1 Samwiri 26 – LCB & NASV

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 26:1-25

Dawudi Agaana Omulundi Ogwokubiri Okutta Sawulo

1Awo ab’e Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olw’ebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?”

2Awo Sawulo n’abasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu ery’e Zifu, okunoonya Dawudi. 3Sawulo n’asiisira ku mabbali g’ekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi n’asigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ng’amugoberedde mu ddungu, 4n’atuma abakessi okukakasiza ddala obanga Sawulo yali atuuse.

5Dawudi n’agolokoka n’agenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N’alaba Sawulo ne Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w’eggye, we baali beebase. Sawulo yali yeebase wakati mu lusiisira, ng’eggye limwetoolodde.

6Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya26:6 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi omukulu (1By 2:16). Noolwekyo Abisaayi, ne Yowaabu (eyafuuka omuduumizi w’eggye kya Dawudi) ne Asakeri baali batabani be (2Sa 2:18). nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”

7Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri n’abaserikale baali beebase okumwetooloola.

8Abisaayi n’agamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo n’effumu. Siimufumite gwakubiri.”

9Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango? 10Mukama nga bw’ali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka n’afa, oba aligenda mu lutalo n’azikiririra eyo. 11Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu n’eccupa ey’amazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.”

12Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.

13N’oluvannyuma Dawudi n’asomoka n’agenda emitala, n’ayimirira walako ku ntikko ey’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene. 14N’akoowoola eggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng’ayogera nti, “Tonziremu gwe Abuneeri?” Abuneeri n’addamu nti, “Ggwe ani alangiriza kabaka?”

15Awo Dawudi n’agamba Abuneeri nti, “Oli musajja muzira, si bwe kiri? Ani akwenkana mu Isirayiri? Kiki ekyakulobedde okukuuma obulungi mukama wo kabaka? Kubanga waabaddewo omuntu eyazze okuzikiriza mukama wo kabaka. 16Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?”

17Sawulo n’ategeera nga ddoboozi lya Dawudi, n’abuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi n’addamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.” 18Dawudi n’amubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza? 19Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’ 20Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”

21Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”

22Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire. 23Mukama asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 24Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”

25Awo Sawulo n’addamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.”

Awo Dawudi n’agenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe.

New Amharic Standard Version

1 ሳሙኤል 26:1-25

ዳዊት ለሁለተኛ ጊዜ ሳኦልን ከመግደል ታቀበ

1የዚፍ ሰዎች ሳኦል ወዳለበት ወደ ጊብዓ መጥተው፣ “እነሆ፤ ዳዊት በየሴሞን ትይዩ በሚገኘው በኤኬላ ኰረብታ ተደብቋል” ብለው ነገሩት።

2ስለዚህ ሳኦል ተነሣ፤ ከእስራኤል የተመረጡትን ሦስት ሺሕ ሰዎችን ይዞ፣ ዳዊትን ፍለጋ ወደ ዚፍ ምድረ በዳ ወረደ። 3ሳኦልም በየሴሞን ትይዩ በሚገኘው በኤኬላ ኰረብታ ላይ በመንገድ ዳር ሰፈረ፤ ዳዊት ግን በምድረ በዳ ነበር። ዳዊትም ሳኦል እዚያ ድረስ እንደ ተከተለው ባወቀ ጊዜ፣ 4ሰላዮች ልኮ በትክክል ሳኦል መምጣቱን አረጋገጠ።

5ዳዊትም ተነሥቶ ሳኦል ወደ ሰፈረበት ቦታ ሄደ፤ ሳኦልና የሰራዊቱ አለቃ፣ የኔር ልጅ አበኔር የተኙበትን ስፍራ አየ። ሳኦል በሰፈሩ መካከል ተኝቶ ሳለ፣ ሰራዊቱ በዙሪያው ሰፍሮ ነበር።

6ዳዊትም ኬጢያዊውን አቢሜሌክንና የጽሩያን ልጅ የኢዮአብን ወንድም አቢሳን፣ “ወደ ሳኦል ሰፈር አብሮኝ የሚወርድ ማነው?” ሲል ጠየቃቸው።

አቢሳም፣ “እኔ አብሬህ እወርዳለሁ” አለ።

7ስለዚህ ዳዊትና አቢሳ በሌሊት ሰራዊቱ ወዳለበት ሄዱ። እነሆ፤ ሳኦል በሰፈሩ ውስጥ ተኝቶ ጦሩም ራስጌው አጠገብ በመሬት ላይ ተተክሎ ነበር፤ አበኔርና ወታደሮቹም በዙሪያው ተኝተው ነበር።

8አቢሳም ዳዊትን፣ “ዛሬ እግዚአብሔር ጠላትህን በእጅህ ላይ ጥሎታል፤ አሁንም እኔ አንድ ጊዜ በጦር ወግቼ ከመሬት ጋር ላጣብቀው፤ መድገምም አያስፈልገኝም” አለው።

9ዳዊት ግን አቢሳን እንዲህ አለው፤ “አትግደለው! እግዚአብሔር በቀባው ላይ እጁን አንሥቶ ከበደል ነጻ የሚሆን ማን ነው? 10ሕያው እግዚአብሔርን! እግዚአብሔር ራሱ ይቀሥፈዋል፤ ወይም ቀኑ ደርሶ ይሞታል፤ ወይም በጦርነት ይሞታል። 11እግዚአብሔር በቀባው ላይ እጄን ከማንሣት እግዚአብሔር ይጠብቀኝ! ነገር ግን በራስጌው አጠገብ ያለውን ጦርና የውሃ መያዣውን ያዝና እንሂድ።”

12ስለዚህ ዳዊት በሳኦል ራስጌ አጠገብ የነበረውን ጦርና የውሃውን መያዣ ወሰደ፤ ከዚያም ሄዱ፤ ይህን ያየም ሆነ ያወቀ ወይም የነቃ ማንም አልነበረም። ከእግዚአብሔር ዘንድ ከባድ እንቅልፍ ስለ ወደቀባቸው ሁሉም ተኝተው ነበርና።

13ከዚህ በኋላ ዳዊት ወደ ማዶ ተሻግሮ በኰረብታው ጫፍ ላይ ራቅ ብሎ ቆመ፤ በመካከላቸውም ሰፊ ርቀት ነበር። 14ዳዊት ሰራዊቱንና የኔርን ልጅ አብኔርን፣ “አበኔር ሆይ፣ አትመልስልኝምን?” ሲል ተጣራ።

አበኔርም፣ “በንጉሡ ላይ የምትጮኽ አንተ ማነህ?” በማለት መለሰ።

15ዳዊትም እንዲህ አለ፤ “አንተ ብርቱ ሰው ነህ? በእስራኤልስ ዘንድ አንተን የሚመስል ማን ነው? እነሆ፤ አንድ ሰው ንጉሡን ጌታህን ለመግደል መጥቶ ነበር፤ ታዲያ አንተ ንጉሥ ጌታህን ያልጠበቅኸው ስለ ምንድን ነው? 16ያደረግኸው መልካም አይደለም፤ ሕያው እግዚአብሔርን! አንተና ሰዎችህ ሞት ይገባችኋል፤ እግዚአብሔር የቀባውን ጌታችሁን አልጠበቃችሁምና። እስቲ ተመልከት፤ በራስጌው የነበሩት የንጉሡ ጦርና የውሃ መያዣ የት አሉ?”

17ሳኦል የዳዊትን ድምፅ ለይቶ ስላወቀ፣ “ልጄ ዳዊት ሆይ፤ ይህ ድምፅህ ነውን?” አለው። ዳዊትም፣ “ንጉሥ ጌታዬ ሆይ፤ አዎን ድምፄ ነው” ሲል መለሰ፤ 18በመቀጠልም፣ “ጌታዬ አገልጋዩን የሚያሳድደው ስለ ምንድን ነው? ምን አደረግሁ? ምን በደልስ ፈጸምሁ? 19አሁንም ንጉሥ ጌታዬ የባሪያውን ቃል ያድምጥ፤ እግዚአብሔር በእኔ ላይ አነሣሥቶህ እንደ ሆነ፣ ቍርባን ይቀበል፤ ነገር ግን ይህን ያደረጉት ሰዎች ከሆኑ፣ በእግዚአብሔር ፊት የተረገሙ ይሁኑ፤ ‘ሂድ ሌሎችን አማልክት አምልክ’ ብለው በእግዚአብሔር ርስት ድርሻ እንዳይኖረኝ ዛሬ አሳድደውኛልና። 20አንድ ሰው በተራራ ላይ ቆቅ እንደሚያድን የእስራኤልም ንጉሥ ቍንጫ ለመፈለግ ስለ ወጣ፣ ደሜ ከእግዚአብሔር ፊት ርቆ በምድር ላይ እንዲፈስ አታድርግ።”

21ሳኦልም፣ “በድያለሁ፤ ልጄ ዳዊት ሆይ፤ ተመለስ፤ ዛሬ ነፍሴ በፊትህ ስለ ከበረች፣ ከእንግዲህ ወዲያ አልጐዳህም፤ በርግጥ የሞኝ ሥራ ሠርቻለሁ፤ እጅግ ሲበዛም ተሳስቻለሁ” አለ።

22ዳዊትም እንዲህ ሲል መለሰ፤ “የንጉሥ ጦር እነሆ፤ ከወጣቶችህ አንዱ መጥቶ ይውሰዳት። 23እግዚአብሔር ለእያንዳንዱ ሰው እንደ ጽድቁና እንደ ታማኝነቱ ይክፈለው። እኔ ግን ዛሬ እግዚአብሔር አንተን በእጄ አሳልፎ ሰጥቶኝ ሳለ እግዚአብሔር በቀባው ላይ እጄን አላነሣሁም። 24እነሆ፤ ዛሬ ሕይወትህ በፊቴ እንደ ከበረች ሁሉ፣ የእኔም ሕይወት በእግዚአብሔር ዘንድ የከበረች ትሁን፤ ከመከራም ሁሉ ያድነኝ።”

25ከዚያም ሳኦል ዳዊትን፣ “ልጄ ዳዊት ሆይ፤ የተባረክህ ሁን፤ ታላቅ ነገር ታደርጋለህ፤ በርግጥም ይከናወንልሃል” አለው።

ስለዚህም ዳዊት ወደሚሄድበት ሄደ፤ ሳኦልም ወደ ቤቱ ተመለሰ።