申命记 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 3:1-29

击败巴珊王噩

1“之后,我们前往巴珊巴珊率全军在以得来迎战我们。 2耶和华对我说,‘不要怕他,因为我已把他及其众民和土地交在你手中,你要像从前对付希实本亚摩利西宏一样对付他。’

3“我们的上帝耶和华把巴珊及其众民交在我们手中,我们杀了他们,一个不留。 4我们占领了亚珥歌伯全境,即巴珊的所有城邑,共六十座。 5这些城邑围墙高耸,门闩牢固。我们还占领了许多没有城墙的乡村。 6像对付希实本西宏一样,我们将这些城邑夷为平地,城中的男女老幼一个不留, 7只留下牲畜和财物作战利品。 8于是,我们攻占了约旦河东两个亚摩利王的土地,从亚嫩谷一直到黑门山—— 9西顿人称黑门山为西连亚摩利人称之为示尼珥—— 10攻占了高原的城邑、整个基列巴珊,远至巴珊的城邑撒迦以得来11巴珊是最后一个利乏音人。他的床是铁做的,存放在亚扪人的拉巴城,长四米,宽一点八米。

分配约旦河东之地

12“我们占领了这片土地后,我把亚嫩谷边的亚罗珥以北地区和基列山区的一半及其城邑,分给吕便支派和迦得支派, 13基列山区的另一半,以及的王国巴珊全境——整个亚珥歌伯分给玛拿西半个支派。巴珊地区又被称为利乏音人之地。 14玛拿西的子孙雅珥得到亚珥歌伯全境,远至基述人和玛迦人的边界。他按自己的名字给那地方取名叫哈倭特·雅珥,沿用至今。 15我又把基列分给玛吉16把从基列亚嫩谷,以谷中央为界,远至亚扪人的边界雅博河地区分给吕便支派和迦得支派。 17我还把亚拉巴,就是以约旦河为界,从基尼烈直到东面毗斯迦山脚的亚拉巴海,即盐海地区给了他们。

18“那时我吩咐他们,‘你们的上帝耶和华已经把这些地方赐给你们,但你们所有的战士必须带着兵器过河,做同胞的先锋。 19我知道你们有许多牲畜,你们的妻子、儿女和牲畜可以留在我分给你们的城邑。 20等你们的上帝耶和华使其他以色列人和你们一样有了安身之所,占领了耶和华赐给他们的约旦河西之地后,你们才可以返回我分给你们的家园。’ 21那时我吩咐约书亚,‘你们的上帝耶和华怎样对付那两个王,你都亲眼看见了。耶和华必以同样的方式对付你将去攻占的各国。 22不要怕他们,因为你的上帝耶和华将为你争战。’

摩西不得进入迦南

23“那时,我恳求耶和华,说, 24‘主耶和华啊,你已向仆人彰显你的伟大和权能,天上地下没有神明可与你相比! 25求你让我过去看看约旦河那边的佳美之地——那美好的山区和黎巴嫩。’ 26但因你们的缘故,耶和华向我发怒,不听我的恳求,祂对我说,‘够了,不要再跟我提这件事。 27你可以上毗斯迦山顶,向东南西北眺望,但你不可过约旦河。 28你要委任约书亚,勉励他,支持他,因为他必带领以色列人过河,占领你眺望的那片土地。’ 29当时,我们驻扎在伯·毗珥对面的谷中。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 3:1-29

Okuwangula Ogi Kabaka w’e Basani

1Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei. 2Naye Mukama n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”

3Bw’atyo Mukama Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu. 4Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 5Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge. 6Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna. 7Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.

8Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni. 9Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri. 10Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani. 11Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.

Okugabana Ensi

12Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu. 13Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa. 14Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri. 15Gireyaadi nagigabira Makiri. 16Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni. 17Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.

18Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani. 19Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi, 20okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”

21Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda. 22Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”

Musa Agaanibwa Okutuuka mu nsi Ensuubize

23Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti, 24“Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola? 25Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”

26Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo. 27Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani. 28Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.” 29Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.