創世記 10 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

創世記 10:1-32

10

セム、ハム、ヤペテの子孫

1ノアの三人の息子セム、ハム、ヤペテの家系は次のとおりです。以下は、洪水のあと三人に生まれた子どもたちです。

2ヤペテの子孫はゴメル、マゴグ、マダイ、ヤワン、トバル、メシェク、ティラス。

3ゴメルの子孫はアシュケナズ、リファテ、トガルマ。

4ヤワンの子孫はエリシャ、タルシシュ、キティム、ドダニム。

5この人たちの子孫は各地に散らばり、海に沿ってそれぞれの言語を持つ国々をつくりました。

6ハムの子孫はクシュ、ミツライム、プテ、カナン。

7クシュの子孫はセバ、ハビラ、サブタ、ラマ、サブテカ。

ラマの子孫はシェバ、デダン。

8クシュの子孫の一人に、ニムロデという人がいました。地上で最初の王になった人です。 9彼は神に祝福された力ある狩猟家で、その名が知れ渡っていました。「神に祝福された力ある狩猟家ニムロデのような人」という称賛のことばもあったほどです。 10彼は帝国をシヌアルの地に建て、バベル、エレク、アカデ、カルネなどを中心に栄えました。 11-12領土はやがてアッシリヤまで広がりました。ニネベ、レホボテ・イル、ケラフ、ニネベとケラフの間にあるレセンなどは、みな彼が建てた大きな町です。特にレセンは、王国の中でも重要な町でした。

13-14ミツライムは、次の地域に住みついた人たちの先祖となりました。ルデ、アナミム、レハビム、ナフトヒム、パテロス、ペリシテ人が出たカスルヒム、カフトル。

15-19カナンの長男はシドンで、ヘテも彼の子です。カナンの子孫から次の氏族が分かれ出ました。エブス人、エモリ人、ギルガシ人、ヒビ人、アルキ人、シニ人、アルワデ人、ツェマリ人、ハマテ人。カナンの子孫はやがて、シドンからガザ地区のゲラルに至る一帯に進出し、さらにソドム、ゴモラ、アデマ、ツェボイム、そしてレシャの近くまで広がりました。

20以上がハムの子孫で、たくさんの国や地方に散らばり、多くの国語を話すようになりました。

21ヤペテの兄セムはエベルのすべての子孫の父祖となりました。 22セムの子孫は次のとおりです。エラム、アシュル、アルパクシャデ、ルデ、アラム。

23アラムの子孫はウツ、フル、ゲテル、マシュ。

24アルパクシャデの息子はシェラフで、シェラフの息子がエベルです。

25エベルには二人の息子が生まれました。ペレグ〔「分裂」の意〕とヨクタンです。ペレグという名の由来は、彼の時代に世界が分裂し、人々が散らされたからです。

26-30ヨクタンの子孫はアルモダデ、シェレフ、ハツァルマベテ、エラフ、ハドラム、ウザル、ディクラ、オバル、アビマエル、シェバ、オフィル、ハビラ、ヨバブ。ヨクタンの子孫はみな、メシャからセファルに至る東部の丘陵地帯に住みつきました。

31以上がセムの子孫です。それぞれを政治区分、国語、地理的な位置などによって分けると、このようになります。

32これらの人々はみなノアの子孫の家系で、洪水のあと何世代にもわたって、彼らからいろいろな国が興ってきたのです。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 10:1-32

Bazzukulu ba Nuuwa

1Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.

Bazzukulu ba Kuusi

2Batabani ba Yafeesi:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

3Batabani ba Gomeri be bano:

Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.

4Batabani ba Yivani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. 5(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)

Bazzukulu ba Kaamu

6Batabani ba Kaamu be bano:

Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,10:6 Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya ne Kanani.

7Batabani ba Kuusi be bano:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

Batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

8Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. 9Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 10Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.10:10 Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda. 11Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.

13Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa

Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.

15Kanani ye yazaala

Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 16n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 18n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 19Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.

20Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

Bazzukulu ba Seemu

21Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

22Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,10:22 Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli. ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

23Batabani ba Alamu:

Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

24Alupakusaadi ye kitaawe wa10:24 yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa Seera Seera.

Seera ye kitaawe wa Eberi.

25Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

26Yokutaani ye yali kitaawe wa

Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.

30Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.

31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

32Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.