2 Abakkolinso 13 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 13:1-14

Okulabula Okusembayo

1Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. 2Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, 3nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. 4Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.

5Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. 6Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. 7Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. 8Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. 9Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 10Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.

Okusiibula n’Omukisa

11Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

12Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

13Abatukuvu bonna babalamusizza.

14Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

New International Reader’s Version

2 Corinthians 13:1-14

Final Warnings

1This will be my third visit to you. Scripture says, “Every matter must be proved by the words of two or three witnesses.” (Deuteronomy 19:15) 2I already warned you during my second visit. I now say it again while I’m away. When I return, I won’t spare those who sinned earlier. I won’t spare any of the others either. 3You are asking me to prove that Christ is speaking through me. He is not weak in dealing with you. He is powerful among you. 4It is true that Christ was nailed to the cross because he was weak. But Christ lives by God’s power. In the same way, we share his weakness. But by God’s power we will live with Christ as we serve you.

5Take a good look at yourselves to see if you are really believers. Test yourselves. Don’t you realize that Christ Jesus is in you? Unless, of course, you fail the test! 6I hope you will discover that I haven’t failed the test. 7I pray to God that you won’t do anything wrong. I don’t pray so that people will see that I have passed the test. Instead, I pray this so that you will do what is right, even if it seems I have failed. 8I can’t do anything to stop the truth. I can only work for the truth. 9I’m glad when I am weak but you are strong. I pray that there will be no more problems among you. 10That’s why I write these things before I come to you. Then when I do come, I won’t have to be hard on you when I use my authority. The Lord gave me the authority to build you up. He didn’t give it to me to tear you down.

Final Greetings

11Finally, brothers and sisters, be joyful! Work to make things right with one another. Help one another and agree with one another. Live in peace. And the God who gives love and peace will be with you.

12Greet one another with a holy kiss.

13All God’s people here send their greetings.

14May the grace shown by the Lord Jesus Christ be with you all. May the love that God has given us be with you. And may the sharing of life brought about by the Holy Spirit be with you all.