2 Basessaloniika 3 – LCB & NVI

Luganda Contemporary Bible

2 Basessaloniika 3:1-18

Okusabirwanga

1Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, 2tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza. 3Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani. 4Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo. 5Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.

Abalabula Obutagayaalanga

6Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo. 7Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde, 8tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe. 9Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga. 10Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

11Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. 12Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. 13Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

14Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 15So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ng’owooluganda eyetaaga okulabulwa.

Eky’enkomerero

16Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

17Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.

18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.

Nueva Versión Internacional

2 Tesalonicenses 3:1-18

Pablo pide a los tesalonicenses que oren

1Por último, hermanos en la fe, oren por nosotros para que el mensaje del Señor se escuche pronto en todo lugar. Oren para que sea recibido con respeto y aprecio, tal como sucedió entre ustedes. 2Oren además para que seamos protegidos de gente malvada y cruel, porque no todos tienen fe en Dios. 3Pero el Señor es fiel, y él les dará fuerzas. Él los protegerá a ustedes de todo mal. 4El Señor nos da la confianza de que ustedes cumplen y seguirán cumpliendo lo que les hemos ordenado. 5Le pido al Señor que los guíe en cómo amar como Dios ama y cómo resistir los sufrimientos como Cristo lo hizo.

Todos deben trabajar

6Hermanos en la fe, en el nombre del Señor Jesucristo les ordenamos que se aparten de todo hermano en la fe que esté viviendo como un vago. Pues estos no obedecen las enseñanzas que les hemos dado. 7Ustedes mismos saben cómo deben comportarse para seguir nuestro ejemplo. Nosotros no vivimos como vagos entre ustedes, 8ni comimos el pan de nadie sin pagarlo. Al contrario, día y noche trabajamos arduamente y sin descanso para que ninguno de ustedes tuviera que pagar algo por nosotros. 9Y, aunque teníamos derecho a esa ayuda, no la pedimos, para darles buen ejemplo. 10Pues, incluso cuando estábamos con ustedes, les ordenamos: «El que no quiera trabajar, que tampoco coma».

11Nos hemos enterado de que entre ustedes hay algunos que andan de vagos, sin trabajar en nada, y que se meten en lo que no les importa. 12A tales personas les ordenamos y aconsejamos, de parte del Señor Jesucristo, que de manera tranquila se pongan a trabajar para ganarse la vida. 13Ustedes, hermanos en la fe, no se cansen de hacer el bien.

14Si alguno no obedece las instrucciones que les damos en esta carta, no se relacionen con él, para que le dé vergüenza. 15Sin embargo, no lo traten como a un enemigo, sino llámenle la atención como a un hermano.

Saludos finales

16Le pido al Señor que da paz que les dé su paz siempre y en toda situación en que se encuentren, y que él los acompañe siempre.

17Yo, Pablo, escribo este saludo de mi puño y letra. Esta es la manera en que firmo todas mis cartas. Así es como escribo yo.

18Le pido a nuestro Señor Jesucristo que les permita gozar de su amor inmerecido.