Rute 4 – CCL & LCB

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Rute 4:1-22

Bowazi Akwatira Rute

1Nthawi yomweyo Bowazi anapita ku chipata cha mzinda ndi kukhala pansi kumeneko pabwalo losonkhanira. Tsono anangoona wachibale woyenera kulowa chokolo uja akufika. Ndipo Bowazi anati, “Patukirani kuno, bwenzi langa. Mubwere mudzakhale apa.” Choncho anapatuka nakakhala pansi.

2Bowazi anayitananso akuluakulu khumi a mu mzindamo nati, “Dzakhaleni pansi apa,” ndipo anadzakhala pansi.

3Kenaka anamuwuza oyenera kulowa chokolo uja kuti, “Naomi amene wabwera kuchoka ku Mowabu akugulitsa malo amene anali a malemu Elimeleki, mʼbale wathu uja. 4Choncho ndinaganiza zokuwuza zimenezi kuti ugule mundawu pamaso pa anthu amene ali panowa, ndi pamaso pa akuluakulu mwa abale athu. Ngati ukufuna kuwuwombola, uwombole. Koma ngati sukufuna, undiwuze kuti ndidziwe, pakuti palibe wina angawuwombole koma iweyo, ndipo pambuyo pa iwe pali ine.” Iye anati, “Ine ndidzawuwombola.”

5Tsono Bowazi anati, “Tsiku limene ukagule mundawo kwa Naomi, udzatenganso Rute Mmowabu, mkazi wamasiye uja, kuti dzina la malemu lisungike pa cholowa chake.”

6Pamenepo wachibaleyo anati, “Sindingathe kuwuwombola mundawu kuti ukhale wanga, kuopa kuti kutaya cholowa changa. Mugule ndinu. Ine sindingathe.”

7(Kale mu Israeli zinkatere ngati munthu afuna kuwombola kanthu kapena kusinthana kanthu ndi mnzake kuti chikhale chakechake. Iye ankavula nsapato imodzi namupatsa mnzakeyo. Imeneyo ndiyo inali njira yochitira umboni mu Israeli).

8Choncho wachibale uja atawuza Bowazi kuti, “Gulani ndinu mundawu.” Iye anavula nsapato yake namupatsa Bowazi.

9Ndipo Bowazi anawuza akuluakuluwo ndi anthu onse aja kuti, “Nonsenu ndinu mboni lero, kuti ine ndagula kwa Naomi zonse zimene zinali za malemu Elimeleki, zonse zimene zinali za malemu Kiliyoni ndiponso za malemu Maloni. 10Ndatenganso Rute Mmowabu uja mkazi wa malemu Maloni, kuti akhale mkazi wanga, kuti dzina la malemu Maloni lisungike pa cholowa chake, ndipo lisafafanizike pakati pa abale ake ngakhalenso mʼmudzi mwake. Nonsenu ndinu mboni lero lino.”

11Ndipo akuluakulu aja ndi anthu onse amene anali pa chipata anati, “Ife ndife mboni, ndipo Yehova amusandutsa mkazi amene akudzalowa mʼnyumba yakoyu kuti akhale ngati Rakele ndi Leya, amene anamanga banja la Israeli. Ukhale munthu wosasowa kanthu mu Efurata ndi munthu wotchuka mu Betelehemu. 12Ana amene Yehova adzakupatsa mwa mkaziyu adzamange banja lako kukhala la Perezi, amene Tamara anamubalira Yuda.”

Makolo a Davide

13Choncho Bowazi anakwatira Rute. Yehova anamudalitsa nakhala ndi pakati, ndipo anabereka mwana wamwamuna.

14Ndipo amayi osiyanasiyana anati kwa Naomi. “Alemekezeke Yehova, amene lero lino sanakusiyeni nokha wopanda wachibale. Mwanayu dzina lake likhale lotchuka mu Israeli. 15Mwanayo adzakupatseni moyo watsopano ndi kukuthandizani pa ukalamba wanu. Inde, mpongozi wanu amene amakukondani, amenenso waonetsa kuti ali wopambana kwa inu kuposa ana aamuna asanu ndi awiri, ndiye wakubalirani mwanayu.”

16Kenaka Naomi anatenga mwanayo namufukata ndipo anakhala mlezi.

17Amayi achinansi ake anati, “Naomi ali ndi mwana wamwamuna.” Ndipo anamutcha dzina lake Obedi. Iye anali abambo a Yese abambo ake a Davide.

18Izi tsono ndizo zidzukulu za Perezi:

Perezi anali abambo a Hezironi.

19Hezironi anali abambo a Ramu,

Ramu anali abambo a Aminadabu,

20Aminadabu abambo a Naasoni,

Naasoni anali abambo a Salimoni,

21Salimoni abambo a Bowazi,

Bowazi abambo a Obedi.

22Obedi anali abambo a Yese,

ndipo Yese anali abambo a Davide.

Luganda Contemporary Bible

Luusi 4:1-22

Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa

1Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. 3N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. 4Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”

Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

5Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”

6Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”

7(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto4:7 Mu bitundu ebyo eby’ensi, okuba n’engatto kaali kabonero akalaga ng’omuntu bw’ali omugagga (Zab 60:8). ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).

8Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. 9Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”

11Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya4:11 Ng’Abayisirayiri bonna bwe baali bazzukulu ba Laakeeri ne Leeya, bwe kityo ne Luusi yali jjajja wa Dawudi ne Kristo., abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu, 12era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi4:12 Pereezi yali jjajja wa Bowaazi (Mat 1:3; Luk 3:33), Tamali gwe yazaalira Yuda.”

13Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. 14Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”

16Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.

18Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi:

Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,

19Kezulooni yali kitaawe wa Laamu,

Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.

20Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,

Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;

21Salumooni yali kitaawe wa Bowaazi,

Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;

22Obedi yali kitaawe wa Yese,

Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.