출애굽기 2 – KLB & LCB

Korean Living Bible

출애굽기 2:1-25

모세의 출생

1이때 레위 지파의 한 남자가 같은 지파의 어떤 여자와 결혼하였다.

2그녀가 임신하여 아들을 낳았는데 그녀는 그 아이가 아주 예쁜 것을 보고 석 달 동안 그를 숨겨 오다가

3더 이상 숨길 수가 없어서 갈대 상자를 구해 물이 새지 않도록 역청과 나무 진을 칠하고 아이를 담아 그 상자를 나일 강변의 갈대 사이에 두었다.

4그리고 그 누이는 그 아이가 어떻게 되는지 보려고 멀리 서서 지켜 보고 있었다.

5그때 마침 바로의 딸이 목욕을 하려고 강으로 내려왔으며 그녀의 시녀들은 강변을 거닐고 있었다. 공주가 갈대 사이에 있는 그 상자를 보고 시녀를 보내 그것을 가져오게 하였다.

6그런데 그 상자를 열어 보니 그 속에 아이가 들어 있지 않겠는가! 아이가 울자 공주는 그를 측은하게 생각하며 “히브리 사람의 아이구나!” 하였다.

7그때 그 아이의 누이가 바로의 딸에게 “내가 가서 히브리 여자 중에 유모를 불러다가 공주님을 위해 그 아이를 양육하게 할까요?” 하고 묻자

8공주는 그녀에게 “좋다. 가서 유모를 데려오너라” 하고 대답하였다. 그 소녀가 가서 그 아이의 어머니를 데려오자

9공주는 그녀에게 “이 아이를 데려다가 나를 위해 젖을 먹여라. 내가 그 삯을 주겠다” 하였다. 그래서 그녀는 그 아이를 데려다가 양육하였다.

10그 아이가 제법 자랐을 때 그를 바로의 딸에게 데리고 가자 공주는 그를 양자로 삼고 “내가 그를 물에서 건져내었다” 하고 그 이름을 2:10 ‘건져낸다’ 는 뜻.모세라고 지었다.

미디안으로 도망치는 모세

11모세는 성장한 후에 어느 날 자기 백성들이 있는 곳으로 가서 그들이 고된 노동을 하고 있는 것을 지켜 보던 중에 한 이집트 사람이 자기 민족인 히브리 사람을 치는 것을 목격하였다.

12그때 모세는 좌우로 살펴 사람이 없는 것을 보고 그 이집트 사람을 쳐죽여 시체를 모래 속에 감추어 버렸다.

13다음날 그가 다시 나가 보니 두 히브리 사람이 서로 싸우고 있었다. 그래서 그는 잘못한 사람에게 “어째서 당신은 동족을 치시오?” 하고 꾸짖었다.

14그러자 그 사람은 “누가 당신을 우리의 지도자와 재판관으로 세웠소? 당신이 이집트 사람을 죽인 것처럼 나도 죽일 셈이오?” 하고 대들었다. 그때 모세는 두려워하며 “내가 한 일이 탄로났구나” 하고 중얼거렸다.

15바로는 그 일을 듣고 모세를 죽이려고 하였으나 모세는 미디안 땅으로 피신하였다. 어느 날 모세가 우물가에 앉아 있을 때

16미디안 제사장의 일곱 딸들이 와서 물을 길어 구유에 채우고 자기들 아버지의 양떼에게 물을 먹이려고 하였다.

17그러나 이때 몇몇 목자들이 와서 제사장의 딸들을 쫓았다. 그래서 모세가 일어나 그 여자들을 돕고 그들의 양떼에게 물을 먹였다.

18그들이 자기들 아버지 르우엘에게 돌아왔을 때 아버지가 그들에게 물었다. “오늘은 어떻게 이처럼 일찍 돌아왔느냐?”

19“어떤 이집트 사람이 우리를 목자들에게서 지켜 주고 우리를 위해 물까지 길어 양떼에게 먹여 주었습니다.”

20“그 사람이 어디 있느냐? 어째서 너희가 그 사람을 버려 두고 왔느냐? 그 사람을 초대하여 음식을 대접하도록 하여라.”

21모세가 기꺼이 그 곳에 살겠다고 하자 르우엘은 그를 자기 딸 십보라와 결혼시켰다.

22그녀가 아들을 낳았을 때 모세는 “내가 타국에서 객이 되었다” 하고 그 이름을 2:22 ‘객’ 이라는뜻.게르솜이라고 지었다.

23여러 해 후에 이집트 왕이 죽었으나 이스라엘 사람들은 여전히 고역으로 신음하며 부르짖었다. 그들이 부르짖는 소리가 하늘에 사무치자

24하나님은 그들이 신음하는 소리를 들으시고 아브라함과 이삭과 야곱에게 하신 2:24 또는 ‘언약’약속을 기억하셔서

25이스라엘 자손을 돌아보시고 그들에게 관심을 가지셨다.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 2:1-25

Okuzaalibwa kwa Musa

1Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi. 2Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. 4Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.

5Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”

7Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” 8Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”

Musa Addukira e Midiyaani

11Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 13Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 14Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”

15Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;2:15 Midiyaani yali omu ku batabani ba Ibulayimu (Lub 25:2). Abamidiyaani baabeeranga obukiikakkono bwa Sinaayi. n’atuula awali oluzzi. 16Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 17Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.

18Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,2:18 Leweri lye lyali erinnya lya Yesero eddala. n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 20N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”

21Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 22Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”

23Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. 25Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.