Otkrivenje 3 – CRO & LCB

Knijga O Kristu

Otkrivenje 3:1-22

Poruka Crkvi u Sardu

1Anđelu Crkve u Sardu napiši:

‘Ovo govori onaj koji ima sedam Božjih duhova i sedam zvijezda: Znam tvoja djela. Sloviš kao živ, a mrtav si. 2Probudi se! Osnaži malo onih što su ti preostali jer tek što ne umru. Djela ti nisu dobra u Božjim očima. 3Vrati se dakle onomu što si u početku čuo i povjerovao. Čvrsto se toga drži i obrati se. Ne budeš li budan, doći ću na tebe iznenada, kao tat.

4Ipak, imaš ih u Sardu nekolicinu koji nisu uprljali odjeću zlim djelima. Oni će hoditi sa mnom u bjelini jer su dostojni. 5Svaki koji pobijedi odjenut će bijelu haljinu. Njegovo ime nikada neću izbrisati iz Knjige života i priznat ću ga kao svojega pred Ocem i pred njegovim anđelima.

6Slušajte, kad već imate uši, što Duh govori crkvama!’

Poruka Crkvi u Filadelfiji

7Anđelu Crkve u Filadelfiji napiši:

‘Ovo govori onaj koji je Svet i Istinit. On ima Davidov ključ. Kad otvori vrata, nitko ih više ne može zatvoriti; kad ih zatvori, nitko ih ne može otvoriti. 8Znam tvoja djela. Otvorio sam pred tobom vrata koja nitko ne može zatvoriti. Unatoč svojoj slaboj snazi, sačuvao si moju Riječ i nisi se odrekao mojega imena. 9Primorat ću, evo, neke iz Sotonine sinagoge—lažljivce koji sebe nazivaju Židovima, ali to nisu—da ti se dođu ničice pokloniti. Spoznat će da te ja ljubim. 10Zato što si me poslušao i ostao postojan, sačuvat ću te od časa kušnje koji će znaći cijeli svijet da se iskušaju svi stanovnici zemlje.

11Dolazim ubrzo. Čvrsto se drži onoga što imaš da ti nitko ne ugrabi vijenac. 12Svi koji pobijede postat će stupovima u hramu mojega Boga i nikada neće morati izići odande. Napisat ću na njima ime svojega Boga i ime njegova grada—ime novoga Jeruzalema koji silazi s neba od mojega Boga. I svoje ću novo ime na njih napisati.

13Slušajte, kad već imate uši, što Duh govori crkvama!’

Poruka Crkvi u Laodiceji

14Anđelu Crkve u Laodiceji napiši:

‘Ovo govori Amen, vjerni i istiniti svjedok, Stvoritelj Božjega stvorenja: 15Znam tvoja djela: nisi ni studen ni vruć. Da si barem jedno ili drugo! 16Ali zato što si poput mlake vode, ispljunut ću te iz usta! 17Kažeš: “Bogat sam. Sve imam i ništa mi ne treba!” A ne znaš da si jadan i bijedan, da si ubog, i slijep, i gol. 18Savjetujem ti da od mene kupiš zlata pročišćenoga u vatri. Tako ćeš se obogatiti. Kupi od mene bijele haljine da se odjeneš i skriješ svoju sramotnu golotinju. Kupi i pomast za oči, da ih pomažeš pa da progledaš.

19Ja korim i odgajam sve koje volim. Budi revan i obrati se od ravnodušnosti. 20Stojim, evo, na vratima i kucam. Posluša li tko moj glas i otvori li vrata, ući ću k njemu i skupa ćemo blagovati. 21Svakoga tko pobijedi posjest ću na svoje prijestolje kao što sam i ja, kad sam pobijedio, sjeo na Očevo prijestolje.

22Slušajte, kad već imate uši, što Duh govori crkvama!’”

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 3:1-22

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Saadi

1“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. 2Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange. 3Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.

4Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. 5Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange. 6Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Firaderufiya

7“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.

8Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange, 9laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala. 10Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.

11Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. 12Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya. 13Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Lawodikiya

14“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.

15Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. 16Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. 17Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. 18Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.

19Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. 20Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

21Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. 22Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”