1 Ebyomumirembe 19 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 19:1-19

1Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira. 2Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa.

Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza, 3abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?” 4Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.

5Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.” 6Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi. 7Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.

8Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. 9Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.

10Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli. 11Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni. 12Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere. 13Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”

14Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 15Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.

16Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.

17Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa. 18Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.

19Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.

New International Version

1 Chronicles 19:1-19

David Defeats the Ammonites

1In the course of time, Nahash king of the Ammonites died, and his son succeeded him as king. 2David thought, “I will show kindness to Hanun son of Nahash, because his father showed kindness to me.” So David sent a delegation to express his sympathy to Hanun concerning his father.

When David’s envoys came to Hanun in the land of the Ammonites to express sympathy to him, 3the Ammonite commanders said to Hanun, “Do you think David is honoring your father by sending envoys to you to express sympathy? Haven’t his envoys come to you only to explore and spy out the country and overthrow it?” 4So Hanun seized David’s envoys, shaved them, cut off their garments at the buttocks, and sent them away.

5When someone came and told David about the men, he sent messengers to meet them, for they were greatly humiliated. The king said, “Stay at Jericho till your beards have grown, and then come back.”

6When the Ammonites realized that they had become obnoxious to David, Hanun and the Ammonites sent a thousand talents19:6 That is, about 38 tons or about 34 metric tons of silver to hire chariots and charioteers from Aram Naharaim,19:6 That is, Northwest Mesopotamia Aram Maakah and Zobah. 7They hired thirty-two thousand chariots and charioteers, as well as the king of Maakah with his troops, who came and camped near Medeba, while the Ammonites were mustered from their towns and moved out for battle.

8On hearing this, David sent Joab out with the entire army of fighting men. 9The Ammonites came out and drew up in battle formation at the entrance to their city, while the kings who had come were by themselves in the open country.

10Joab saw that there were battle lines in front of him and behind him; so he selected some of the best troops in Israel and deployed them against the Arameans. 11He put the rest of the men under the command of Abishai his brother, and they were deployed against the Ammonites. 12Joab said, “If the Arameans are too strong for me, then you are to rescue me; but if the Ammonites are too strong for you, then I will rescue you. 13Be strong, and let us fight bravely for our people and the cities of our God. The Lord will do what is good in his sight.”

14Then Joab and the troops with him advanced to fight the Arameans, and they fled before him. 15When the Ammonites realized that the Arameans were fleeing, they too fled before his brother Abishai and went inside the city. So Joab went back to Jerusalem.

16After the Arameans saw that they had been routed by Israel, they sent messengers and had Arameans brought from beyond the Euphrates River, with Shophak the commander of Hadadezer’s army leading them.

17When David was told of this, he gathered all Israel and crossed the Jordan; he advanced against them and formed his battle lines opposite them. David formed his lines to meet the Arameans in battle, and they fought against him. 18But they fled before Israel, and David killed seven thousand of their charioteers and forty thousand of their foot soldiers. He also killed Shophak the commander of their army.

19When the vassals of Hadadezer saw that they had been routed by Israel, they made peace with David and became subject to him.

So the Arameans were not willing to help the Ammonites anymore.