1 Abakkolinso 16 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 16:1-24

Okuyamba Abantu ba Katonda

1Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. 2Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 3Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. 4Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.

Enteekateeka za Pawulo

5Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. 6Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. 7Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. 8Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. 9Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.

10Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.

12Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.

Ebikomererayo

13Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

15Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko16:17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bandiba nga be baaleetera Pawulo ebbaluwa eyava mu Bakkolinso bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.

19Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.

Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.

20Era abooluganda bonna babalamusizza.

Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.

21Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.

22Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!

23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

24Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.