Kigambo Aleeta Obulamu
11:1 a Yk 1:2 b Yk 1:14; 2Pe 1:16 c Yk 20:27Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. 21:2 Yk 1:1-4; 1Ti 3:16Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. 31:3 1Ko 1:9Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. 41:4 a 1Yk 2:1 b Yk 3:29Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
Okutambulira mu Musana
51:5 1Yk 3:11Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. 61:6 a 2Ko 6:14 b Yk 3:19-21Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. 71:7 Beb 9:14; Kub 1:5Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. 81:8 a Nge 20:9; Yak 3:2 b 1Yk 2:4Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. 91:9 Zab 32:5; 51:2Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 101:10 a 1Yk 5:10 b 1Yk 2:14Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.