אגרתו השנייה של פטרוס השליח 1 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

אגרתו השנייה של פטרוס השליח 1:1-21

1מאת שמעון פטרוס, עבדו של ישוע המשיח ושליחו.

אל כל אלה שקיבלו אמונה יקרה כשלנו, בזכות צדקת אלוהינו ומושיענו ישוע המשיח.

2אחים יקרים, ככל שתעמיקו לדעת את אלוהינו ומושיענו, כך הוא יעניק לכם יותר מטובו ושלוותו.

3כי כאשר מעמיקים אנו לדעת אותו, הוא מעניק לנו בגבורתו האלוהית את כל הנחוץ לנו לחיי יושר ואמת; הוא אף מעניק לנו את כבודו ותפארתו. 4בנדיבותו הרבה ובגבורתו העניק לנו אלוהים הבטחות יקרות ונפלאות, כדי שנוכל להימלט באמצעותן מהשחיתות והריקבון שבעולם הסובב אותנו, ואופיינו ילך וידמה לאופיו של אלוהים.

5לפיכך השתדלו כמיטב יכולתכם להוסיף על אמונתכם מעשי צדקה, ולא רק מעשי צדקה: העמיקו לדעת את אלוהים, 6רסנו את עצמכם, היו סבלניים, התמסרו לאלוהים, 7חיו באחווה ובאהבה. 8אם יש בכם מידות אלה, ואתם אף שוקדים לטפח אותן, תוכיחו כי אמונתכם באדוננו נושאת פרי רב ומבורך, 9בעוד שאדם החסר מידות אלה הוא עיוור, או לפחות קצר־ראייה. הוא שכח שאלוהים הושיעו מחיי חטא, כדי שמעתה יחיה ביושר למען אדוננו ישוע המשיח.

10לפיכך, אחים יקרים, עבדו קשה והוכיחו שאלוהים אכן בחר בכם וקרא אתכם אליו. אם כך תנהגו, לעולם לא תיכשלו, 11ואלוהים יפתח לרווחה את שערי השמים, כדי שתיכנסו אל מלכותו הנצחית של אדוננו ומושיענו ישוע המשיח.

12למרות שאתם יודעים דברים אלה ואף חיים לפיהם, יש בדעתי להזכירם שוב ושוב. 13‏-14ישוע המשיח אדוננו גילה לי שלא אחיה עוד זמן רב, אך כל עוד אני חי יש בדעתי לשוב ולהזכירכם דברים אלה, 15בתקווה שיישארו עמכם זמן רב לאחר מותי.

16כשסיפרנו לכם על כוחו וגבורתו של ישוע המשיח ועל שובו אלינו, לא סיפרנו לכם אגדות! במו עיני ראיתי את כבודו ותפארתו. 17‏-18אני עצמי הייתי עם המשיח על הר־הקודש בשעה שקרן הוד וזוהר, שהעניק לו אלוהים אביו, ובאותו מעמד מרשים שמעתי קול נפלא קורא מן השמים: ”זהו בני אהובי, אשר בו חפצתי.“

19אכן היינו עדים לקיום דברי הנביאים, ואתם תנהגו בחכמה אם תשימו לב לדבריהם, שהם כאלומת אור באפלת העולם. כאשר תהגו באמת שבדברי הנביאים ותאמינו בה, יאיר אור היום את נפשכם, וכוכב השחר, המשיח, יזרח בלבבכם. 20עליכם לדעת שאיש אינו יכול לפתור את נבואות כתבי־הקודש בכוחות עצמו, 21שכן אף נבואה לא ניתנה לפי רצון בני־אדם; אלוהים הוא שבחר להשרות את רוחו על אנשים קדושים כדי שיישאו את דברו.

Luganda Contemporary Bible

2 Peetero 1:1-21

1Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 2ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.

Okuyita n’okulonda kwa Katonda

3Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 4Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.

5Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 6ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 7ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 8Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 9Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.

10Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

12Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera. 13Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 14Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 15Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.

16Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe. 17Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 18Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.

19Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe. 20Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. 21Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.