1 Bassekabaka 18 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 18:1-46

Eriya ne Obadiya Basisinkana

1Awo nga wayiseewo ebbanga lya myaka essatu kasookedde enkuba ebula, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nti, “Genda weerage eri Akabu, omutegeeze nti nditonnyesa enkuba ku nsi.” 2Awo Eriya n’agenda okweyanjula eri Akabu. 3Mu biro ebyo enjala ng’ennyinnyitidde nnyo mu Samaliya, Akabu n’ayita Obadiya omukulu w’olubiri eyali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. 4Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya n’addira bannabbi kikumi n’abakweka mu mpuku bbiri buli emu ng’erimu amakumi ataano ataano, n’abaweeranga omwo emmere n’amazzi. 5Akabu n’amugamba nti, “Tuuka buli wantu awali enzizi ez’amazzi n’awali obugga bwonna, oboolyawo tunaafuna omuddo ne tuwonya embalaasi zaffe n’ennyumbu okufa, tuleme okufiirwa ensolo zonna.” 6Ne beeyawulamu bombi okubuna ensi, Akabu n’akwata ekkubo lye ne Obadiya n’akwata erirye.

7Awo Obadiya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, Eriya n’amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera n’avuunama wansi n’agamba nti, “Ddala ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?” 8N’addamu nti, “Ye nze. Genda ogambe mukama wo nti, ‘Eriya ali wano.’ ” 9Obadiya n’amugamba nti, “Kiki kye nkusobezza, okutuma omuddu wo eri Akabu ajja okunzita? 10Mukama Katonda wo nga bw’ali omulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy’atatumye mubaka kukunoonya. Era buli ggwanga, oba bwakabaka obwagambanga nti toliiyo, yabalayizanga okukakasa nti tobangayo. 11Kaakano oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange njogere nti, ‘Eriya ali wano.’ 12Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama. 13Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya n’amazzi okunywa. 14Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”

15Eriya n’amugamba, “Nga Mukama ow’Eggye bw’ali omulamu, gwe mpeereza, siireme kweraga eri Akabu leero.”

Eriya ku Lusozi Kalumeeri

16Awo Obadiya n’agenda okusisinkana Akabu, n’amutegeeza; Akabu n’ajja okusisinkana Eriya. 17Akabu bwe yalaba Eriya, n’amubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?”

18Eriya n’addamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe n’ennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali. 19Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.” 20Awo Akabu n’atumira abantu ba Isirayiri bonna, era n’akuŋŋaanya ne bannabbi bonna ku lusozi Kalumeeri. 21Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”

Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.

22Eriya n’abagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano. 23Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro. 24Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.”

25Eriya n’agamba bannabbi ba Baali18:25 Baali yali lubaale wa kubwatuka, eyasinzibwanga mu bantu ba Asuuli ne Kanani. nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.” 26Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka.

Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.

27Mu ssaawa ez’omu ttuntu Eriya n’atandika okubaduulira, ng’ayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.” 28Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala n’obwambe ne beefumita n’amafumu ng’empisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta. 29Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.

30Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 31N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” 32N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi. 33N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” 34N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. 35Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, n’okujjula ne gajjula olusalosalo.

36Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo. 37Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”

38Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, n’enku, n’amayinja, n’ettaka, ne gumalirawo ddala n’amazzi mu lusalosalo. 39Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” 40Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.

Ekyeya Kikoma

41Eriya n’agamba Akabu nti, “Genda olye, n’okunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kw’enkuba ey’amaanyi.” 42Awo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.

43N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”

Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.”

Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.

44Ku mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”

Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”

45Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba ey’amaanyi n’ejja, Akabu n’ayolekera e Yezuleeri. 46Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 18:1-46

以利亚战胜巴力的先知

1旱灾持续了三年。一天,耶和华吩咐以利亚说:“你去见亚哈。我要降雨在地上。” 2以利亚就去见亚哈。当时,撒玛利亚正遭受严重的饥荒。 3-4亚哈的宫廷总管俄巴底非常敬畏耶和华,耶洗别屠杀耶和华的众先知时,他救了一百名先知,把他们分别藏在两个山洞里,每洞五十人,并供应他们饮食。亚哈召见俄巴底5对他说:“我们去各地的水泉和河谷,也许可以找到草救活骡马,不致丧失牲畜。” 6于是,亚哈俄巴底分头到不同地区寻找。

7俄巴底在路上遇见了以利亚俄巴底认出了他,就俯伏在地上说:“你是我主以利亚吗?” 8以利亚回答说:“我就是,你去告诉你主人我在这里。” 9俄巴底说:“仆人犯了什么罪,你竟叫我去亚哈那里送死? 10我凭你的上帝——永活的耶和华起誓,王派人到各邦各国寻找你,任何邦国若说你不在那里,王就要他们起誓说真的找不到你。 11现在,你叫我去告诉我主人你在这里, 12我离开你以后,不知道耶和华的灵会把你带到哪里。如果我去告诉亚哈,他来了却找不到你,必定会杀我。然而,仆人自幼就敬畏耶和华。 13耶洗别屠杀耶和华的众先知时,我把一百名先知分别藏在两个山洞里,每洞五十人,供应他们饮食。我主没有听说这事吗? 14现在,你要我去告诉我主人你在这里,这是让我去送死。” 15以利亚说:“我事奉的是永活的万军之耶和华,我凭祂起誓,我今天必出现在亚哈面前。”

16于是,俄巴底去禀告亚哈亚哈就来找以利亚17见到以利亚后,就说:“给以色列带来灾祸的就是你吗?” 18以利亚回答说:“给以色列带来灾祸的不是我,而是你和你父亲家,因为你们抛弃耶和华的诫命,去随从巴力19现在,你快派人去召集所有的以色列人到迦密山来见我,把巴力的四百五十名先知和耶洗别所供养的四百名亚舍拉的先知也带来。”

20亚哈便派人把以色列人和那些先知招聚到迦密山。 21以利亚走到众人面前说:“你们三心二意要到什么时候呢?如果耶和华是上帝,你们当跟从祂;如果巴力是上帝,你们就跟从他吧!”他们都默不作声。 22以利亚继续对众人说:“耶和华的先知现在只剩下我一人,巴力的先知却有四百五十人。 23请给我们牵两头公牛来,巴力的先知可以选一头,切成块放在柴上,但不要点火;我会把另一头公牛预备好,放在柴上,也不点火。 24然后,你们求告你们神明的名字,我求告耶和华,那听祷告降下火来的就是上帝。”众人非常赞同他的主意。 25以利亚巴力的先知说:“你们人数众多,可先选一头公牛预备好,然后呼求你们的神明,但不可点火。” 26他们取了公牛预备好,然后从早上到正午不断地呼求:“巴力啊,求你应允我们!”可是毫无动静。他们又绕着自己筑的祭坛跳个不停。

27中午时分,以利亚讥讽他们说:“喊大声一点,他肯定是神明!也许他在沉思冥想,也许太忙了,也许出游了,也许睡着了,需要人叫醒他!” 28于是,他们更加大声呼求,并按自己的教规用刀枪自割自刺,直到身体流血。 29他们不断地狂呼乱叫,直到献晚祭的时候,仍然毫无动静,没有半点反应。

30以利亚把众人召集到自己跟前,他重修已遭毁坏的耶和华的祭坛, 31拿了十二块石头分别代表雅各子孙的十二支派。耶和华曾经对雅各说:“你的名字要叫以色列。” 32以利亚就奉耶和华的名用那些石头筑了一座祭坛,又在坛的周围挖了一条能盛十五升谷种的沟, 33然后在坛上摆好柴,把公牛切成块放在柴上,对众人说:“你们去打四桶水倒在祭物和柴上。”他们照做了。 34以利亚吩咐他们再倒一次,他们又倒了一次。以利亚又吩咐他们倒第三次,他们就倒了第三次。 35水流到坛的四周,沟里也灌满了。

36到了献晚祭的时候,以利亚先知走到坛前祷告:“亚伯拉罕以撒以色列的上帝耶和华啊,求你今天让这些人知道你是以色列的上帝,我是你的仆人,我是按你的命令做这一切事。 37耶和华啊,求你应允我,应允我,好让众人知道你耶和华是上帝,你要使他们回心转意。” 38于是,耶和华降火烧尽了祭物、木柴、石头、尘土,甚至沟里的水。 39众人看见这情景,都俯伏在地高呼:“耶和华是上帝!耶和华是上帝!” 40以利亚对他们说:“抓住巴力的先知,别放走一个人!”众人就抓住他们,以利亚把他们带到基顺河边,在那里杀了他们。

上帝降雨

41以利亚亚哈说:“你去吃喝吧,因为我已听见大雨将临的声音。” 42亚哈就去吃喝。以利亚上到迦密山顶,跪在地上,脸伏在双膝之间。 43他吩咐仆人:“你去向海的方向观看。”仆人就去观看,然后说:“什么也没有。”以利亚又让他去观看,前后共七次。 44第七次,仆人说:“我看见一朵手掌那么大的云从海里升起来了。”以利亚便吩咐他:“你去告诉亚哈,叫他套车下山,免得被雨阻挡。” 45霎时间,天上乌云密布,狂风大作,下起大雨。亚哈坐着马车回耶斯列46耶和华的灵降在以利亚身上,他就束上腰带,飞奔回城,在亚哈之前到达耶斯列的城门。