1 Abakkolinso 11 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 11:1-34

1Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Okubikka ku Mutwe mu Kusinza

2Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. 3Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. 4Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. 5N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. 6Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. 7Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. 8Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. 9Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 12Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

13Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 16Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

17Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 18Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 19Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 21Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.

22Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 23Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 25Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

27Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 34Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

New International Reader’s Version

1 Corinthians 11:1-34

1Follow my example, just as I follow the example of Christ.

Proper Worship

2I praise you for being faithful in remembering me. I also praise you for staying true to the teachings of the past. You have stayed true to them, just as I gave them to you. 3But I want you to know that the head of every man is Christ. The head of the woman is the man. And the head of Christ is God. 4Every man who prays or prophesies with his head covered brings shame on his head. 5But every woman who prays or prophesies with her head uncovered brings shame on her head. It is the same as having her head shaved. 6What if a woman does not cover her head? She might as well have her hair cut off. But it is shameful for her to cut her hair or shave her head. So she should cover her head.

7A man should not cover his head. He is the likeness and glory of God. But woman is the glory of man. 8Man did not come from woman. Woman came from man. 9Also, man was not created for woman. Woman was created for man. 10That’s why a woman should have authority over her own head. She should have this because of the angels. 11But here is how things are for those who belong to the Lord. Woman is not independent of man. And man is not independent of woman. 12Woman came from man, and man is born from woman. But everything comes from God.

13You be the judge. Is it proper for a woman to pray to God without covering her head? 14Suppose a man has long hair. Doesn’t the very nature of things teach you that it is shameful? 15And suppose a woman has long hair. Doesn’t the very nature of things teach you that it is her glory? Long hair is given to her as a covering. 16If anyone wants to argue about this, we don’t have any other practice. And God’s churches don’t either.

Celebrating the Lord’s Supper in the Right Way

17In the following matters, I don’t praise you. Your meetings do more harm than good. 18First, here is what people are telling me. When you come together as a church, you take sides. And in some ways I believe it. 19Do you really think you need to take sides? You probably think God favors one side over the other! 20So when you come together, it is not the Lord’s Supper you eat. 21As you eat, some of you go ahead and eat your own private meals. Because of this, one person stays hungry and another gets drunk. 22Don’t you have homes to eat and drink in? You are shaming those in the church who have nothing. Do you think so little of God’s church that you do this? What should I say to you? Should I praise you? Certainly not about the Lord’s Supper!

23I passed on to you what I received from the Lord. On the night the Lord Jesus was handed over to his enemies, he took bread. 24When he had given thanks, he broke it. He said, “This is my body. It is given for you. Every time you eat it, do it in memory of me.” 25In the same way, after supper he took the cup. He said, “This cup is the new covenant in my blood. Every time you drink it, do it in memory of me.” 26You eat the bread and drink the cup. When you do this, you are announcing the Lord’s death until he comes again.

27Eat the bread or drink the cup of the Lord in the right way. Don’t do it in a way that isn’t worthy of him. If you do, you will be guilty. You’ll be guilty of sinning against the body and blood of the Lord. 28Everyone should take a careful look at themselves before they eat the bread and drink from the cup. 29Whoever eats and drinks must recognize the body of Christ. If they don’t, judgment will come upon them. 30That is why many of you are weak and sick. That is why a number of you have died. 31We should think more carefully about what we are doing. Then we would not be found guilty for this. 32When the Lord judges us in this way, he corrects us. Then in the end we will not be judged along with the rest of the world.

33My brothers and sisters, when you come together to eat, you should all eat together. 34Anyone who is hungry should eat something at home. Then when you come together, you will not be judged.

When I come, I will give you more directions.