Luke 12 – NIV & LCB

New International Version

Luke 12:1-59

Warnings and Encouragements

1Meanwhile, when a crowd of many thousands had gathered, so that they were trampling on one another, Jesus began to speak first to his disciples, saying: “Be12:1 Or speak to his disciples, saying: “First of all, be on your guard against the yeast of the Pharisees, which is hypocrisy. 2There is nothing concealed that will not be disclosed, or hidden that will not be made known. 3What you have said in the dark will be heard in the daylight, and what you have whispered in the ear in the inner rooms will be proclaimed from the roofs.

4“I tell you, my friends, do not be afraid of those who kill the body and after that can do no more. 5But I will show you whom you should fear: Fear him who, after your body has been killed, has authority to throw you into hell. Yes, I tell you, fear him. 6Are not five sparrows sold for two pennies? Yet not one of them is forgotten by God. 7Indeed, the very hairs of your head are all numbered. Don’t be afraid; you are worth more than many sparrows.

8“I tell you, whoever publicly acknowledges me before others, the Son of Man will also acknowledge before the angels of God. 9But whoever disowns me before others will be disowned before the angels of God. 10And everyone who speaks a word against the Son of Man will be forgiven, but anyone who blasphemes against the Holy Spirit will not be forgiven.

11“When you are brought before synagogues, rulers and authorities, do not worry about how you will defend yourselves or what you will say, 12for the Holy Spirit will teach you at that time what you should say.”

The Parable of the Rich Fool

13Someone in the crowd said to him, “Teacher, tell my brother to divide the inheritance with me.”

14Jesus replied, “Man, who appointed me a judge or an arbiter between you?” 15Then he said to them, “Watch out! Be on your guard against all kinds of greed; life does not consist in an abundance of possessions.”

16And he told them this parable: “The ground of a certain rich man yielded an abundant harvest. 17He thought to himself, ‘What shall I do? I have no place to store my crops.’

18“Then he said, ‘This is what I’ll do. I will tear down my barns and build bigger ones, and there I will store my surplus grain. 19And I’ll say to myself, “You have plenty of grain laid up for many years. Take life easy; eat, drink and be merry.” ’

20“But God said to him, ‘You fool! This very night your life will be demanded from you. Then who will get what you have prepared for yourself?’

21“This is how it will be with whoever stores up things for themselves but is not rich toward God.”

Do Not Worry

22Then Jesus said to his disciples: “Therefore I tell you, do not worry about your life, what you will eat; or about your body, what you will wear. 23For life is more than food, and the body more than clothes. 24Consider the ravens: They do not sow or reap, they have no storeroom or barn; yet God feeds them. And how much more valuable you are than birds! 25Who of you by worrying can add a single hour to your life12:25 Or single cubit to your height? 26Since you cannot do this very little thing, why do you worry about the rest?

27“Consider how the wild flowers grow. They do not labor or spin. Yet I tell you, not even Solomon in all his splendor was dressed like one of these. 28If that is how God clothes the grass of the field, which is here today, and tomorrow is thrown into the fire, how much more will he clothe you—you of little faith! 29And do not set your heart on what you will eat or drink; do not worry about it. 30For the pagan world runs after all such things, and your Father knows that you need them. 31But seek his kingdom, and these things will be given to you as well.

32“Do not be afraid, little flock, for your Father has been pleased to give you the kingdom. 33Sell your possessions and give to the poor. Provide purses for yourselves that will not wear out, a treasure in heaven that will never fail, where no thief comes near and no moth destroys. 34For where your treasure is, there your heart will be also.

Watchfulness

35“Be dressed ready for service and keep your lamps burning, 36like servants waiting for their master to return from a wedding banquet, so that when he comes and knocks they can immediately open the door for him. 37It will be good for those servants whose master finds them watching when he comes. Truly I tell you, he will dress himself to serve, will have them recline at the table and will come and wait on them. 38It will be good for those servants whose master finds them ready, even if he comes in the middle of the night or toward daybreak. 39But understand this: If the owner of the house had known at what hour the thief was coming, he would not have let his house be broken into. 40You also must be ready, because the Son of Man will come at an hour when you do not expect him.”

41Peter asked, “Lord, are you telling this parable to us, or to everyone?”

42The Lord answered, “Who then is the faithful and wise manager, whom the master puts in charge of his servants to give them their food allowance at the proper time? 43It will be good for that servant whom the master finds doing so when he returns. 44Truly I tell you, he will put him in charge of all his possessions. 45But suppose the servant says to himself, ‘My master is taking a long time in coming,’ and he then begins to beat the other servants, both men and women, and to eat and drink and get drunk. 46The master of that servant will come on a day when he does not expect him and at an hour he is not aware of. He will cut him to pieces and assign him a place with the unbelievers.

47“The servant who knows the master’s will and does not get ready or does not do what the master wants will be beaten with many blows. 48But the one who does not know and does things deserving punishment will be beaten with few blows. From everyone who has been given much, much will be demanded; and from the one who has been entrusted with much, much more will be asked.

Not Peace but Division

49“I have come to bring fire on the earth, and how I wish it were already kindled! 50But I have a baptism to undergo, and what constraint I am under until it is completed! 51Do you think I came to bring peace on earth? No, I tell you, but division. 52From now on there will be five in one family divided against each other, three against two and two against three. 53They will be divided, father against son and son against father, mother against daughter and daughter against mother, mother-in-law against daughter-in-law and daughter-in-law against mother-in-law.”

Interpreting the Times

54He said to the crowd: “When you see a cloud rising in the west, immediately you say, ‘It’s going to rain,’ and it does. 55And when the south wind blows, you say, ‘It’s going to be hot,’ and it is. 56Hypocrites! You know how to interpret the appearance of the earth and the sky. How is it that you don’t know how to interpret this present time?

57“Why don’t you judge for yourselves what is right? 58As you are going with your adversary to the magistrate, try hard to be reconciled on the way, or your adversary may drag you off to the judge, and the judge turn you over to the officer, and the officer throw you into prison. 59I tell you, you will not get out until you have paid the last penny.”

Luganda Contemporary Bible

Lukka 12:1-59

Ebirabula n’Ebigumya

1Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. 2Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. 3Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.

4“Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. 5Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. 6Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti. 7Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.

8“Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9Naye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 10Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.

11“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza, 12kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”

13Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”

14Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?” 15N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”

16Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi. 17N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’

18“Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange. 19Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’

20“Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’

21“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”

Temweraliikiriranga

22Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala. 23Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo. 24Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! 25Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu? 26Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?

27“Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 28Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono! 29Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. 30Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. 31Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.

32“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. 33Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. 34Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.

35“Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.

39“Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira. 40Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

41Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”

42Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? 43Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. 44Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. 45Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, 46mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.

47“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. 48Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.

49“Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde! 50Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa! 51Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”

Okunnyonnyola Ebiriwo

54Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya. 55Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. 56Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?

57“Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu? 58Bw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera. 59Kubanga nkutegeeza nti togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”