1 Ebyomumirembe 12 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 12:1-40

Abawagizi ba Dawudi

1Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo. 2Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini.

3Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya;

Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi;

Beraka, ne Yeeku Omwanasoni, 4ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe;

ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi; 5ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;

6ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola;

7ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli.

8Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi.

9Ezeri ye yali omukulu waabwe,

ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu,

10ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano,

11ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu,

12ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda,

13ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu.

14Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi. 15Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba.

16Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye. 17Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”

18Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti,

“Ffe tuli babo, Dawudi!

Tuli naawe, Omwana wa Yese!

Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli;

era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba,

kubanga Katonda wo ajja kukubeera.”

Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.

19Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” 20Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase. 21Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye. 22Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi.

Abasajja Abeegatta ku Dawudi e Kebbulooni

23Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali:

24abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;

25abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi;

26abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga; 27ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu; 28ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri.

29Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;

30abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;

31abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana;

32abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;

33abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano;

34abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;

35abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga;

36abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;

37emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri.

38Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe.

Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna. 39Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde. 40Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.

Korean Living Bible

역대상 12:1-40

다윗을 지지한 용사들

1다윗이 사울을 피해 시글락에 숨어 있을 때 용감한 군인들이 그에게 많 이 가담하였다.

2이들은 모두 활을 잘 쏘고 물맷돌도 잘 던지며 왼손과 오른손을 다 같이 마음대로 사용할 수 있는 군인들로서 사울과 마찬가지로 베냐민 지파 사람들이었다.

3그들의 대장은 기브아 사람인 스마아의 아들 아히에셀이며 그 밖의 다른 군인들은 아히에셀의 동생 요아스, 아스마의 아들 여시엘과 벨렛, 그리고 브라가, 아나돗 사람 예후,

4기브온 사람으로 30명 용장의 지도자 중 한 사람인 이스마야, 그리고 예레미야, 야하시엘, 요하난, 그데라 사람 요사밧,

5엘루새, 여리못, 브아랴, 스마랴, 하룹 사람 스바댜,

6고라 사람들인 엘가나, 잇시야, 아사렐, 요에셀, 야소브암,

7그리고 그돌 사람인 여로함의 아들 요엘라와 스바댜였다.

8다윗이 광야 요새에 있을 때 갓 지파 중에서 용감한 군인들이 그에게 많이 가담하였다. 그들은 방패와 창을 능숙하게 쓰는 자들로서 얼굴은 사자처럼 날카롭게 생겼고 빠르기는 산의 사슴과도 같았다.

9이들의 대장은 에셀인데 나머지 사람들을 지휘 계통순으로 나열하면 오바댜, 엘리압,

10미스만나, 예레미야,

11앗대, 엘리엘,

12요하난, 엘사밧,

13예레미야, 그리고 제일 마지막은 막반내였다.

14이들 갓 지파 사람 중 어떤 이들은 군대 고급 장교가 되어 1,000명의 부하를 거느렸고 또 어떤 이들은 하급 장교로서 100명의 부하를 거느렸다.

15이 사람들은 강물이 넘쳐 흐르는 때인 월에 요단강을 건너 그 강의 동서 유역에 살던 사람들을 쫓아 버리고 그 땅을 점령하였다.

16-17베냐민과 유다 자손 중에서도 다윗에 게 나온 자들이 있었다. 이때 요새에 있던 다윗은 그들을 맞으러 나가서 이렇게 말하였다. “만일 여러분이 진정으로 나를 도우러 왔다면 나는 여러분을 진심으로 환영합니다. 그러나 만일 여러분이 나를 속여서 내 대적에게 넘겨 주려는 속셈으로 여기까지 왔다면 비록 내가 여러분을 해하지 않을지라도 우리 조상의 하나님이 그 사실을 아시고 여러분에게 벌을 주실 것입니다.”

18이때 성령께서 30명 용장의 대장인 아마새를 감동시키시자 그가 다윗에게 이렇게 대답하였다. “다윗 장군님, 우리는 당신의 부하들입니다. 그리고 우리는 당신의 편입니다. 당신과 당신을 돕는 사람들에게 12:18 원문에는 ‘평강’승리가 있을 것입니다. 이것은 당신의 하나님이 당신과 함께 계시기 때문입니다.” 그제서야 다윗은 그 사람들을 영접하고 그들을 자기 군대의 지휘관으로 삼았다.

19다윗이 블레셋 사람과 함께 사울왕을 치려고 했을 때 므낫세 지파에서 몇 사람이 이스라엘군을 저버리고 다윗에게 돌아온 적이 있었다. 그러나 블레셋 왕들은 다윗과 그의 부하들을 데리고 출전하기를 꺼렸다. 그래서 많은 논란 끝에 그들은 다윗과 그 부하들을 돌려보내고 말았다. 이것은 다윗과 그 부하들이 자기들을 배신하고 사울왕에게 돌아갈 경우 오히려 그들에게 더 큰 위험이 따를 것을 염려했기 때문이었다.

20다윗이 시글락으로 돌아갈 때 그에게 돌아온 므낫세 사람들은 아드나, 요사밧, 여디아엘, 미가엘, 요사밧, 엘리후, 그리고 실르대였으며 이들은 모두 므낫세 군대에 1,000명의 부하들을 거느리는 지휘관들이었다.

21이 사람들은 용감하고 유능한 군인들로 다윗이 시글락에서 아말렉 침략자들과 싸울 때 그를 도와주었던 자들인데 이들은 후에 이스라엘군의 지휘관이 되었다.

22그 때에는 다윗을 지지하겠다는 사람들이 매일 찾아왔으며 마침내 그들은 막강한 군대가 되었다.

헤브론에서 다윗의 편에 가담한 군인들

23다윗이 헤브론에 있을 때 잘 훈련된 많은 군인들이 다윗의 편에 가담하였다. 이들은 여호와께서 말씀하신 대로 사울 대신 다윗을 왕으로 삼으려고 했던 자들이었다. 이들을 각 지파별로 분류하면 다음과 같다:

24유다 지파에서 방패와 창으로 무장한 군인 6,800명,

25시므온 지파에서 잘 훈련된 군인 7,100명,

26-28레위 지파에서 아론의 자손인 여호야 다의 추종자 3,700명과 유능한 젊은 용사 사독과 그의 친척 22명을 포함한 군인 4,600명,

29베냐민 지파에서 그때까지 대부분 사울의 집안을 지지하던 군인 3,000명,

30에브라임 지파에서 유명한 용사 20,800명,

31므낫세 서쪽 반 지파에서 다윗을 왕으로 삼으려고 했던 사람 18,000명,

32잇사갈 지파에서 그 시대의 흐름을 이해하고 이스라엘이 무엇을 해야 할 것인가를 알고 있었던 족장 200명,

33스불론 지파에서 모든 무기를 갖추고 다윗에게 철저한 충성을 다하기로 다짐한 정예군 50,000명,

34납달리 지파에서 장교 1,000명과 방패와 창으로 무장한 사병 37,000명,

35단 지파에서 잘 훈련된 군인 28,600명,

36아셀 지파에서 전투 태세를 갖춘 군인 40,000명,

37그리고 요단강 동쪽의 르우벤 지파와 갓 지파와 므낫세 반 지파에서 모든 무기를 갖춘 무장 군인 120,000명이었다.

38전투 태세를 갖춘 이 모든 군인들이 헤브론으로 와서 하나같이 다윗을 온 이스라엘의 왕으로 삼으려고 했으며 다른 모든 이스라엘 사람들도 같은 심정을 가지고 있었다.

39헤브론에 온 모든 군인들은 다윗과 함께 3일 동안을 먹고 마시며 즐겼다. 이것은 그들이 올 것을 대비하여 그 형제들이 음식을 미리 준비해 두었기 때문이었다.

40그리고 가까운 이웃에서부터 멀리 잇사갈과 스불론과 납달리 지파 사람들까지 음식을 나귀와 낙타와 노새와 소에 잔뜩 싣고 왔는데 그들이 가져온 것은 밀가루, 무화과로 만든 과자, 건포도, 포도주, 기름, 그리고 소와 양이었으며 이 모든 것은 전 이스라엘 사람들이 느끼는 기쁜 감정의 표현이었다.