1 Ebyomumirembe 16 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 16:1-43

1Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 2Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, 3era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

4Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. 5Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

7Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

8Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,

mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.

9Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza

mwogere ku byamagero bye byonna.

10Erinnya lye ligulumizibwe,

n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.

11Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;

munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,

n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,

13mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,

mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.

14Ye Mukama Katonda waffe;

okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,

n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,

16gye yakola ne Ibulayimu,

era n’agirayiza Isaaka.

17N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,

n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,

18ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,

era omutono ddala, nga batambuze mu yo,

20baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,

n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.

21Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;

weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:

22ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,

so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;

mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.

24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,

n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;

era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.

26Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,

naye Mukama ye yakola eggulu.

27Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,

amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

28Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,

mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.

29Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;

muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;

musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.

30Mukankane mu maaso ge ensi yonna,

weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;

boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”

32Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,

n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!

33Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,

ginaayimbira Mukama n’essanyu,

kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

34Weebaze Mukama kubanga mulungi;

era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

35Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;

tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,

twebaze erinnya lyo ettukuvu,

era tujagulize mu ttendo lyo.”

36Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri

ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

New International Version – UK

1 Chronicles 16:1-43

Ministering before the ark

1They brought the ark of God and set it inside the tent that David had pitched for it, and they presented burnt offerings and fellowship offerings before God. 2After David had finished sacrificing the burnt offerings and fellowship offerings, he blessed the people in the name of the Lord. 3Then he gave a loaf of bread, a cake of dates and a cake of raisins to each Israelite man and woman.

4He appointed some of the Levites to minister before the ark of the Lord, to extol,16:4 Or petition; or invoke thank, and praise the Lord, the God of Israel: 5Asaph was the chief, and next to him in rank were Zechariah, then Jaaziel,16:5 See 15:18,20; Hebrew Jeiel, possibly another name for Jaaziel. Shemiramoth, Jehiel, Mattithiah, Eliab, Benaiah, Obed-Edom and Jeiel. They were to play the lyres and harps, Asaph was to sound the cymbals, 6and Benaiah and Jahaziel the priests were to blow the trumpets regularly before the ark of the covenant of God.

7That day David first appointed Asaph and his associates to give praise to the Lord in this manner:

8Give praise to the Lord, proclaim his name;

make known among the nations what he has done.

9Sing to him, sing praise to him;

tell of all his wonderful acts.

10Glory in his holy name;

let the hearts of those who seek the Lord rejoice.

11Look to the Lord and his strength;

seek his face always.

12Remember the wonders he has done,

his miracles, and the judgments he pronounced,

13you his servants, the descendants of Israel,

his chosen ones, the children of Jacob.

14He is the Lord our God;

his judgments are in all the earth.

15He remembers16:15 Some Septuagint manuscripts (see also Psalm 105:8); Hebrew Remember his covenant for ever,

the promise he made, for a thousand generations,

16the covenant he made with Abraham,

the oath he swore to Isaac.

17He confirmed it to Jacob as a decree,

to Israel as an everlasting covenant:

18‘To you I will give the land of Canaan

as the portion you will inherit.’

19When they were but few in number,

few indeed, and strangers in it,

20they16:18-20 One Hebrew manuscript, Septuagint and Vulgate (see also Psalm 105:12); most Hebrew manuscripts inherit, / 19 though you are but few in number, / few indeed, and strangers in it.’ / 20 They wandered from nation to nation,

from one kingdom to another.

21He allowed no-one to oppress them;

for their sake he rebuked kings:

22‘Do not touch my anointed ones;

do my prophets no harm.’

23Sing to the Lord, all the earth;

proclaim his salvation day after day.

24Declare his glory among the nations,

his marvellous deeds among all peoples.

25For great is the Lord and most worthy of praise;

he is to be feared above all gods.

26For all the gods of the nations are idols,

but the Lord made the heavens.

27Splendour and majesty are before him;

strength and joy are in his dwelling-place.

28Ascribe to the Lord, all you families of nations,

ascribe to the Lord glory and strength.

29Ascribe to the Lord the glory due to his name;

bring an offering and come before him.

Worship the Lord in the splendour of his16:29 Or Lord with the splendour of holiness.

30Tremble before him, all the earth!

The world is firmly established; it cannot be moved.

31Let the heavens rejoice, let the earth be glad;

let them say among the nations, ‘The Lord reigns!’

32Let the sea resound, and all that is in it;

let the fields be jubilant, and everything in them!

33Let the trees of the forest sing,

let them sing for joy before the Lord,

for he comes to judge the earth.

34Give thanks to the Lord, for he is good;

his love endures for ever.

35Cry out, ‘Save us, God our Saviour;

gather us and deliver us from the nations,

that we may give thanks to your holy name,

and glory in your praise.’

36Praise be to the Lord, the God of Israel,

from everlasting to everlasting.

Then all the people said ‘Amen’ and ‘Praise the Lord.’

37David left Asaph and his associates before the ark of the covenant of the Lord to minister there regularly, according to each day’s requirements. 38He also left Obed-Edom and his sixty-eight associates to minister with them. Obed-Edom son of Jeduthun, and also Hosah, were gatekeepers.

39David left Zadok the priest and his fellow priests before the tabernacle of the Lord at the high place in Gibeon 40to present burnt offerings to the Lord on the altar of burnt offering regularly, morning and evening, in accordance with everything written in the Law of the Lord, which he had given Israel. 41With them were Heman and Jeduthun and the rest of those chosen and designated by name to give thanks to the Lord, ‘for his love endures for ever.’ 42Heman and Jeduthun were responsible for the sounding of the trumpets and cymbals and for the playing of the other instruments for sacred song. The sons of Jeduthun were stationed at the gate.

43Then all the people left, each for their own home, and David returned home to bless his family.