Ezekiel 43 – NIV & LCB

New International Version

Ezekiel 43:1-27

God’s Glory Returns to the Temple

1Then the man brought me to the gate facing east, 2and I saw the glory of the God of Israel coming from the east. His voice was like the roar of rushing waters, and the land was radiant with his glory. 3The vision I saw was like the vision I had seen when he43:3 Some Hebrew manuscripts and Vulgate; most Hebrew manuscripts I came to destroy the city and like the visions I had seen by the Kebar River, and I fell facedown. 4The glory of the Lord entered the temple through the gate facing east. 5Then the Spirit lifted me up and brought me into the inner court, and the glory of the Lord filled the temple.

6While the man was standing beside me, I heard someone speaking to me from inside the temple. 7He said: “Son of man, this is the place of my throne and the place for the soles of my feet. This is where I will live among the Israelites forever. The people of Israel will never again defile my holy name—neither they nor their kings—by their prostitution and the funeral offerings43:7 Or the memorial monuments; also in verse 9 for their kings at their death.43:7 Or their high places 8When they placed their threshold next to my threshold and their doorposts beside my doorposts, with only a wall between me and them, they defiled my holy name by their detestable practices. So I destroyed them in my anger. 9Now let them put away from me their prostitution and the funeral offerings for their kings, and I will live among them forever.

10“Son of man, describe the temple to the people of Israel, that they may be ashamed of their sins. Let them consider its perfection, 11and if they are ashamed of all they have done, make known to them the design of the temple—its arrangement, its exits and entrances—its whole design and all its regulations43:11 Some Hebrew manuscripts and Septuagint; most Hebrew manuscripts regulations and its whole design and laws. Write these down before them so that they may be faithful to its design and follow all its regulations.

12“This is the law of the temple: All the surrounding area on top of the mountain will be most holy. Such is the law of the temple.

The Great Altar Restored

13“These are the measurements of the altar in long cubits,43:13 That is, about 21 inches or about 53 centimeters; also in verses 14 and 17. The long cubit is the basic unit for linear measurement throughout Ezekiel 40–48. that cubit being a cubit and a handbreadth: Its gutter is a cubit deep and a cubit wide, with a rim of one span43:13 That is, about 11 inches or about 27 centimeters around the edge. And this is the height of the altar: 14From the gutter on the ground up to the lower ledge that goes around the altar it is two cubits high, and the ledge is a cubit wide.43:14 That is, about 3 1/2 feet high and 1 3/4 feet wide or about 105 centimeters high and 53 centimeters wide From this lower ledge to the upper ledge that goes around the altar it is four cubits high, and that ledge is also a cubit wide.43:14 That is, about 7 feet high and 1 3/4 feet wide or about 2.1 meters high and 53 centimeters wide 15Above that, the altar hearth is four cubits high, and four horns project upward from the hearth. 16The altar hearth is square, twelve cubits43:16 That is, about 21 feet or about 6.4 meters long and twelve cubits wide. 17The upper ledge also is square, fourteen cubits43:17 That is, about 25 feet or about 7.4 meters long and fourteen cubits wide. All around the altar is a gutter of one cubit with a rim of half a cubit.43:17 That is, about 11 inches or about 27 centimeters The steps of the altar face east.”

18Then he said to me, “Son of man, this is what the Sovereign Lord says: These will be the regulations for sacrificing burnt offerings and splashing blood against the altar when it is built: 19You are to give a young bull as a sin offering43:19 Or purification offering; also in verses 21, 22 and 25 to the Levitical priests of the family of Zadok, who come near to minister before me, declares the Sovereign Lord. 20You are to take some of its blood and put it on the four horns of the altar and on the four corners of the upper ledge and all around the rim, and so purify the altar and make atonement for it. 21You are to take the bull for the sin offering and burn it in the designated part of the temple area outside the sanctuary.

22“On the second day you are to offer a male goat without defect for a sin offering, and the altar is to be purified as it was purified with the bull. 23When you have finished purifying it, you are to offer a young bull and a ram from the flock, both without defect. 24You are to offer them before the Lord, and the priests are to sprinkle salt on them and sacrifice them as a burnt offering to the Lord.

25“For seven days you are to provide a male goat daily for a sin offering; you are also to provide a young bull and a ram from the flock, both without defect. 26For seven days they are to make atonement for the altar and cleanse it; thus they will dedicate it. 27At the end of these days, from the eighth day on, the priests are to present your burnt offerings and fellowship offerings on the altar. Then I will accept you, declares the Sovereign Lord.”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 43:1-27

Ekitiibwa kya Mukama kikomawo mu Yeekaalu

1Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba, 2ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye. 3Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama. 4Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, 5Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.

6Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu; 7n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu. 8Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange. 9Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.

10“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. 11Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.

12“Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu.

Ekyoto

13“Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba: 14okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana. 15Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana. 16Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga. 17Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”

18N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa. 19Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda. 20Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira. 21Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu.

22“Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume. 23Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo. 24Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

25“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo. 26Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda. 27Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera Mukama Katonda.”