거짓 선생과 그 대책
1전에 이스라엘 백성 가운데 거짓 예언자들이 있었듯이 여러분 가운데도 거짓 선생이 나타날 것입니다. 그들은 파괴적인 이단을 몰래 끌어들여 자기들을 사신 주님을 모른다고 잡아떼며 임박한 멸망을 스스로 불러들이는 자들입니다.
2많은 사람이 그들의 방탕한 길을 따를 것이며 그들 때문에 진리가 훼방을 받게 될 것입니다.
3또 그들은 욕심을 채우려고 거짓말로 여러분을 착취할 것입니다. 그러나 그들은 반드시 하나님의 심판을 받아 멸망하고 말 것입니다.
4하나님은 범죄한 천사들을 용서하지 않으시고 2:4 헬 ‘탈타로스’깊은 지옥에 던져 심판 때까지 어두운 구덩이에 가두어 두셨습니다.
5또 하나님은 옛 세상을 용서하지 않으시고 경건치 않은 사람들을 홍수로 쓸어 버리셨으나 의의 전도자 노아와 그의 일곱 식구를 구원하셨습니다.
6그리고 죄악의 도시 소돔과 고모라 성을 잿더미가 되게 하셔서 훗날 경건치 않은 사람들에 대한 본보기로 삼으셨습니다.
7그러나 악한 자들의 방탕으로 큰 고통을 받던 의로운 롯은 구원하셨습니다.
8(롯은 그들의 악한 짓을 날마다 보고 들으면서 몹시 괴로워했습니다.)
9하나님은 경건한 사람을 시험에서 건져내시고 악한 사람은 심판 날까지 계속 벌을 받게 하는 방법을 알고 계십니다.
10특별히 육체의 정욕대로 살며 2:10 또는 ‘주관하는 이를 멸시하는’하나님의 권위를 멸시하는 사람에게는 더욱 큰 벌을 내리실 것입니다. 그들은 대담하고 거만하여 두려움 없이 하늘의 존재들을 욕합니다.
11그러나 그들보다 더 큰 힘과 능력을 가진 천사들도 주님 앞에서 그들을 헐뜯어 고소하지는 않습니다.
12그들은 본래 잡혀 죽기 위해 태어난 이성 없는 짐승 같아서 알지도 못하는 것을 욕하니 그들도 짐승처럼 멸망하고 말 것입니다.
13결국 그들은 악한 짓을 한 그 대가를 받을 것입니다. 그들은 대낮에 흥청대는 것을 낙으로 여기며 여러분과 함께 앉은 잔치 자리에서까지 속이고 쾌락을 즐기는 더러운 사람들입니다.
14그들의 눈은 음란으로 가득 차서 끊임없이 죄를 짓습니다. 그들은 믿음이 약한 사람들을 꾀어 욕심을 채우는 데 단련된 저주받은 자식들인 것입니다.
15그들은 바른 길을 버리고 잘못된 길에 빠져 브올의 아들 발람의 길을 따르고 있습니다. 발람은 악한 방법으로 얻은 재물을 사랑하다가
16그의 잘못에 대하여 책망을 받았습니다. 말 못하는 나귀가 사람의 음성으로 말하여 이 예언자의 미친 행동을 막은 것입니다.
17이 사람들은 물 없는 샘과 폭풍에 밀려가는 안개와 같으며 그들에게는 칠흑 같은 어두움만이 있을 뿐입니다.
18그들은 헛된 말로 자랑하며 잘못된 길에서 겨우 빠져나온 사람들을 육체의 정욕으로 꾀어 죄를 짓게 합니다.
19그들은 사람들에게 자유를 준다고 하면서 자신들은 2:19 또는 ‘부패의 종’멸망의 종이 되어 있습니다. 누구든지 정복을 당하면 그는 정복자의 종이 되는 것입니다.
20만일 주 예수 그리스도를 알고 세상의 더러운 것에서 해방된 사람들이 다시 거기에 빠져 정복을 당하면 그들의 마지막 형편은 처음보다 더 비참합니다.
21바른 교훈인 줄 알면서 자신들에게 주어진 거룩한 계명을 저버린다면 그것을 모르는 편이 더 좋습니다.
222:22 잠26:11“개가 토한 것을 다시 먹고 돼지가 몸을 씻고도 다시 진탕에 뒹군다” 는 속담이 그들에게 맞는 말입니다.
Abayigiriza ab’Obulimba
12:1 a Ma 13:1-3 b 1Ti 4:1 c Yud 4 d 1Ko 6:20Naye waaliwo ne bannabbi ab’obulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okw’amangu. 2Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ez’obukaba ne bavumaganyisa ekkubo ery’amazima; 32:3 2Ko 2:17; 1Bs 2:5balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo eby’obulimba olw’omululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era n’okuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.
42:4 Yud 6; Kub 20:1, 2Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango. 52:5 a 2Pe 3:6 b Beb 11:7; 1Pe 3:20N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu. 62:6 a Lub 19:24, 25 b Kbl 26:10; Yud 7Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. 72:7 a Lub 19:16 b 2Pe 3:17Kyokka n’awonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olw’obulamu obw’abantu abo abajeemu. 8Olw’okubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era n’awuliranga ebikolwa eby’obujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu. 92:9 1Ko 10:13Mukama amanyi okuwonya n’okuggya mu kugezesebwa abamutya, n’abonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango, 102:10 a 2Pe 3:3 b Yud 8n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe.
Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. 112:11 Yud 9Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi n’obuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma. 122:12 Yud 10Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ng’ensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ng’ensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.
132:13 a Bar 13:13 b 1Ko 11:20, 21; Yud 12Abantu abo bagenda kubonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olw’okwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe. 142:14 a nny 18 b nny 3 c Bef 2:3Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa, 152:15 Kbl 22:4-20; Yud 11abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu. 162:16 Kbl 22:21-30Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza n’emumanya olw’obujeemu bwe n’eziyiza eddalu lya nnabbi oyo.
172:17 a Yud 12 b Yud 13Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ng’ebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo eky’ekizikiza ekikutte be zigizigi. 182:18 Yud 16Boogera ebigambo eby’okwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kw’omubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi n’okubadduka abakyatambulira mu kibi. 192:19 Yk 8:34; Bar 6:16Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi eby’okuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu w’ekyo ekimufuga. 202:20 a 2Pe 1:2 b Mat 12:45Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo eby’ensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka. 212:21 Beb 6:4-6Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe ery’obutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa. 222:22 Nge 26:11Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”