2 Basessaloniika 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Basessaloniika 1:1-12

11:1 Bik 16:1; 1Bs 1:1Nze Pawulo ne Sirwano1:1 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, 21:2 Bar 1:7ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.

Okwebaza n’Okusaba

31:3 1Bs 3:12Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, 41:4 a 2Ko 7:14 b 1Bs 1:3 c 1Bs 2:14ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza. 51:5 Baf 1:28Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, 61:6 Bak 3:25; Kub 6:10ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. 71:7 1Bs 4:16; Yud 14Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, 81:8 a Bag 4:8 b Bar 2:8mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. 91:9 a Baf 3:19; 2Pe 3:7 b 2Bs 2:8Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. 101:10 a 1Ko 3:13 b Yk 17:10 c 1Ko 1:6Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.

111:11 a nny 5 b 1Bs 1:3Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 121:12 Baf 2:9-11erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.