1 Samuel 30 – NIV & LCB

New International Version

1 Samuel 30:1-31

David Destroys the Amalekites

1David and his men reached Ziklag on the third day. Now the Amalekites had raided the Negev and Ziklag. They had attacked Ziklag and burned it, 2and had taken captive the women and everyone else in it, both young and old. They killed none of them, but carried them off as they went on their way.

3When David and his men reached Ziklag, they found it destroyed by fire and their wives and sons and daughters taken captive. 4So David and his men wept aloud until they had no strength left to weep. 5David’s two wives had been captured—Ahinoam of Jezreel and Abigail, the widow of Nabal of Carmel. 6David was greatly distressed because the men were talking of stoning him; each one was bitter in spirit because of his sons and daughters. But David found strength in the Lord his God.

7Then David said to Abiathar the priest, the son of Ahimelek, “Bring me the ephod.” Abiathar brought it to him, 8and David inquired of the Lord, “Shall I pursue this raiding party? Will I overtake them?”

“Pursue them,” he answered. “You will certainly overtake them and succeed in the rescue.”

9David and the six hundred men with him came to the Besor Valley, where some stayed behind. 10Two hundred of them were too exhausted to cross the valley, but David and the other four hundred continued the pursuit.

11They found an Egyptian in a field and brought him to David. They gave him water to drink and food to eat— 12part of a cake of pressed figs and two cakes of raisins. He ate and was revived, for he had not eaten any food or drunk any water for three days and three nights.

13David asked him, “Who do you belong to? Where do you come from?”

He said, “I am an Egyptian, the slave of an Amalekite. My master abandoned me when I became ill three days ago. 14We raided the Negev of the Kerethites, some territory belonging to Judah and the Negev of Caleb. And we burned Ziklag.”

15David asked him, “Can you lead me down to this raiding party?”

He answered, “Swear to me before God that you will not kill me or hand me over to my master, and I will take you down to them.”

16He led David down, and there they were, scattered over the countryside, eating, drinking and reveling because of the great amount of plunder they had taken from the land of the Philistines and from Judah. 17David fought them from dusk until the evening of the next day, and none of them got away, except four hundred young men who rode off on camels and fled. 18David recovered everything the Amalekites had taken, including his two wives. 19Nothing was missing: young or old, boy or girl, plunder or anything else they had taken. David brought everything back. 20He took all the flocks and herds, and his men drove them ahead of the other livestock, saying, “This is David’s plunder.”

21Then David came to the two hundred men who had been too exhausted to follow him and who were left behind at the Besor Valley. They came out to meet David and the men with him. As David and his men approached, he asked them how they were. 22But all the evil men and troublemakers among David’s followers said, “Because they did not go out with us, we will not share with them the plunder we recovered. However, each man may take his wife and children and go.”

23David replied, “No, my brothers, you must not do that with what the Lord has given us. He has protected us and delivered into our hands the raiding party that came against us. 24Who will listen to what you say? The share of the man who stayed with the supplies is to be the same as that of him who went down to the battle. All will share alike.” 25David made this a statute and ordinance for Israel from that day to this.

26When David reached Ziklag, he sent some of the plunder to the elders of Judah, who were his friends, saying, “Here is a gift for you from the plunder of the Lord’s enemies.”

27David sent it to those who were in Bethel, Ramoth Negev and Jattir; 28to those in Aroer, Siphmoth, Eshtemoa 29and Rakal; to those in the towns of the Jerahmeelites and the Kenites; 30to those in Hormah, Bor Ashan, Athak 31and Hebron; and to those in all the other places where he and his men had roamed.

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 30:1-31

Dawudi Azikiriza Abamaleki

1Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro. 2Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala.

3Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa. 4Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba. 5Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte. 6Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.

7Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera. 8Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”

9Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, 10kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.

11Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya, 12ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.

13Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano. 14Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi30:14 Abakeresi baali baganda b’Abafirisuuti. Oluvannyuma beegatta ku Dawudi ne balwanira wamu naye mu lutalo (2Sa 15:18; 20:7; 1Bk 1:38), n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.” 15Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”

16N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda. 17Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa. 19Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu. 20N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”

21Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa. 22Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.”

23Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye. 24Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.” 25Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero.

26Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba Mukama.”

27Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri, 28ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa; 29n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni; 30n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki; 31n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.