הבשורה על-פי מתי 22 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי מתי 22:1‏-46

כב

1‏-2ישוע סיפר להם משלים נוספים על מלכות השמים. ”אפשר להמשיל את מלכות השמים למלך שערך סעודת־חתונה גדולה לבנו. 3כאשר הייתה הסעודה מוכנה שלח המלך שליחים אל האורחים שהזמין, כדי להודיע להם שהגיע הזמן לבוא לסעודה, אך כולם סרבו לבוא. 4המלך שלח שליחים אחרים להודיע למוזמנים: ’הזדרזו! השורים והבקר המפוטם טבוחים והצלי כבר בתנור!‘

5”אולם המוזמנים צחקו והלכו כל אחד לענייניו, אחד לשדה ואחר לשוק 6היו גם כאלה שתקפו את השליחים, הכו אותם, התעללו בהם ואפילו רצחו אחדים מהם.

7”המלך הזועם שלח גדודי צבא כדי להרוג את הרוצחים ולשרוף את עירם. 8הוא פנה אל משרתיו ואמר: ’משתה החתונה מוכן, אולם האורחים שהוזמנו לא היו ראויים לכבוד הזה. 9צאו אל הרחובות והזמינו את כל מי שתפגשו!‘ 10המשרתים עשו כדבריו והכניסו לאולם את כל מי שפגשו: אנשים טובים ורעים גם יחד, והאולם נמלא אורחים.

11”אולם כשנכנס המלך אל האולם כדי לראות את האורחים, גילה כי אחד מהם לא לבש בגדי חתונה הולמים.

12” ’ידידי‘, שאל המלך, ’כיצד נכנסת אל האולם ללא בגדי חתונה?‘ לַאורח לא הייתה תשובה.

13”אז אמר המלך למשרתיו: ’קשרו את ידיו ורגליו והשליכוהו החוצה לחושך, למקום שבו יש רק בכי וחריקת שיניים!‘ 14כי רבים הקרואים אך מעטים הנבחרים.“

15שוב נועצו הפרושים ביניהם וחיפשו דרך להכשיל את ישוע בלשונו. 16הם החליטו לשלוח אליו כמה מאנשיהם, יחד עם אנשי הורדוס, כדי לשאול אותו שאלה. ”אדון,“ הם פתחו, ”אנחנו יודעים שאתה איש ישר, ושאתה מלמד את דבר אלוהים בלי להתחשב בתוצאות, בלי פחד ומשוא־פנים. 17אמור לנו בבקשה, האם עלינו לשלם מס לקיסר הרומאי או לא?“ 18ישוע הבין את מזימתם, ולכן ענה: ”צבועים שכמוכם! כך אתם מנסים אותי? 19בואו הנה; תנו לי מטבע.“ והם נתנו לו מטבע. 20”דמותו של מי חקוקה כאן?“ שאל אותם ישוע. ”ושל מי השם החקוק מתחת לדמות?“

21”של הקיסר“, ענו.

”אם כך, תנו לקיסר את מה ששייך לו, ותנו לאלוהים את מה ששייך לאלוהים!“

22תשובתו הפתיעה והביכה אותם, והם הסתלקו משם.

23באותו יום באו צדוקים אחדים (שאינם מאמינים בתחיית המתים) ושאלו: 24”רבי, משה אמר שאם אדם נשוי מת ואינו משאיר אחריו ילדים, חייב אחיו להתחתן עם האלמנה, כדי שתוכל ללדת בן שישא את שם המת. 25אנחנו מכירים משפחה אחת שהיו בה שבעה אחים. האח הבכור נשא אישה, וכעבור זמן קצר מת ולא השאיר אחריו בן. האלמנה נישאה לאח שני, 26אולם גם הוא נפטר ולא השאיר בן. כך נישאה האישה לאח השלישי, לרביעי וכן הלאה – עד שנישאה לכל אחד משבעת האחים. 27לבסוף מתה גם האישה. 28אם כן, למי תהיה שייכת האישה בתחיית המתים? הרי היא נישאה לכל שבעת האחים!“

29השיב להם ישוע: ”טעותכם נובעת מבורותכם בכל הנוגע לכתבי־הקודש ולגבורתו של אלוהים.“ 30”כי בתחיית המתים לא יהיו עוד נשואים; כולם יהיו כמלאכים בשמים. 31באשר לשאלתכם – אם יקומו המתים לתחייה או לא – האם לא קראתם מה אמר לכם אלוהים בתורה? 32’אנוכי אלוהי אברהם, אלוהי יצחק ואלוהי יעקב!‘ והרי אלוהים הוא אלוהי החיים ולא אלוהי המתים!“

33תשובותיו הרשימו את הקהל הנדהם, 34‏-35אך לא את הפרושים. כששמעו כיצד השתיק ישוע את הצדוקים בתשובתו, העלו במוחם שאלה אחרת. אחד מהם, דיין במקצועו, קם ושאל: 36”רבי, מה היא המצווה החשובה ביותר בתורת משה?“

37”ואהבת את ה׳ אלוהיך בכל לבבך, ובכל נפשך ובכל שכלך“, השיב ישוע. 38”זאת המצווה הראשונה והחשובה ביותר! 39והמצווה השנייה דומה לה: ’ואהבת לרעך כמוך‘. 40כל יתר המצוות וכל דברי הנביאים מבוססים על שתי מצוות אלה. אם באמת תקיים את שתי המצוות אלה, תקיים למעשה את התורה כולה.“

41בעוד הפרושים נקהלים סביבו, שאל אותם ישוע שאלה: 42”מה בדבר המשיח? בנו של מי הוא?“

”הוא בן־דוד“, השיבו הפרושים.

43”אם כך, מדוע קורא לו דוד בהשראת רוח הקודש ’אדון‘?“ המשיך ישוע לשאול. 44”הרי דוד אמר:22‏.44 כב 44 תהלים קי 1

’נאם ה׳ לאדני,

שב לימיני עד אשית אויביך הדם לרגליך‘.

45ואם דוד קורא לו ’אדון‘, כיצד הוא יכול להיות בנו?“

46לא הייתה להם תשובה, ומאותו יום לא העז איש לשאול אותו שאלות מכשילות.

Luganda Contemporary Bible

Matayo 22:1-46

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

1Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, 2“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. 3N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

4“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

5“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. 6Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. 7Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

8“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. 9Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

13“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

14“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Okuwa Kayisaali Omusolo

15Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”22:17 Abafalisaayo baayagalanga nnyo ensi yaabwe, era baalwanyisa nnyo obufuzi bw’Abaruumi, ate nga bakyawa n’abagoberezi ba Keerodi, abawagiranga Abaruumi. Kyokka mu nsonga eri mu nnyiriri ezo waggulu Abafalisaayo beegatta wamu n’Abakeerodi okutega Yesu n’ebibuuzo. Bwe baagezaako mu bigambo ne balemwa, kwe ku mubuuza obanga kyali kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tekyali kituufu (lunny 17). Singa yaddamu nti tekyali kituufu, Abakeerodi baali beetegese okumuwawaabira eri gavana Omuruumi, era n’oluvannyuma yandisaliddwa omusango gwa kufa. Singa yaddamu nti kituufu, Abafalisaayo baali beetegese okumwogerako nga bw’atabulatabula ensi era nga bw’atayagala nsi ye.

18Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Obufumbo mu Kuzuukira

23Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

29Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

33Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka

34Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36“Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

37Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

44“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo

ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’

45Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.