創世記 17 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 17:1-27

上帝再次與亞伯蘭立約

1亞伯蘭九十九歲那年,耶和華向他顯現說:「我是全能的上帝。你要遵行我的旨意,做純全無過的人。 2我要與你立約,我要使你子孫極其興旺。」 3亞伯蘭就俯伏在地,上帝又對他說: 4「我要與你立約,你必成為許多民族的始祖。 5以後你的名字不再叫亞伯蘭,要改為亞伯拉罕17·5 亞伯拉罕」意思是「萬族之父」。,因為我要立你為萬族之父。 6我要使你的子孫極其興旺,許多民族和君王必從你而出。 7我要和你並你的子子孫孫立永恆的約,我要做你和你子孫的上帝。 8我要把你現在寄居的整個迦南賜給你和你的後裔永遠作產業,我也必做他們的上帝。」

9上帝又對亞伯拉罕說:「你和你的子孫世世代代都要遵守我的約。 10你們所有的男子都要受割禮,這是我與你和你的子孫所立的約,你們要遵守。 11你們都要割包皮,作為我與你們立約的記號。 12你們世世代代的男子在出生後的第八日都要接受割禮。在你家裡出生的和用錢從外族人那裡買來的奴僕也要受割禮。 13不論是在你家裡生的,還是你用錢買來的男子,都要接受割禮,這樣你們的肉體上就有我永恆之約的記號。 14任何沒有接受割禮的男子,要將他從民中剷除,因為他違背了我的約。」

15上帝對亞伯拉罕說:「你的妻子以後不要叫撒萊,她的名字要叫撒拉16我必賜福給她,讓她為你生一個兒子。她必成為萬族的母親,萬民的君王必從她而出。」 17亞伯拉罕就俯伏在地,笑了起來,心想:「我一百歲了,還能有孩子嗎?撒拉已經九十歲了,還能生養嗎?」 18亞伯拉罕對上帝說:「願以實瑪利蒙你賜福。」 19上帝說:「不,你妻子撒拉必為你生一個兒子,你要給他取名叫以撒,我必向他和他的後代堅守我的約,直到永遠。 20至於以實瑪利,我已聽見你的祈求,我必賜福給他,使他的後代極其興旺昌盛。他必做十二個族長的父親,我必使他成為大國。 21撒拉必在明年這時候給你生以撒,我必向他堅守我的約。」 22上帝說完以後,便離開亞伯拉罕上升而去。

23亞伯拉罕就在那天照著上帝的吩咐,為兒子以實瑪利和家中所有的男子,不論是在家中出生的,還是買回來的,都行了割禮。 24亞伯拉罕接受割禮的時候九十九歲。 25他的兒子以實瑪利接受割禮的時候十三歲。 26他們父子二人就在那天接受了割禮。 27亞伯拉罕家裡所有的男子,包括家中出生的和買回來的,都一起接受了割禮。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 17:1-27

Endagaano y’Okukomola

1Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa. 2Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”

3Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, 4“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi. 5Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi. 6Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 7Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe. 8Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

9Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna. 10Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga. 11Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe. 12Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, 13oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo. 14Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”

Ekisuubizo eri Salaayi

15Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. 16Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”

17Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” 18Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”

19Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. 20Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. 21Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” 22Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali.

23Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba. 24Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 25Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 26Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa. 27N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.