2 Basessaloniika 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Basessaloniika 3:1-18

Okusabirwanga

13:1 a 1Bs 4:1 b 1Bs 5:25 c 1Bs 1:8Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, 23:2 Bar 15:31tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza. 33:3 a 1Ko 1:9 b Mat 5:37Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani. 43:4 2Ko 2:3Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo. 53:5 1By 29:18Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.

Abalabula obutagayaalanga

63:6 a 1Ko 5:4 b Bar 16:17 c nny 7, 11 d 1Ko 11:2Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo. 73:7 1Ko 4:16Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde, 83:8 Bik 18:3; Bef 4:28tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe. 93:9 a 1Ko 9:4-14 b nny 7Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga. 103:10 a 1Bs 3:4 b 1Bs 4:11Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

113:11 nny 6, 7; 1Ti 5:13Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. 123:12 a 1Bs 4:1 b 1Bs 4:11; Bef 4:28Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. 133:13 Bag 6:9Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

143:14 nny 6Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 153:15 Bag 6:1; 1Bs 5:14So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ng’owooluganda eyetaaga okulabulwa.

Eky’enkomerero

163:16 a Bar 15:33 b Lus 2:4Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

173:17 1Ko 16:21Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.

18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.