הבשורה על-פי יוחנן 12 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי יוחנן 12:1-50

1ששה ימים לפני חג הפסח שב ישוע לבית־עניה, כפרו של אלעזר שהשיבו לחיים, 2ונערכה לכבודו ארוחת ערב חגיגית. אלעזר ישב עם ישוע בין האורחים, ואילו מרתא שרתה את האורחים. 3מרים לקחה מרקחת יקרה העשויה משמנים ובשמים ריחניים, משחה את רגליו של ישוע וניגבה אותן בשערותיה, ריח הניחוח מילא את כל הבית.

4אחד מתלמידיו אשר עמד להסגירו, יהודה איש קריות שמו, קרא: 5”המרקחת הזאת שווה הרבה כסף! היא הייתה יכולה למכור אותה ולחלק את הכסף לעניים.“ 6הוא לא דיבר מתוך דאגה לעניים, אלא מתוך דאגה לעצמו. יהודה היה הגזבר של קבוצת התלמידים, ולעתים קרובות משך מכספי הקבוצה לצרכיו הפרטיים.

7”הנח לה“, אמר ישוע. ”היא עשתה זאת כהכנה לקבורתי. 8העניים נמצאים אתכם תמיד, ואילו אני איני נמצא אתכם תמיד.“

9יהודים רבים שמעו על ביקורו של ישוע, ועל כן באו לראות אותו ואת אלעזר שהקים לתחייה. 10‏-11בינתיים החליטו ראשי הכוהנים להרוג גם את אלעזר, כי בגללו נהרו למקום יהודים רבים והאמינו שישוע הוא המשיח.

12למחרת התפשטה השמועה בכל העיר שישוע היה בדרכו לירושלים. אנשים רבים מבין החוגגים 13לקחו בידיהם כפות תמרים, הלכו לקראת ישוע וקראו: ”יחי המשיח! יחי מלך ישראל! ברוך הבא בשם ה׳ מלך ישראל!“

14ישוע בא לקראתם רכוב על חמור, ובכך קיים את הנבואה:12‏.14 יב 14 זכריה ט 9 15”אל תיראי, בת ציון, הנה מלכך יבוא לך רוכב על עיר בן אתונות.“

16תחילה לא הבינו תלמידיו שישוע קיים למעשה את הנבואה הזאת, אולם לאחר שישוע נתפאר בכבוד הם נזכרו במעשיו השונים אשר קיימו נבואות רבות מכתבי־הקודש.

17אנשים רבים בקהל אשר ראו את ישוע מקים את אלעזר לחיים, ספרו על כך לאחרים. 18אנשים רבים יצאו לקראתו, כי שמעו על הפלא הגדול שחולל.

19אולם הפרושים היו אובדי עצות. ”רואים אתם, נוצחנו. כל העולם נמשך אחריו!“ קראו. 20בין העולים לירושלים בחג הייתה גם קבוצת יוונים. 21הם הלכו לפיליפוס מבית־צידה שבגליל וביקשו: ”אדוני, אנחנו רוצים לפגוש את ישוע.“ 22פיליפוס מסר את ההודעה ל‎אַנְדְּרֵי, והשניים הלכו להתייעץ עם ישוע.

23”הגיעה השעה שיפואר בן־האדם“, אמר להם ישוע. 24”אני אומר לכם ברצינות: גרגר חיטה שנטמן באדמה צריך למות לפני שיוכל לשאת פרי רב, אחרת יישאר סתם גרגר בודד. 25האוהב את חייו על־פני האדמה – יאבד אותם; והשונא את חייו על־פני האדמה יזכה בחיי נצח.

26”הרוצה להיות תלמידי צריך ללכת בעקבותי, כי המשרתים אותי חייבים להיות במקום שאני נמצא. אלוהים אבי יכבד את כל אלה שהולכים בעקבותי ומשרתים אותי. 27כעת נבהלה נפשי, אולם איני יכול לבקש מאבי שיצילני מגורלי, שהרי לשם כך באתי לעולם. 28אבי, פאר את שמך!“

לפתע נשמע קול מהשמים: ”כבר פארתי ואוסיף לפאר.“ 29כל הנוכחים שמעו את הקול, אולם חלקם חשב שהיה זה קול רעם, וחלקם אמר שמלאך דיבר עם ישוע.

30”הקול הזה היה למענכם ולא למעני“, אמר להם ישוע. 31”עכשיו הגיע מועד משפטו של העולם, ושר העולם הזה (השטן) יגורש. 32וכאשר אנשא מן הארץ אמשוך אלי את כולם.“ 33הוא אמר זאת כדי לרמוז להם כיצד ימות.

34”אולם אנחנו למדנו מהתורה שהמשיח יחיה לנצח ולא ימות לעולם, אם כן מדוע אתה אומר שבן־האדם צריך להנשא מן הארץ? מי בן־האדם הזה?“ שאלו אותו.

35”האור יישאר אתכם עוד זמן קצר בלבד“, אמר ישוע. ”על כן, תנצלו את העובדה הזאת והתהלכו באור כל עוד אתם יכולים, מפני שעם רדת החשכה לא תוכלו למצוא את דרככם. 36האמינו באור לפני שיהיה מאוחר מדי, כדי שגם אתם תהיו בני האור.“ לאחר שסיים את דבריו הלך לדרכו, והם לא ראו אותו. 37על־אף הניסים הרבים שחולל ישוע, אנשים רבים לא האמינו שהוא המשיח. 38הנביא ישעיהו חזה מצב זה כשאמר:12‏.38 יב 38 ישעיהו נג 1 ”ה׳, מי האמין לשמועתנו, וזרוע ה׳ על־מי נגלתה?“ 39לכן הם לא יכלו להאמין. ישעיהו אף ניבא:12‏.39 יב 39 ראה ישעיהו ו 10 40”אלוהים סנוור את עיניהם והקשיח את לבם. משום כך הם אינם יכולים לראות, להבין או לשוב אליו כדי שירפא אותם.“ 41הנביא ישעיהו אמר דברים אלה על ישוע מפני שראה בחזונו את תפארתו.

42מנהיגי יהודים רבים האמינו כי ישוע הוא המשיח, אך לא הודו בזאת בפני איש, כי פחדו שהפרושים יטילו עליהם חרם. 43לאנשים אלה היה חשוב יותר לזכות בכבוד מבני־אדם מאשר מאלוהים.

44”אם אתם מאמינים בי, אתם מאמינים למעשה באלוהים“, קרא ישוע. 45”שהרי כל הרואה אותי רואה למעשה את שולחי. 46באתי להאיר ולזרוח בעולם חשוך זה, כדי שכל המאמין בי לא יתעה יותר בחשכה. 47לא באתי לשפוט את העולם, כי אם להושיעו, ועל כן לא אשפוט את אלה השומעים את דברי ואינם מקיימים אותם. 48דברי האמת שדיברתי ישפטו ביום הדין את כל אלה שדחוני ולעגו לי. 49כי איני מדבר אליכם על דעת עצמי; אני מוסר לכם מה שציווה עלי אבי לומר לכם. 50אני מוסר לכם בדיוק מה שמסר לי אבי, כי אני יודע שמצוותו תביא לכם חיי נצח.“

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 12:1-50

Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya

1Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 2Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 3Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.

4Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5“Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.

7Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”

Olukwe olw’Okutta Laazaalo

9Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

12Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, 13ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,

“Ozaana.”

“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ye Kabaka wa Isirayiri.”

14Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,

15“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;

laba Kabaka wo ajja,

nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”

16Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.

17Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 19Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”

Abayonaani Baagala Okulaba Yesu

20Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako 21ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.” 22Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.

23Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe. 24Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi. 25Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. 26Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”

Yesu Ayogera ku Kufa kwe

27“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28Kitange gulumiza erinnya lyo.”

Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

34Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.

37Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,

“Mukama ani akkiriza bye tugamba?

Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”

39Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,

40“Katonda yabaziba amaaso,

era n’abakakanyaza emitima,

amaaso gaabwe galeme okulaba,

era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,

era gireme okukyuka, mbawonye.”

41Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.

42Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

44Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 45N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 46Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.

47“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 48Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 49Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”