創世記 3 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 3:1-24

始祖犯罪

1在耶和華上帝所造的田野的各種動物中,蛇最狡猾。蛇對女人說:「上帝真的說過不許你們吃園中所有樹上的果子嗎?」 2女人回答說:「我們可以吃園中樹上的果子, 3只是不可以吃園子中間那棵樹的果子。上帝曾經吩咐說,『你們不可吃那果子,也不可摸,否則你們就會死。』」 4蛇對女人說:「你們一定不會死! 5上帝那樣說是因為祂知道你們吃了那樹的果子以後,眼睛就會明亮,像上帝一樣懂得分辨善惡。」 6女人見那棵樹上的果子可口,賞心悅目,可以使人有智慧,就摘下來吃了。她也把果子給跟她在一起的丈夫,他也吃了。 7二人的眼睛果然明亮起來,這才發覺自己原來赤身露體,便把無花果樹的葉子編起來遮體。

8傍晚天涼時,夫婦二人聽見耶和華上帝在園中行走的聲音,就藏在園子的樹叢中,想躲開耶和華上帝。 9耶和華上帝呼喚那人說:「你在哪裡?」 10那人說:「我聽見你在園中行走的聲音,就害怕得躲了起來,因為我赤身露體!」 11耶和華上帝問:「誰說你赤身露體?難道你吃了我吩咐你不可吃的果子嗎?」 12那人說:「你賜給我作伴的女人摘了那樹上的果子給我,我就吃了。」 13耶和華上帝對女人說:「你這做的是什麼事?」女人說:「是蛇誘騙我,我才吃的。」

上帝的審判

14耶和華上帝對蛇說:

「你既然做了這事,

你要比一切的牲畜和野獸受更重的咒詛,

你要用肚子爬行,

一生都要吃塵土。

15我要使你和女人結仇,

你的後代和女人的後代也要彼此為仇,

女人的後代必傷你的頭,

你必傷他的腳跟。」

16耶和華上帝對女人說:

「我必大大加重你懷孕的痛苦,

你分娩時必受痛苦。

你必戀慕3·16 戀慕」或譯「想控制」。自己的丈夫,

你的丈夫必管轄你。」

17耶和華上帝又對亞當說:

「因為你聽從妻子的話,

吃了我吩咐你不可吃的果子,

地必因你而受咒詛。

你必終生艱辛勞苦,

才能吃到地裡出產的食物。

18地必給你長出荊棘和蒺藜,

你要吃田間長出來的菜蔬。

19你必汗流滿面,才有飯吃,

一直到你歸回塵土。

因為你是塵土造的,

也必歸回塵土。」

20亞當給他的妻子取名叫夏娃,因為她是眾生之母。 21耶和華上帝做了皮衣給他們夫婦穿。 22耶和華上帝說:「看啊,那人已經與我們相似,能分辨善惡。現在,恐怕他會伸手去摘生命樹的果子吃,那樣他就會永遠活著。」 23因此,耶和華上帝就把亞當趕出伊甸園,讓他去開墾土地——他的本源。 24上帝趕走了亞當以後,就派遣基路伯天使駐守在伊甸園東邊,又用一把旋轉的火劍守護在通往生命樹的路上。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 3:1-24

Okujeema kw’Omuntu

1Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”

2Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, 3kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ”

4Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. 5Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.”

6Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. 7Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala.

8Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. 9Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”

10N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”

11N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”

12Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”

13Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?”

Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”

14Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino

okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka

n’ez’omu nsiko,

oneekululiranga ku lubuto lwo

era onoolyanga nfuufu

ennaku zonna ez’obulamu bwo.

15Nteeka obulabe

wakati wo n’omukazi,

ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;

ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,

naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

16N’agamba omukazi nti,

“Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,

onoozaaliranga mu bulumi;

musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga

kyokka anaakufuganga.”

17N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,

“ensi ekolimiddwa ku lulwo;

mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya

ennaku zonna ez’obulamu bwo.

18Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,

onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro.

19Mu ntuuyo zo

mw’onoggyanga ekyokulya,

okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,

kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”

20Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.

21Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. 22Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” 23Bw’atyo Mukama Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.