2 Abakkolinso 4 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 4:1-18

Eby’obugagga eby’Omuwendo mu Bibya eby’Ebbumba

1Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. 2Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. 3Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. 4Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. 5Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 6Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

7Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. 8Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. 9Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

13Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera. 14Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.

Okuba Abalamu olw’Okukkiriza

16Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

New International Version – UK

2 Corinthians 4:1-18

Present weakness and resurrection life

1Therefore, since through God’s mercy we have this ministry, we do not lose heart. 2Rather, we have renounced secret and shameful ways; we do not use deception, nor do we distort the word of God. On the contrary, by setting forth the truth plainly we commend ourselves to everyone’s conscience in the sight of God. 3And even if our gospel is veiled, it is veiled to those who are perishing. 4The god of this age has blinded the minds of unbelievers, so that they cannot see the light of the gospel that displays the glory of Christ, who is the image of God. 5For what we preach is not ourselves, but Jesus Christ as Lord, and ourselves as your servants for Jesus’ sake. 6For God, who said, ‘Let light shine out of darkness,’4:6 Gen. 1:3 made his light shine in our hearts to give us the light of the knowledge of God’s glory displayed in the face of Christ.

7But we have this treasure in jars of clay to show that this all-surpassing power is from God and not from us. 8We are hard pressed on every side, but not crushed; perplexed, but not in despair; 9persecuted, but not abandoned; struck down, but not destroyed. 10We always carry around in our body the death of Jesus, so that the life of Jesus may also be revealed in our body. 11For we who are alive are always being given over to death for Jesus’ sake, so that his life may also be revealed in our mortal body. 12So then, death is at work in us, but life is at work in you.

13It is written: ‘I believed; therefore I have spoken.’4:13 Psalm 116:10 (see Septuagint) Since we have that same spirit of4:13 Or Spirit-given faith, we also believe and therefore speak, 14because we know that the one who raised the Lord Jesus from the dead will also raise us with Jesus and present us with you to himself. 15All this is for your benefit, so that the grace that is reaching more and more people may cause thanksgiving to overflow to the glory of God.

16Therefore we do not lose heart. Though outwardly we are wasting away, yet inwardly we are being renewed day by day. 17For our light and momentary troubles are achieving for us an eternal glory that far outweighs them all. 18So we fix our eyes not on what is seen, but on what is unseen, since what is seen is temporary, but what is unseen is eternal.