Olubereberye 1 – LCB & PCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 1:1-31

Entandikwa

1Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. 2Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.

3Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. 4Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. 5Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.

6Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” 7Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. 8Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.

9Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. 10Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

11Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. 12Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 13Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.

14Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. 15Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. 16Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. 17Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, 18enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. 19Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.

20Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 21Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.

24Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 25Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

26Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”

27Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,

mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;

n’abatonda omusajja n’omukazi.

28Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

29Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 30Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.

31Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.

Persian Contemporary Bible

پيدايش 1:1-31

داستان آفرينش

1در آغاز، هنگامی كه خدا آسمانها و زمين را آفريد، 2زمين، خالی و بی‌شكل بود، و روح خدا روی توده‌های تاريکِ بخار حركت می‌كرد. 3خدا فرمود: «روشنايی بشود.» و روشنايی شد. 4خدا روشنايی را پسنديد و آن را از تاريكی جدا ساخت. 5او روشنايی را «روز» و تاريكی را «شب» ناميد. شب گذشت و صبح شد. اين، روز اول بود.

6سپس خدا فرمود: «توده‌های بخار از هم جدا شوند تا آسمان در بالا و اقيانوسها در پايين تشكيل گردند.» 7‏-8خدا توده‌های بخار را از آبهای پايين جدا كرد و آسمان را به وجود آورد. شب گذشت و صبح شد. اين، روز دوم بود.

9‏-10پس از آن خدا فرمود: «آبهای زير آسمان در يكجا جمع شوند تا خشكی پديد آيد.» و چنين شد. خدا خشكی را «زمين» و اجتماع آبها را «دريا» ناميد و خدا اين را پسنديد. 11‏-12سپس خدا فرمود: «انواع نباتات و گياهان دانه‌دار و درختان ميوه‌دار در زمين برويند و هر يک، نوع خود را توليد كنند.» همينطور شد و خدا خشنود گرديد. 13شب گذشت و صبح شد. اين، روز سوم بود.

14‏-15سپس خدا فرمود: «در آسمان اجسام درخشانی باشند تا زمين را روشن كنند و روز را از شب جدا نمايند و روزها، فصلها و سالها را پديد آورند.» و چنين شد. 16پس خدا دو روشنايی بزرگ ساخت تا بر زمين بتابند: روشنايی بزرگتر برای حكومت بر روز و روشنايی كوچكتر برای حكومت بر شب. او همچنين ستارگان را ساخت. 17خدا آنها را در آسمان قرار داد تا زمين را روشن سازند، 18بر روز و شب حكومت كنند، و روشنايی و تاريكی را از هم جدا نمايند. و خدا خشنود شد. 19شب گذشت و صبح شد. اين، روز چهارم بود.

20سپس خدا فرمود: «آبها از موجودات زنده پر شوند و پرندگان بر فراز آسمان به پرواز درآيند.» 21‏-22پس خدا حيوانات بزرگ دريايی و انواع جانوران آبزی و انواع پرندگان را آفريد. خدا از اين نيز خشنود شد و آنها را بركت داده، فرمود: «موجودات دريايی بارور و زياد شوند و آبها را پُر سازند و پرندگان نيز روی زمين زياد شوند.» 23شب گذشت و صبح شد. اين، روز پنجم بود.

24سپس خدا فرمود: «زمين، انواع جانوران و حيوانات اهلی و وحشی و خزندگان را به وجود آوَرَد.» و چنين شد. 25خدا انواع حيوانات اهلی و وحشی و تمام خزندگان را به وجود آورد، و از كار خود خشنود گرديد.

26سرانجام خدا فرمود: «انسان را شبيه خود بسازيم، تا بر حيوانات زمين و ماهيان دريا و پرندگان آسمان فرمانروايی كند.» 27پس خدا انسان را شبيه خود آفريد. او انسان را زن و مرد خلق كرد 28و ايشان را بركت داده، فرمود: «بارور و زياد شويد، زمين را پُر سازيد، بر آن تسلط يابيد، و بر ماهيان دريا و پرندگان آسمان و همهٔ حيوانات فرمانروايی كنيد. 29تمام گياهان دانه‌دار و ميوه‌های درختان را برای خوراک به شما دادم، 30و همهٔ علفهای سبز را به حيوانات و پرندگان و خزندگان بخشيدم.»

31آنگاه خدا به آنچه آفريده بود نظر كرد و كار آفرينش را از هر لحاظ عالی ديد. شب گذشت و صبح شد. اين، روز ششم بود.