1 Abakkolinso 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 2:1-16

12:1 1Ko 1:17Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. 22:2 Bag 6:14; 1Ko 1:23Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. 32:3 Bik 18:1-18Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. 42:4 Bar 15:19Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, 52:5 2Ko 4:7; 6:7okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

62:6 a Bef 4:13; Baf 3:15; Beb 5:14 b 1Ko 1:20Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. 7Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; 82:8 Bik 7:2; Yak 2:1tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. 92:9 Is 64:4; 65:17Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,

n’okutu bye kutawulirangako,

n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako

Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

102:10 a Mat 13:11; Bef 3:3, 5 b Yk 14:26Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 112:11 a Yer 17:9 b Nge 20:27Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 122:12 a Bar 8:15 b 1Ko 1:20, 27Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, 132:13 1Ko 1:17era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 142:14 1Ko 1:18Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

162:16 a Is 40:13 b Yk 15:15“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,

era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”