Eksodo 13 – CCL & LCB

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Eksodo 13:1-22

Mwambo Wopatula Ana Oyamba Kubadwa

1Yehova anati kwa Mose, 2“Ana onse aamuna oyamba kubadwa uwapatule, ndi anga. Aliyense woyamba kubadwa pakati pa Aisraeli ndi wanga, kaya ndi wa munthu kapena wa chiweto.”

3Ndipo Mose anati kwa anthu, “Muzikumbukira tsiku lino, tsiku limene munatuluka mʼdziko la Igupto, dziko la ukapolo chifukwa Yehova anakutulutsani ndi dzanja lake lamphamvu. Musadye kalikonse kamene kali ndi yisiti. 4Pa tsiku la lero mwezi uno wa Abibu, mukutuluka mʼdziko la Igupto. 5Yehova akadzakulowetsani mʼdziko la Akanaani, Ahiti, Aamori, Ahivi ndi Ayebusi, dziko loyenda mkaka ndi uchi, muzikachita mwambo uwu mwezi uno. 6Muzidzadya buledi wopanda yisiti kwa masiku asanu ndi awiri ndipo tsiku lachisanu ndi chiwirilo muzichita chikondwerero cha Yehova. 7Mudye buledi wopanda yisiti masiku asanu ndi awiri. Pasapezeke chinthu chilichonse chokhala ndi yisiti pakati panu, kapena paliponse mʼdziko lanu. 8Tsiku limenelo muzidzawuza ana anu kuti, ‘Ine ndimachita zimenezi chifukwa cha zimene Yehova anandichitira pamene ndimatuluka mʼdziko la Igupto.’ 9Lamulo ili lidzakhala ngati chizindikiro chomangidwa pa dzanja lanu ndi chikumbutso choyikidwa pamphumi panu kuti malamulo a Yehova asachoke pakamwa panu. Pakuti Yehova anakutulutsani mʼdziko la Igupto ndi dzanja lake lamphamvu. 10Muzichita mwambo uwu pa nthawi yake chaka ndi chaka.

11“Yehova akadzakulowetsani ndi kukupatsani dziko la Kanaani monga analonjezera kwa inu ndi makolo anu, 12muzikapereka kwa Ambuye ana onse oyamba kubadwa. Ziweto zonse zazimuna zoyamba kubadwa ndi za Ambuye. 13Koma mwana woyamba kubadwa wa bulu muzikamuwombola ndi mwana wankhosa, koma ngati simukamuwombola, muzikamuthyola khosi. Mwana wamwamuna woyamba kubadwa muzikamuwombola.

14“Mʼtsogolomo mwana wanu akakafunsa kuti, ‘Zimenezi zikutanthauza chiyani?’ Mukamuwuze kuti, ‘Yehova anatitulutsa mʼdziko la Igupto, dziko la ukapolo ndi dzanja lamphamvu. 15Farao atakanitsitsa kuti asatitulutse, Yehova anapha aliyense woyamba kubadwa mʼdziko la Igupto, kuyambira ana a anthu ndi ziweto zomwe. Nʼchifukwa chake ine ndimapereka nsembe kwa Yehova, chachimuna chilichonse choyamba kubadwa ndipo mwana wamwamuna woyamba kubadwa ndimamuwombola.’ 16Ndipo chidzakhala kwa inu ngati chizindikiro chomangidwa pa dzanja lanu ndi pamphumi panu kuonetsa kuti Yehova anakutulutsani mʼdziko la Igupto ndi dzanja lake lamphamvu.”

Kuwoloka Nyanja

17Farao atalola anthu aja kuti atuluke, Mulungu sanawadzeretse njira yodutsa dziko la Afilisti, ngakhale kuti inali yachidule popeza Mulungu anati, “Ngati anthuwa atadzakumana ndi nkhondo angadzakhumudwe ndi kubwerera ku Igupto.” 18Choncho Mulungu anawadzeretsa anthuwo njira yozungulira ya mʼchipululu kulowera ku Nyanja Yofiira. Komabe Aisraeli anatuluka mʼdziko la Igupto atakonzekera nkhondo.

19Mose ananyamula mafupa a Yosefe chifukwa Yosefe anawalumbiritsa ana a Israeli. Iye anawawuza kuti, “Mulungu adzabwera ndithu kudzakuthandizani, ndipo mudzanyamule mafupa anga pochoka ku malo ano.”

20Atachoka ku Sukoti anakagona ku Etamu mʼmphepete mwa chipululu. 21Nthawi yamasana Yehova amakhala patsogolo pa anthu kuwatsogolera njira ndi chipilala cha mtambo, ndipo usiku Yehova ankawatsogolera ndi chipilala cha moto, kuwawunikira njira kuti athe kuyenda masana ndi usiku. 22Usana, chipilala cha mtambo ndi usiku, chipilala cha moto zinali patsogolo kuwatsogolera anthu aja.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 13:1-22

Okutukuza Ebibereberye

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

3Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa. 4Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri. 5Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno. 6Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama. 7Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe. 8Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ 9Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 10Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.

Ebibereberye

11Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa, 12Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama. 13Buli kalogoyi13:13 Endogoyi zaali nsolo ezitali nnongoofu (Kbl 18:15) nga teziyinza kuweebwayo nga ssaddaaka. Kyokka omuntu yayinzanga okuziwanyisaamu omwana gw’endiga, era ekyo kiraga omuwendo gw’endogoyi mu byenfuna akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.

14“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. 15Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’ 16Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”

Empagi ey’Ekire n’Empagi ey’Omuliro

17Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi.13:17 Ekkubo Abayisirayiri lye baakwata okuva mu Misiri, lyaliko ebigo ebbali n’ebbali, Abamisiri mwe baalabirizanga abaaliyitangamu Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.” 18Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.

19Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”

20Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira. 21Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.