1 Samwiri 31 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 31:1-13

Okufa kwa Sawulo

1Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balwana ne Isirayiri. Abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. 2Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa. 3Olutalo Sawulo ne lumuba bubi, abalasi ab’obusaale ne bamuzingiza era ne bamuleetako ekiwundu kinene.

4Awo Sawulo n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya n’okunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye n’atya era n’agaana okukikola.

Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta. 5Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, n’asowola ekitala kye naye ne yetta. 6Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.

7Awo Abayisirayiri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.

8Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa. 9Ne batemako omutwe gwe ne bamwambulamu ebyokulwanyisa bye, ne batuma ababaka mu nsi yonna ey’Abafirisuuti okulangirira mu ssabo lyabwe, n’eri abantu baabwe. 10Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya Baasutoleesi, n’ekiwudduwuddu kye ne bakiwanika ku bbugwe ow’e Besusani.

11Naye abatuuze b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo, 12abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, n’egya batabani be ku bbugwe ow’e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo. 13N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.

Thai New Contemporary Bible

1ซามูเอล 31:1-13

ซาอูลฆ่าตัวตาย

(2ซมอ.1:4-12; 1พศด.10:1-12)

1ฝ่ายอิสราเอลสู้รบกับฟีลิสเตียและแตกหนี ผู้คนมากมายล้มตายบนภูเขากิลโบอา 2ทหารฟีลิสเตียประชิดตัวซาอูลกับโอรส และได้สังหารโอรสทั้งสามคือ โยนาธาน อาบีนาดับ และมัลคีชูวา 3การรบเป็นไปอย่างดุเดือด ทหารฟีลิสเตียยิงธนูเข้าใส่ซาอูล พระอาการสาหัส

4ซาอูลตรัสกับผู้เชิญอาวุธว่า “จงชักดาบออกมาแทงทะลุร่างของเรา มิฉะนั้นพวกไม่ได้เข้าสุหนัตเหล่านี้จะมาฆ่าเราและนำความอัปยศมาให้เรา”

แต่ผู้เชิญอาวุธไม่กล้าทำ ฉะนั้นซาอูลจึงโถมพระกายลงบนดาบของพระองค์เอง 5เมื่อผู้เชิญอาวุธเห็นว่าซาอูลสิ้นพระชนม์แล้ว ก็ทุ่มกายลงบนดาบของตนตายตามไป 6เป็นอันว่าซาอูล โอรสทั้งสาม ผู้เชิญอาวุธ และคนทั้งหมดของซาอูลสิ้นชีวิตในวันเดียวกัน

7เมื่อชาวอิสราเอลตามหุบเขาและอีกฟากหนึ่งของแม่น้ำจอร์แดนเห็นว่ากองทัพอิสราเอลแตกหนี และเห็นว่าซาอูลกับโอรสสิ้นพระชนม์ ก็พากันละทิ้งบ้านเมืองหนีไป ชาวฟีลิสเตียก็เข้ายึดครอง

8วันรุ่งขึ้นเมื่อชาวฟีลิสเตียออกมาปลดของมีค่าจากศพ ก็พบร่างของซาอูลและโอรสทั้งสามบนภูเขากิลโบอา 9พวกเขาตัดพระเศียรซาอูลและปลดยุทธภัณฑ์ออก แล้วส่งผู้สื่อสารไปทั่วแดนฟีลิสเตียเพื่อแจ้งข่าวในวิหารแห่งเทวรูปของพวกเขาและในหมู่ประชาชน 10ยุทธภัณฑ์ของซาอูลถูกเก็บไว้ในวิหารของพระอัชโทเรท ส่วนพระศพถูกมัดเข้ากับกำแพงเมืองเบธชาน

11เมื่อชาวยาเบชกิเลอาดได้ยินสิ่งที่ชาวฟีลิสเตียทำต่อซาอูล 12ผู้กล้าหาญจากเมืองนั้นก็เดินทางตลอดคืนไปถึงเมืองเบธชาน พวกเขาปลดพระศพของซาอูลกับโอรสลงจากกำแพงเมือง แล้วเชิญพระศพกลับมาถวายพระเพลิงที่เมืองยาเบช 13จากนั้นก็นำพระอัฐิไปฝังไว้ใต้ต้นสนหมอกที่ยาเบช แล้วพากันถืออดอาหารเป็นเวลาเจ็ดวัน