1 Samwiri 7 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 7:1-17

1Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama7:1 Essanduuko ya Mukama yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (2Sa 6:2-3).

Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa

2Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama. 3Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 4Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.

5Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” 6Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.

7Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 8Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 9Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.

10Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.

12Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri7:12 Ebenezeri kitegeeza ejjinja ery’obuyambi, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.” 13Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli7:14 Erinnya Abamoli likozesebwa okutegeeza Abakanani bonna.

15Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa7:16 Beseri, ne Girugaali ne Mizupa bye bibuga ebisatu mu ssaza lya Benyamini ebifo awaasinzizibwanga (laba Yos 4:19) mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 17N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

La Bible du Semeur

1 Samuel 7:1-17

1Les gens de Qiryath-Yearim vinrent prendre le coffre de l’Eternel et le transportèrent dans la maison d’Abinadab sur la colline. Ils établirent son fils Eléazar comme gardien du coffre de l’Eternel7.1 Le coffre restera là jusqu’à ce que David le fasse transférer à Jérusalem (2 S 6.2-3)..

Les Israélites reviennent à l’Eternel

2Vingt ans s’écoulèrent depuis le jour où le coffre avait été déposé à Qiryath-Yearim. L’ensemble du peuple d’Israël aspirait à revenir à l’Eternel. 3Alors Samuel dit à tous les Israélites : Si c’est de tout votre cœur que vous voulez revenir à l’Eternel, faites disparaître de chez vous les dieux étrangers et les idoles d’Astarté, et attachez-vous de tout votre cœur à l’Eternel et rendez-lui un culte à lui seul. Alors il vous délivrera des Philistins.

4Les Israélites firent disparaître de chez eux les Baals et les Astartés, et ils ne rendirent plus de culte qu’à l’Eternel.

5Samuel leur dit alors : Assemblez tout Israël à Mitspa, je prierai l’Eternel pour vous7.5 Mitspa: localité du territoire de Benjamin, à 12 kilomètres au nord de Jérusalem, où s’était déjà rassemblé le peuple (Jg 20.1 ; 21.1).. 6Ils s’assemblèrent à Mitspa, puisèrent de l’eau et la répandirent sur le sol devant l’Eternel ; ils jeûnèrent ce jour-là et confessèrent : Nous avons péché contre l’Eternel.

C’est là, à Mitspa, que Samuel fut le juge du peuple d’Israël.

L’Eternel donne la victoire sur les Philistins

7Lorsque les Philistins apprirent que les Israélites s’étaient réunis à Mitspa, leurs cinq princes décidèrent de les attaquer. Les Israélites en furent informés et ils prirent peur des Philistins. 8Ils dirent à Samuel : Ne cesse pas de supplier l’Eternel notre Dieu en notre faveur pour qu’il nous sauve des Philistins !

9Samuel prit un agneau de lait et l’offrit entièrement en holocauste à l’Eternel ; puis il supplia l’Eternel de venir en aide à Israël, et l’Eternel exauça sa prière.

10Pendant que Samuel offrait l’holocauste, les Philistins s’approchèrent pour attaquer Israël. Mais à ce moment-là, l’Eternel fit tourner contre les Philistins un puissant tonnerre qui les mit en déroute, de sorte qu’ils furent battus par les Israélites. 11Ces derniers sortirent de Mitspa, et battirent les Philistins en les poursuivant jusqu’au-delà de Beth-Kar.

12Samuel prit alors une pierre, la dressa entre Mitspa et Shén et l’appela du nom d’Eben-Ezer (la Pierre du Secours), en disant : « Jusqu’ici l’Eternel nous a secourus. » 13Les Philistins furent humiliés par cette défaite. Ils ne pénétrèrent plus à l’intérieur des frontières d’Israël, car l’Eternel intervint contre eux pendant toute la vie de Samuel. 14Les villes que les Philistins avaient prises à Israël, d’Eqrôn à Gath, revinrent aux Israélites, qui libérèrent tout leur territoire de leur emprise. La paix régna également entre Israël et les Amoréens7.14 Terme général désignant toutes les populations de Canaan..

Saül et l’échec de la royauté

Samuel exerce le pouvoir judiciaire

15Samuel continua à exercer le pouvoir judiciaire en Israël durant toute sa vie. 16Chaque année, il faisait un circuit, s’arrêtant à Béthel, à Guilgal et à Mitspa7.16 Trois villes de Benjamin, assez rapprochées, où se trouvaient des sanctuaires (voir Jos 4.19 ; Jg 1.22 ; 20.1 ; 21.1)., et il rendait la justice pour les Israélites en chacun de ces endroits. 17Puis il revenait à Rama7.17 En Benjamin (voir 1.1 et note). où il demeurait. Là aussi, il rendait la justice pour les Israélites. Il y avait bâti un autel à l’Eternel.