2 Bassekabaka 1 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 1:1-18

Mukama asalira Akaziya Omusango

1Awo Akabu ng’amaze okufa, ab’omu nsi ya Mowaabu ne bajeemera Abayisirayiri. 2Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi1:2 Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27. bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.

3Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’ 4Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda.

5Oluvannyuma lw’ebyo, ababaka kabaka be yatuma ne baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakomezaawo amangu?”

6Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’ ”

7N’ababuuza nti, “Omusajja oyo gwe musisinkanye abadde afaanana atya?”

8Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.”

Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”

9Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.”

10Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.

11Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p 12Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.

13Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa. 14Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”

15Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.

16Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 17N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali.

Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda. 18Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

Bibelen på hverdagsdansk

2. Kongebog 1:1-18

Konflikten mellem kong Ahazja og Elias

1Efter kong Ahabs død gjorde Moab oprør mod Israels overherredømme. 2Det var, mens Ahazja var konge over Israel.

En dag var Ahazja så uheldig at falde ud af vinduet fra øverste etage i sit palads i Samaria. Han var døden nær, og han sendte derfor nogle folk af sted til Ekron for at spørge filistrenes gud, Ba’al-Zebub, om han ville overleve.

3I mellemtiden havde Herrens engel sagt til profeten Elias fra Tishbe: „Først skal du gå sendebudene fra Samarias konge i møde og stille dem følgende spørgsmål: ‚Findes der ingen Gud i Israel, siden I skal hen og spørge filistrenes gud, Ba’al-Zebub, til råds?’ 4Derefter skal du sige til dem: ‚Gå tilbage til kongen med følgende budskab fra Herren: Du kommer ikke til at rejse dig fra den seng, du ligger i, for du skal dø.’ ” Elias tog straks af sted, traf kongens sendebud og overbragte sit budskab.

5Sendebudene opgav med det samme rejsen og vendte tilbage til kongen, som blev meget overrasket over at se dem så hurtigt.

„Hvorfor er I allerede tilbage?” spurgte han.

6De svarede: „Vi mødte en mand, som sagde, at vi skulle overbringe kongen følgende besked: ‚Hvorfor sender du bud til Ba’al-Zebub, filistrenes gud? Findes der ingen Gud i Israel? Fordi du har handlet sådan, kommer du ikke til at rejse dig fra din seng, for du skal dø.’ ”

7„Hvem var det, der sagde sådan?” spurgte kongen. „Hvordan så han ud?”

8„Det var en mand med en lodden kappe1,8 Det er ikke klart, om teksten her betyder: „en, der er rig på hår” eller „ejer af en lodden kappe”. Jf. Matt. 3,4. og et læderbælte om livet.”

„Det må være profeten Elias,” udbrød kongen 9og sendte straks en officer og 50 soldater af sted for at arrestere ham. De fandt ham siddende på toppen af en klippe. Officeren sagde til ham: „Du Guds profet, kongen befaler, at du kommer med os.”

10Men Elias svarede: „Så sandt jeg er Guds profet, skal der falde ild ned fra himlen og fortære dig og dine 50 soldater.” Så fór Guds ild ned og dræbte dem alle.

11Derpå sendte kongen endnu en officer og 50 soldater af sted for at arrestere ham. „Du Guds profet,” råbte officeren til Elias, „kongen befaler, at du øjeblikkelig kommer ned.”

12Men Elias svarede som før: „Så sandt jeg er Guds profet, skal der falde ild ned fra himlen og fortære dig og dine 50 soldater.” Igen fór Guds ild ned og dræbte dem alle.

13Endnu en gang sendte kongen en officer og 50 soldater af sted. Men denne officer faldt på knæ foran Elias og tryglede ham: „Du Guds profet, skån mig og mine 50 kammerater. 14Vær barmhjertig imod os, så Guds ild ikke dræber os, som det skete med de andre.”

15Da sagde Herrens engel til Elias: „Vær ikke bange, men følg med dem.” Så fulgte han med dem til kongens palads.

16„Hvorfor i alverden sendte du bud til Ba’al-Zebub, filistrenes gud?” spurgte Elias, da de var nået frem til kongen. „Findes der måske ingen Gud i Israel, du kan spørge til råds? Fordi du gjorde det, siger Herren til dig, at du aldrig vil komme til at rejse dig fra din seng, for du skal dø.”

17Kort efter døde kong Ahazja, sådan som Herren havde forudsagt gennem Elias, og hans bror Joram blev konge efter ham, for Ahazja havde ingen sønner til at overtage magten. Det skete i kong Joram af Judas andet regeringsår—den Joram, som var søn af Joshafat. 18Resten af kong Ahazjas liv og virke er beskrevet i Israels kongers krønikebog.