรัชกาลกษัตริย์อาซาริยาห์แห่งยูดาห์ พระองค์ทรงครองราชย์อยู่ในสะมาเรียหกเดือน 9พระองค์ทรงทำสิ่งที่ชั่วในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้าเช่นเดียวกับบรรพบุรุษ ไม่ได้ทรงหันจากบาปของเยโรโบอัมบุตรเนบัทซึ่งชักนำอิสราเอลให้ทำตาม

10ชัลลูมบุตรยาเบชคิดร้ายและปลงพระชนม์เศคาริยาห์ต่อหน้าประชาชน15:10 สำเนา LXX. บางฉบับว่าที่อิบเลอัม แล้วขึ้นครองราชย์แทน 11เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลเศคาริยาห์บันทึกอยู่ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งอิสราเอล 12จึงเป็นจริงตามที่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับเยฮูว่า “วงศ์วานของเจ้าสี่ชั่วอายุคนจะได้ครองบัลลังก์อิสราเอล”15:12 2พกษ.10:30

กษัตริย์ชัลลูมแห่งอิสราเอล

13ชัลลูมบุตรยาเบชขึ้นครองราชย์ตรงกับปีที่สามสิบเก้าของรัชกาลกษัตริย์อุสซียาห์แห่งยูดาห์ และทรงครองราชย์อยู่ในสะมาเรียหนึ่งเดือน 14จากนั้นเมนาเฮมบุตรกาดีจากเมืองทีรซาห์ขึ้นมายังสะมาเรีย ปลงพระชนม์ชัลลูมแล้วขึ้นครองราชย์แทน

15เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลชัลลูมและการชิงราชบัลลังก์บันทึกอยู่ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งอิสราเอล

16ครั้งนั้นเมนาเฮมยกทัพจากเมืองทีรซาห์เข้าโจมตีเมืองทิฟสาห์และทุกคนในเมืองและละแวกนั้น เนื่องจากชาวเมืองนั้นไม่ยอมเปิดประตูรับ เขาปล้นเมืองทิฟสาห์และผ่าท้องหญิงมีครรภ์ทั้งหมด

กษัตริย์เมนาเฮมแห่งอิสราเอล

17เมนาเฮมบุตรกาดีขึ้นเป็นกษัตริย์แห่งอิสราเอล ตรงกับปีที่สามสิบเก้าของรัชกาลกษัตริย์อาซาริยาห์แห่งยูดาห์ พระองค์ทรงครองราชย์อยู่ในสะมาเรียสิบปี 18เมนาเฮมทรงทำสิ่งที่ชั่วในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้า พระองค์ไม่ได้เลิกทำบาปของเยโรโบอัมบุตรเนบัทซึ่งชักนำอิสราเอลให้ทำตามตลอดรัชกาลของพระองค์

19ต่อมากษัตริย์ปูล15:19 หรือทิกลัทปิเลเสอร์ แห่งอัสซีเรียเข้ารุกราน เมนาเฮมถวายบรรณาการเป็นเงินหนักประมาณ 34 ตัน15:19 ภาษาฮีบรูว่า1,000 ตะลันต์ เพื่อขอการสนับสนุนให้ตนได้ครอบครองอาณาจักรอย่างมั่นคง 20เมนาเฮมทรงรีดเงินจำนวนนี้จากอิสราเอล คนรวยทุกคนต้องจ่ายเงินหนัก 50 เชเขล15:20 1 เชเขล คือเงินหนักประมาณ 11.5 กรัม มีค่าเท่ากับค่าแรงสองเดือนเพื่อจ่ายให้กษัตริย์อัสซีเรีย ดังนั้นกษัตริย์อัสซีเรียจึงถอนทัพกลับไป

21เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลเมนาเฮม พระราชกิจทั้งปวงบันทึกไว้ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งอิสราเอลไม่ใช่หรือ? 22เมนาเฮมทรงล่วงลับไปอยู่กับบรรพบุรุษและเปคาหิยาห์โอรสของพระองค์ขึ้นครองราชย์แทน

กษัตริย์เปคาหิยาห์แห่งอิสราเอล

23เปคาหิยาห์โอรสของเมนาเฮมขึ้นเป็นกษัตริย์แห่งอิสราเอลในสะมาเรียตรงกับปีที่ห้าสิบของรัชกาลกษัตริย์อาซาริยาห์แห่งยูดาห์ พระองค์ทรงครองราชย์อยู่สองปี 24เปคาหิยาห์ทรงทำสิ่งที่ชั่วในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้า พระองค์ไม่ได้ทรงเลิกทำบาปของเยโรโบอัมบุตรเนบัทซึ่งชักนำอิสราเอลให้ทำตาม 25แล้วผู้บัญชาการเปคาห์บุตรเรมาลิยาห์ได้สมคบกับชาวกิเลอาดห้าสิบคน ปลงพระชนม์เปคาหิยาห์ รวมทั้งสังหารอารโกบและอารีเอห์ด้วย เหตุการณ์นี้เกิดขึ้นที่ป้อมชั้นในของพระราชวังที่สะมาเรีย และเปคาห์ขึ้นครองราชย์แทน

26เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลเปคาหิยาห์และพระราชกิจทั้งปวงบันทึกไว้ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งอิสราเอล

กษัตริย์เปคาห์แห่งอิสราเอล

27เปคาห์บุตรเรมาลิยาห์ขึ้นเป็นกษัตริย์แห่งอิสราเอลในสะมาเรียตรงกับปีที่ห้าสิบสองของรัชกาลกษัตริย์อาซาริยาห์แห่งยูดาห์ พระองค์ทรงครองราชย์อยู่ยี่สิบปี 28เปคาห์ทรงทำสิ่งที่ชั่วในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้า พระองค์ไม่ได้ทรงเลิกทำบาปของเยโรโบอัมบุตรเนบัทซึ่งชักนำอิสราเอลให้ทำตาม

29ในรัชกาลกษัตริย์เปคาห์แห่งอิสราเอล กษัตริย์ทิกลัทปิเลเสอร์แห่งอัสซีเรียมายึดเมืองอิโยน อาเบล เบธมาอาคาห์ ยาโนอาห์ เคเดช และฮาโซร์ ทรงยึดกิเลอาด กาลิลี ดินแดนนัฟทาลีทั้งหมด และจับเชลยไปยังอัสซีเรีย 30แล้วโฮเชยาบุตรเอลาห์ก็กบฏและปลงพระชนม์กษัตริย์เปคาห์บุตรเรมาลิยาห์ และขึ้นครองราชย์แทนตรงกับปีที่ยี่สิบของรัชกาลโยธามโอรสของอุสซียาห์

31เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลของเปคาห์บันทึกอยู่ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งอิสราเอลไม่ใช่หรือ?

กษัตริย์โยธามแห่งยูดาห์

(2พศด.27:1-4,7-9)

32โยธามโอรสกษัตริย์อุสซียาห์แห่งยูดาห์ขึ้นครองราชย์ตรงกับปีที่สองของรัชกาลกษัตริย์เปคาห์บุตรเรมาลิยาห์แห่งอิสราเอล 33ขณะนั้นทรงมีพระชนมายุ 25 พรรษาและทรงครองราชย์อยู่ในกรุงเยรูซาเล็มสิบหกปี ราชมารดาคือเยรูชาธิดาของศาโดก 34โยธามทรงทำสิ่งที่ถูกต้องในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้าเช่นเดียวกับอุสซียาห์ราชบิดา 35แต่สถานบูชาบนที่สูงทั้งหลายยังไม่ถูกทำลาย ประชากรยังคงถวายเครื่องบูชาและเผาเครื่องหอมที่นั่น โยธามทรงบูรณะประตูบนของพระวิหารขององค์พระผู้เป็นเจ้า

36เหตุการณ์อื่นๆ ในรัชกาลโยธามและพระราชกิจทั้งปวงบันทึกอยู่ในจดหมายเหตุกษัตริย์แห่งยูดาห์ไม่ใช่หรือ? 37(ในสมัยนั้นองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงใช้กษัตริย์เรซีนแห่งอารัมและกษัตริย์เปคาห์บุตรเรมาลิยาห์มาโจมตียูดาห์) 38โยธามทรงล่วงลับไปอยู่กับบรรพบุรุษและถูกฝังไว้ร่วมกันในเมืองดาวิด ซึ่งเป็นเมืองของบรรพบุรุษ จากนั้นอาหัสโอรสของพระองค์ขึ้นครองราชย์แทน