ホセア書 14 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

ホセア書 14:1-9

14

祝福をもたらす悔い改め

1イスラエルよ、あなたの神、主のところに帰りなさい。

あなたは自分の罪によってたたきのめされたのだから。

2願い事を携えて来なさい。

主のもとへ来て、こう言うのです。

「主よ、私たちの罪を取り去り、

恵みによって私たちを受け入れてください。

私たちは賛美のいけにえをささげます。

3アッシリヤは私たちを救えません。

私たちの戦力も救えません。

もう二度と、自分たちの作った偶像を

『私たちの神』と呼びません。

主よ、みなしごは、あなたの中にしか、

あわれみを見つけることができないのです。」

4「その時、おまえたちの偶像礼拝と不信の罪をいやそう。

わたしの愛は尽きることがない。

わたしの怒りは永久に消え去った。

5わたしは天からの露のようにイスラエルを潤すので、

イスラエルはゆりのように花を咲かせ、

レバノン杉のように土の中に深く根を張る。

6枝はオリーブの木のように美しく伸びて広がり、

レバノンの森のように良い香りがする。

7イスラエルの民は遠い地での捕囚から帰り、

わたしの陰にいこうようになる。

彼らは水をまいた庭園のようになり、

ぶどうの木のように花を咲かせ、

レバノンのぶどう酒のように良い香りを放つ。

8エフライムよ、偶像から離れよ。

わたしは生きていて、力強い。

わたしがあなたの世話をし、面倒を見る。

わたしは常磐木のように、

一年中、あなたのために実をむすぶ。

わたしのあわれみは決して絶えることがない。」

9賢い者はみな、これらのことを悟りなさい。

知恵のある者はみな、聞きなさい。

主の道は真実で正しく、良い人はその道を歩みます。

しかし罪人は、その道を歩こうとして失敗します。

Luganda Contemporary Bible

Koseya 14:1-9

Okwenenya Kuleeta Omukisa

1Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.

Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.

2Mudde eri Mukama

nga mwogera ebigambo bino nti,

“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,

otwanirize n’ekisa,

bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.

3Obwasuli tebusobola kutulokola;

Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.

Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’

nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,

kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

4Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,

ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.

Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.

5Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:

alimulisa ng’eddanga,

era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.

6Amatabi ge amato galikula;

n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,

n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.

7Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,

era alibala ng’emmere ey’empeke.

Alimulisa ng’omuzabbibu,

era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.

8Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?

Ndimwanukula ne mulabirira.

Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

9Abalina amagezi bategeera ensonga zino,

era abakabakaba balibimanya.

Amakuba ga Mukama matuufu,

n’abatuukirivu bagatambuliramu,

naye abajeemu bageesittaliramu.