Nnabbi Mikaaya Alabula Akabu
1Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu. 2Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n’aserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri. 322:3 Ma 4:43; Yos 21:38Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”
422:4 2Bk 3:7Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?”
Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.” 522:5 Kuv 33:7; 2Bk 3:11Naye Yekosafaati n’ayongerako nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
622:6 1Bk 18:19Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ng’ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.” 722:7 2Bk 3:11Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa Mukama gwe tuyinza kwebuuzaako?”
822:8 a Am 5:10 b Is 5:20Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya22:8 Mikaaya oluusi ayitibwa Mikka. Kyokka si y’omu ne nnabbi eyawandiika ekitabo kya Mikka. mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.”
9Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.”
1022:10 nny 6Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali; 1122:11 Ma 33:17; Zek 1:18-21Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ”
12Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.” 13Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”
1422:14 Kbl 22:18; 24:13; 1Bk 18:10, 15Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka Mukama ky’anaŋŋamba.” 15Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”
16Kabaka n’amubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya Mukama?” 1722:17 nny 34-36; Kbl 27:17; Mat 9:36Nnabbi n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ng’esaasaanye ku nsozi, ng’endiga ezitalina musumba.” Mukama n’ayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.”
18Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi ky’andagulako wabula ekibi?” 1922:19 a Is 6:1; Ez 1:26; Dan 7:9 b Yob 1:6; 2:1; Zab 103:20-21; Mat 18:10; Beb 1:7, 14Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono. 20Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala. 21Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’
2222:22 Bal 9:23; 1Sa 16:14; 18:10; 19:9; Ez 14:9; 2Bs 2:11“Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’
2322:23 Ez 14:9“Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”
2422:24 a nny 11 b Bik 23:2Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”
2522:25 1Bk 20:30Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
26Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka, 2722:27 2By 16:10era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”
2822:28 Ma 18:22Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”
Okufa Kwa Akabu e Lamosugireyaadi
29Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 3022:30 2By 35:22Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.
3122:31 2Sa 17:2Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.” 32Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu, 33abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.
3422:34 2By 35:23Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.” 35Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa. 3622:36 2Bk 14:12Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”
37Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo. 3822:38 1Bk 21:19Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.
3922:39 2By 9:17; Am 3:15Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 40Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira.
Yekosafaati Kabaka wa Yuda
41Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri. 42Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki. 4322:43 a 2By 17:3 b 1Bk 3:2; 15:14; 2Bk 12:3N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane. 44Yekosafaati n’atabagana ne kabaka wa Isirayiri.
45Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 4622:46 Ma 23:17; 1Bk 14:24; 15:12N’aggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lw’omulembe gwa kitaawe Asa. 4722:47 2Sa 8:14; 2Bk 3:9; 8:20Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka n’afuga.
4822:48 1Bk 9:26; 10:22Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba. 49Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala.
50Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
Akaziya Kabaka wa Isirayiri
51Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri. 5222:52 1Bk 15:26; 21:25N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga. 5322:53 a Bal 2:11 b 1Bk 16:30-32Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.