1 Ebyomumirembe 26 – LCB & NVI-PT

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 26:1-32

Ebibinja eby’Abaggazi

1Ebibinja by’Abaggazi byali:

Mu Bakola,

waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. 2Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga

Zekkaliya ye w’olubereberye,

ne Yediyayeri nga wakubiri,

ne Zebadiya nga wakusatu,

ne Yasuniyeri nga wakuna,

3ne Eramu nga wakutaano,

ne Yekokanani nga wamukaaga,

ne Eriwenayi nga wa musanvu.

4Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga

Semaaya ye w’olubereberye,

ne Yekozabadi nga wakubiri,

ne Yowa nga wakusatu,

ne Sakali nga wakuna,

ne Nesaneeri nga wakutaano,

5ne Ammiyeri nga wamukaaga,

ne Isakaali nga wa musanvu,

Pewulesayi nga wa munaana,

Katonda gwe yawa omukisa.

6Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. 7Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.

8Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.

9Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.

10Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;

11Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu,

ne Zekkaliya nga wakuna.

Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.

12Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.

14Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.

Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.

15Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.

16Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.

17Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,

ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku

ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,

ne ku ggwanika babiri babiri.

18Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

Abawanika n’Abakungu Abalala

20Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. 21Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, 22batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.

23Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri:

24Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 25Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.

26Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 28Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.

29Ku Bayizukaali,

Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.

30Ku Bakebbulooni,

Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. 31Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe.

Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. 32Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.

Nova Versão Internacional

1 Crônicas 26:1-32

Os Porteiros

1Esta é a relação dos grupos dos porteiros:

Dos coreítas,

Meselemias, filho de Coré, da família de Asafe. 2Foram estes os filhos de Meselemias:

Zacarias, o primeiro; Jediael, o segundo;

Zebadias, o terceiro; Jatniel, o quarto;

3Elão, o quinto; Joanã, o sexto;

e Elioenai, o sétimo.

4Foram estes os filhos de Obede-Edom:

Semaías, o primeiro; Jeozabade, o segundo;

Joá, o terceiro; Sacar, o quarto;

Natanael, o quinto; 5Amiel, o sexto;

Issacar, o sétimo; e Peuletai, o oitavo.

(Pois Deus havia abençoado Obede-Edom.)

6Seu filho Semaías também teve filhos, que foram líderes na família do seu pai, pois eram homens capazes. 7Foram estes os filhos de Semaías:

Otni, Rafael, Obede e Elzabade.

Os parentes dele, Eliú e Semaquias, também foram homens capazes.

8Todos esses foram descendentes de Obede-Edom; eles e os seus filhos e parentes eram capazes e aptos para a obra. Eram ao todo 62 descendentes de Obede-Edom.

9Meselemias teve 18 filhos e parentes chegados, todos eles homens capazes.

10Foram estes os filhos de Hosa, o merarita:

Sinri, que foi nomeado chefe por seu pai, mesmo não sendo o mais velho;

11Hilquias, o segundo; Tebalias, o terceiro;

e Zacarias, o quarto.

Os filhos e parentes de Hosa foram 13 ao todo.

12Essas foram as divisões dos porteiros, feitas pelos chefes deles; eles cumpriam tarefas no serviço do templo do Senhor, assim como seus parentes. 13Lançaram sortes entre as famílias, incluindo jovens e velhos, para que cuidassem de cada porta.

14A porta leste coube a Selemias26.14 Variante de Meselemias..

Então lançaram sortes para seu filho Zacarias, sábio conselheiro, e a porta norte foi sorteada para ele.

15A sorte da porta sul saiu para Obede-Edom, e a do depósito, para seus filhos.

16A sorte da porta oeste e da porta Salequete, na rua de cima, saiu para Supim e Hosa.

Os guardas ficavam um ao lado do outro.

17Havia seis levitas por dia no leste,

quatro no norte,

quatro no sul

e dois de cada vez no depósito.

18Quanto ao pátio a oeste, havia quatro na rua e dois no próprio pátio.

19Foram essas as divisões dos porteiros, descendentes de Coré e Merari.

Os Tesoureiros e Outros Oficiais

20Outros dos seus irmãos levitas estavam encarregados26.20 Conforme a Septuaginta. O Texto Massorético diz Quanto aos levitas, Aías estava encarregado. dos depósitos dos tesouros do templo de Deus e do depósito das dádivas sagradas.

21Os gersonitas, descendentes de Ladã, que eram chefes de famílias pertencentes a Ladã, foram Jeieli 22e seus filhos Zetã e Joel, seu irmão. Estavam encarregados da tesouraria do templo do Senhor.

23Dos filhos de Anrão, de Isar, de Hebrom e de Uziel:

24Sebuel, um descendente de Gérson, filho de Moisés, era o oficial encarregado dos depósitos dos tesouros. 25Seus parentes por parte de Eliézer foram seu filho Reabias, que foi o pai de Jesaías, o avô de Jorão, o bisavô de Zicri, o trisavô de Selomote.

26(Selomote e seus parentes estavam encarregados de todos os tesouros consagrados pelo rei Davi, pelos chefes de famílias, que eram os comandantes de mil e de cem, e pelos outros líderes do exército. 27Eles consagravam parte dos despojos tomados em combate para a manutenção do templo do Senhor. 28E todas as dádivas consagradas pelo vidente Samuel, por Saul, filho de Quis, por Abner, filho de Ner, por Joabe, filho de Zeruia, e todas as demais dádivas sagradas estavam sob os cuidados de Selomote e seus parentes.)

29Dos filhos de Isar,

Quenanias e seus filhos ficaram responsáveis pelos negócios públicos de Israel, atuando como oficiais e juízes.

30Dos filhos de Hebrom,

Hasabias e seus parentes ficaram responsáveis por todo o trabalho do Senhor e pelo serviço do rei em Israel, a oeste do Jordão; ao todo eram mil e setecentos homens capazes. 31De acordo com os registros genealógicos das famílias hebronitas, Jerias foi o chefe delas.

(No ano quarenta do reinado de Davi fez-se uma busca nos registros, e entre os descendentes de Hebrom encontraram-se homens capazes em Jazar de Gileade. 32Jerias tinha dois mil e setecentos parentes, homens capazes e chefes de famílias, que o rei Davi encarregou de todas as questões pertinentes a Deus e aos negócios do rei nas tribos de Rúben e de Gade, e na metade da tribo de Manassés.)