מעשי השליחים 1 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

מעשי השליחים 1:1‏-26

1‏-2תאופילוס היקר,

במכתבי הראשון1‏.1‏-2 א 1‏-2 ראה הבשורה על פי לוקס א 1 סיפרתי לך על חייו, מעשיו ותורתו של ישוע המשיח, וכיצד עלה לשמים, לאחר שנתן לשליחיו הנבחרים הוראות נוספות בגבורת רוח הקודש. 3במשך ארבעים יום לאחר צליבתו נגלה ישוע אל השליחים פעמים אחדות, והוכיח להם בדרכים שונות שהוא אכן חי. בהזדמנויות אלה הוא גם שוחח איתם על מלכות האלוהים.

4באחת הפגישות האלה הורה ישוע לתלמידיו שלא יעזבו את ירושלים עד שיבוא עליהם רוח הקודש, כפי שהבטיח להם האב. ישוע שוחח איתם על כך פעמים רבות בעבר.

5”יוחנן הטביל אתכם במים,“ הזכיר להם ישוע, ”אולם בעוד ימים אחדים תיטבלו ברוח הקודש!“

6כשנגלה אליהם ישוע בפעם אחרת, שאלו אותו: ”אדון, האם אתה עומד להשיב את המלכות לישראל?“

7”האב הוא הקובע תאריכים אלה,“ ענה ישוע, ”ואינכם צריכים לדעת אותם. 8אולם כשרוח הקודש יצלח עליכם, תקבלו כוח וסמכות להיות עדים לי בירושלים, ביהודה ושומרון ועד קצה העולם.“

9זמן קצר לאחר מכן עלה ישוע לשמים לעיני תלמידיו, ונעלם בתוך ענן. 10בעוד התלמידים מאמצים את עיניהם כדי לזכות במבט נוסף, עמדו ביניהם לפתע שני אנשים לבושים גלימות לבנות, 11ואמרו: ”אנשי הגליל, מדוע אתם עומדים ומביטים לשמים? ישוע אמנם עלה לשמים, אך יום אחד הוא יחזור בדיוק כפי שהלך מכם!“

12כשקרה הדבר הזה הם היו בהר־הזיתים, ועתה חזרו ברגל לירושלים (מרחק של פחות מקילומטר).

13‏-14כשהגיעו העירה, הם התאספו לתפילה בחדר העלייה שבו גרו. באסיפה זאת נכחו האנשים הבאים:

פטרוס,

יוחנן ויעקב,

‎אַנְדְּרֵי,

פיליפוס,

תומא,

בר־תלמי,

מתתיהו,

יעקב בן־חלפי,

שמעון מהקנאים,

יהודה בן־יעקב

ואחיו של ישוע.

היו שם גם נשים אחדות, וביניהן אמו של ישוע.

15אסיפת התפילה נמשכה ימים אחדים, ויום אחד, כשנכחו שם מאה ועשרים איש, קם שמעון פטרוס ואמר:

16”אחים, נבואות התנ״ך צריכות היו להתקיים בנוגע ליהודה, אשר בגד בישוע והוביל אליו את ההמון, שהרי רוח הקודש דיבר על כך לפני זמן רב בפי דוד המלך. 17יהודה היה אחד מאיתנו; הוא נבחר בדיוק כמונו להיות שליח. 18בכסף שקיבל תמורת הבגידה הוא קנה לעצמו שדה, ושם מצא את מותו – הוא נפל ארצה על פניו, בטנו נבקעה ומעיו נשפכו החוצה. 19הידיעה על מותו התפשטה במהירות בין כל תושבי ירושלים, והם מכנים את המקום ההוא בשפתם1‏.19 א 19 בארמית. ’חקל דמא‘, שפירושו ’שדה־הדם‘. 20דוד המלך ניבא על כך בתהלים, ואמר שביתו יהיה שומם ושאיש לא יישב בו. ובמקום אחר אמר דוד שתפקידו (של יהודה) יינתן למישהו אחר.1‏.20 א 20 תהלים סט 26; קט 8

21‏-22”משום כך עלינו לבחור במישהו אחר, אשר ימלא את מקומו של יהודה, ויצטרף אלינו בעדותנו על תחייתו של ישוע אדוננו. הבה נבחר באדם שהיה איתנו מאז הימים הראשונים – מאז שישוע נטבל על־ידי יוחנן ועד שנלקח מאיתנו לשמים.“

23הנאספים נקבו בשני שמות: יוסף יוסטוס (שנקרא גם ”בר־שבא“) ומתתיהו. 24‏-25לאחר מכן התפללו כולם וביקשו שייבחר האדם הנכון. ”אלוהים,“ התפללו, ”אתה המכיר כל לב, הראה נא לנו במי מהשניים בחרת למלא את מקומו של יהודה הבוגד, שהלך למקום הראוי לו!“

26הם הפילו גורל כדי לבחור בין שני המועמדים, ושמו של מתתיהו עלה בגורל. באותו יום הצטרף מתתיהו אל אחד־עשר השליחים.

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 1:1-26

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

1Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, 2okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 3Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. 4Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, 5‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”

6Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”

7Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. 8Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”

9Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.

10Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 11ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”

12Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. 13Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:

Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,

ne Firipo ne Tomasi,

ne Battolomaayo, ne Matayo,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote1:13 Omuzerote Abazerote be baayeekeranga gavumenti y’Abaruumi mu biro ebyo”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.

14Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

Matiya Asikira Yuda

15Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”

18Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!

20“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,

“ ‘Ekibanja kye kizike,

so kireme okubeerangamu omuntu.’

‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’

21Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 22okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”

23Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 24Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 26Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.