约翰福音 18 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰福音 18:1-40

耶稣被捕

1耶稣祷告完毕,就带着门徒渡过汲沦溪,进了那里的一个园子。 2因为耶稣时常带着门徒到那里聚会,所以出卖耶稣的犹大也知道那地方。 3这时,犹大带着一队士兵以及祭司长和法利赛人的差役,拿着灯笼、火把和兵器来了。 4耶稣早就知道将要发生在自己身上的一切事,于是出来问他们:“你们找谁?”

5他们回答说:“拿撒勒人耶稣!”

耶稣说:“我就是。”那时出卖耶稣的犹大也站在他们当中。

6他们听到耶稣说“我就是”,便后退跌倒在地上。

7耶稣又问:“你们找谁?”

他们说:“拿撒勒人耶稣。”

8耶稣说:“我已经告诉你们我就是。你们既然找我,就让这些人走吧。” 9这是要应验祂以前说的:“你赐给我的人一个也没有失掉。”

10这时,西门·彼得带着一把刀,他拔刀向大祭司的奴仆马勒古砍去,削掉了他的右耳。

11耶稣对彼得说:“收刀入鞘吧!我父赐给我的杯,我怎能不喝呢?”

12千夫长带着士兵和犹太人的差役上前把耶稣捆绑起来,带了回去。 13他们押着耶稣去见亚那,就是那一年的大祭司该亚法的岳父。 14这个该亚法以前曾对犹太人建议说:“让祂一个人替众人死对你们更好。”

彼得不认主

15西门·彼得和另一个门徒跟在耶稣后面。由于那门徒和大祭司认识,他就跟着耶稣来到大祭司的院子。 16彼得留在门外。后来,大祭司所认识的那个门徒出来对看门的女仆说了一声,便把彼得也带了进去。

17看门的女仆问彼得:“你不也是这个人的门徒吗?”

他说:“我不是。”

18天气很冷,奴仆和差役生了一堆火,站着烤火取暖,彼得也跟他们站在一起烤火取暖。 19此时,大祭司正在盘问耶稣有关祂的门徒和祂的教导之事。

20耶稣说:“我是公开对世人讲的,我常在犹太人聚集的会堂和圣殿教导人,没有在背地里讲过什么。 21你何必问我呢?问那些听过我讲的人吧,他们知道我讲过什么。”

22耶稣话才说完,站在旁边的差役就打了祂一耳光,说:“你敢这样回答大祭司!”

23耶稣说:“如果我说错了,你可以指出我错在哪里。如果我说的对,你为什么打我呢?”

24亚那把被捆绑起来的耶稣押到大祭司该亚法那里。

25那时西门·彼得仍然站着烤火,有人问他:“你不也是那人的门徒吗?”

彼得否认说:“我不是!”

26一个大祭司的奴仆,就是被彼得削掉耳朵的那个人的亲戚说:“我不是看见你和祂一起在园子里吗?” 27彼得再次否认。就在那时,鸡叫了。

彼拉多审问耶稣

28黎明的时候,众人从该亚法那里把耶稣押往总督府,他们自己却没有进去,因为怕沾染污秽,不能吃逾越节的晚餐。 29彼拉多出来问他们:“你们控告这个人什么罪?”

30他们回答说:“如果祂没有为非作歹,我们也不会把祂送到你这里来。”

31彼拉多说:“你们把祂带走,按照你们的律法去审理吧。”

犹太人说:“可是我们无权把人处死。” 32这是要应验耶稣预言自己会怎样死的话。

33彼拉多回到总督府提审耶稣,问道:“你是犹太人的王吗?”

34耶稣回答说:“你这样问是你自己的意思还是听别人说的?”

35彼拉多说:“难道我是犹太人吗?是你们犹太人和祭司长把你送来的。你到底犯了什么罪?”

36耶稣答道:“我的国不属于这个世界,如果我的国属于这个世界,我的臣仆早就起来争战了,我也不会被交在犹太人的手里。但我的国不属于这个世界。”

37于是彼拉多对祂说:“那么,你是王吗?”

耶稣说:“你说我是王,我正是为此而生,也为此来到世上为真理做见证,属于真理的人都听从我的话。”

38彼拉多说:“真理是什么?”说完了,又到外面对犹太人说:“我查不出祂有什么罪。 39不过按照惯例,在逾越节的时候,我要给你们释放一个人。现在,你们要我释放这个犹太人的王吗?”

40众人又高喊:“不要这个人!我们要巴拉巴!”巴拉巴是个强盗。

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 18:1-40

Yesu Akwatibwa

1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.

2Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. 3Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.

4Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” 5Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. 7Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” 8Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” 9Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”

10Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

12Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.18:13 mu biro ebyo, waaliwo ekibiina ekitono ekya Bakabona Abasinga Obukulu nga bakulemberwa Ana ne Kayaafa, abaafuganga Yerusaalemi. 14Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

15Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

17Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

18Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Kabona Asinga Obukulu Abuuza Yesu Ebibuuzo

19Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.

20Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama. 21Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”

22Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”

23Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?” 24Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.

Peetero Yeeyongera Okwegaana Yesu

25Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?”

N’abaddamu nti, “Nedda.”

26Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?” 27Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.

Yesu mu Maaso ga Piraato

28Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

32Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

33Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

34Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”

35Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”

36Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

37Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?”

Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

38Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango. 39Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”

40Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.