撒母耳记下 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记下 3:1-39

押尼珥之死

1扫罗大卫两家长期争战,大卫家的势力越来越强,扫罗家却日益衰微。

2大卫希伯仑生的儿子有耶斯列亚希暖所生的长子暗嫩3迦密拿八的遗孀亚比该所生的次子基利押基述达买的女儿玛迦所生的三子押沙龙4哈及所生的四子亚多尼雅亚比她所生的五子示法提雅5大卫的妻子以格拉所生的六子以特念大卫的这些儿子都是在希伯仑生的。

6扫罗大卫两家争战期间,押尼珥扫罗家权势日增。 7他跟扫罗的一个妃嫔、艾押的女儿利斯巴通奸,伊施波设问他:“你为什么跟我父亲的妃嫔一起睡觉呢?” 8押尼珥听了非常愤怒,说:“难道我是犹大的走狗吗?我这样厚待你父亲扫罗家和他的亲人朋友,没有把你交给大卫,今天你竟为了一个女人来责备我! 9-10倘若我不照着耶和华应许大卫的誓言把扫罗的江山夺过来交给大卫,让他统治全以色列犹大,从别示巴,愿耶和华重重地惩罚我!”

11伊施波设一句话也不敢答,因为他害怕押尼珥

12押尼珥派使者送信给大卫,说:“这个国家难道不是你的吗?如果你与我立约,我必帮助你统一以色列。” 13大卫回答说:“好,但你一定要把扫罗的女儿米甲带来才能见我。” 14于是,大卫派使者去见扫罗的儿子伊施波设说:“请把我的妻子米甲送回来,因为她是我用一百个非利士人的包皮作聘礼娶来的。” 15伊施波设就派人把米甲从她丈夫——拉亿的儿子帕铁那里接回来。 16帕铁一路跟着米甲,边走边哭,一直到巴户琳押尼珥对他说:“你回去吧!”他就回去了。

17押尼珥以色列的长老商量说:“你们以前一直都希望大卫做你们的王, 18现在是时候了,因为耶和华曾说要借着祂仆人大卫的手,从非利士人和其他敌人手中拯救祂的以色列子民。” 19押尼珥也跟便雅悯人商谈,然后到希伯仑以色列人和便雅悯人的愿望告诉大卫20当时,他带了二十个人前往希伯仑大卫大卫就设宴款待他们。 21押尼珥大卫说:“我要为我主我王招聚所有的以色列人,跟你立约,你便可以如愿以偿,统治全以色列。”于是大卫为他送行,他就平安地回去了。

22大卫押尼珥离开后不久,约押就率领大卫的军队带着许多战利品凯旋而归。 23约押率领全军回来后,有人告诉他:“尼珥的儿子押尼珥刚才来朝见王,王送他平安地离去了。” 24约押听后,就去见王,说:“你这做的是什么事?押尼珥来见你,你为什么放他走呢? 25你要知道,尼珥的儿子押尼珥想来骗你,探听你的虚实。”

26约押大卫那里出来,派人去追押尼珥,他们在西拉井追上了他,把他带了回来。大卫对这件事一无所知。 27押尼珥回到希伯仑的时候,约押就把他带到城门的瓮洞,装作与他密谈,乘机用短剑刺入他的肚子,把他杀死了,为他兄弟亚撒黑报了仇。 28大卫听到消息就说:“耶和华作证,我和我的人民永远跟尼珥的儿子押尼珥的死无关。 29约押和他全家要承担这罪,愿他的后代永远有长疮的、患皮肤病的、拄拐杖的、被刀剑所杀的或挨饿的。” 30约押和他兄弟亚比筛之所以杀押尼珥,是因为押尼珥基遍杀了他们的兄弟亚撒黑

31大卫约押和部下说:“你们要撕裂衣服,腰束麻布,在押尼珥棺前哭丧!”大卫王也跟在棺后送葬。 32他们就把押尼珥葬在希伯仑大卫王和众人在墓旁大哭一场。 33大卫王哀悼押尼珥,说:

押尼珥啊!

你怎能死得糊里糊涂3:33 糊里糊涂”希伯来文是“像愚笨人”。呢?

34你的手没有被捆,

你的脚没有被锁,

你是死在阴险小人的手里啊!”

于是众人都为押尼珥哀哭。 35大卫整天没有进食,众人来劝他吃一点东西,但他起誓说:“我若在日落以前吃任何东西,愿上帝重重地惩罚我!” 36众人听见了,都很喜悦,王做的每一件事都令他们喜悦。 37那天全国的人都看出尼珥的儿子押尼珥的死与大卫无关。 38大卫王对他的随从说:“你们难道不知道今天以色列损失了一位伟大的将领吗? 39今天我虽然是耶和华所膏立的王,但仍势单力薄,无法对付洗鲁雅的两个儿子,愿耶和华报应他们的恶行。”

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 3:1-39

1Awo ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi n’akulaakulana, n’aba w’amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.

2Dawudi n’azaalirwa abaana aboobulenzi e Kebbulooni.

Omuggulanda yali Amunoni eyazaalibwa Akinoamu Omuyezuleeri,

3owookubiri yali Kireyaabu eyazaalibwa Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri,

n’owookusatu yali Abusaalomu eyazaalibwa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli3:3 Gesuli lyali ssaza lya Bwasuli, nga ttono; eyo Abusaalomu gye yaddukira (13:37-38; 14:23);

4n’owookuna yali Adoniya eyazaalibwa Kaggisi,

n’owokutaano yali Sefatiya eyazaalibwa Abitali;

5n’ow’omukaaga yali Isuleyamu, eyazaalibwa Egula mukyala wa Dawudi.

Abo be baazaalirwa Dawudi mu Kebbulooni.

Abuneeri Asala Eddiiro

6Entalo n’enkaayana nga zikyagenda mu maaso wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi, Abuneeri n’anyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo. 7Sawulo yalina omuzaana erinnya lye Lizupa muwala wa Aya. Isubosesi n’abuuza Abuneeri nti, “Lwaki weetaba n’omuzaana wa kitange?”

8Awo Abuneeri n’asunguwala nnyo olw’ekigambo Isubosesi kye yamugamba, n’amuddamu nti, “Nze mutwe gw’embwa ya Yuda? Mbadde wa kisa eri ennyumba ya kitaawo Sawulo, n’eri baganda be, ne mikwano gye, ne sibawaayo mu mukono gwa Dawudi. Kaakano onteekako omusango olw’omukazi oyo. 9Katonda akole Abuneeri bw’atyo n’okukirawo, bwe siituukirize ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi, 10okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n’okunyweza entebe ey’obwakabaka eya Dawudi okufuga Isirayiri ne Yuda okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba3:10 Okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba ebigambo ebyo byakozesebwanga okulaga ensi ya Isirayiri gye yali ekoma, ng’eva mu bukiikakkono obw’ewala ennyo okutuuka mu bukiikaddyo obw’ewala ennyo.” 11Isubosesi n’ataŋŋaanga kwanukula Abuneeri kigambo kirala, olw’okumutya.

12Awo Abuneeri n’atumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi y’ani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.” 13Dawudi n’ayogera nti, “Kirungi. Nzija okukola endagaano naawe. Naye ekintu kimu kye nkusaba. Tojja mu maaso gange okuggyako ng’ojja ne Mikali muwala wa Sawulo, ng’ojja okundaba.” 14Awo Dawudi n’atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng’agamba nti, “Mpa mukyala wange Mikali gwe nayogereza n’ebikuta ekikumi eby’Abafirisuuti.”

15Amangwago Isubosesi n’alagira, bamuggye ku bba Palutiyeri mutabani wa Layisi. 16Naye bba we n’abagoberera, nga bw’akaaba okutuukira ddala, e Bakulimu. Abuneeri n’amugamba nti, “Ddayo eka. N’addayo.”

17Abuneeri n’ateesa n’abakadde ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Mumaze ebbanga nga mwagala okufuula Dawudi kabaka wammwe. 18Kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yasuubiza Dawudi nti, ‘Ndirokola abantu bange Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna, nga nkozesa omuddu wange Dawudi.’ ”

19Abuneeri n’agenda n’eri Ababenyamini n’ayogera nabo, n’oluvannyuma n’agenda n’ategeeza Dawudi e Kebbulooni, ebyo byonna Isirayiri n’ennyumba ya Benyamini bye baasalawo okukola. 20Awo Abuneeri n’agenda n’abasajja amakumi abiri ewa Dawudi e Kebbulooni, Dawudi n’abategekera embaga nnene. 21Abuneeri n’agamba Dawudi nti, “Ka ŋŋenderewo mukama wange Kabaka, nkuŋŋaanye Isirayiri yenna, bakole endagaano naawe, obafuge ng’omutima gwo bwe gunaasiima.” Awo Dawudi n’asindika Abuneeri agende, n’agenda mirembe.

Yowaabu Atta Abuneeri

22Awo abasajja ba Dawudi ne bakomawo ne Yowaabu, nga baleese omunyago munene ddala. Naye we baakomerawo nga Abuneeri takyali ne Dawudi e Kebbulooni, kubanga yali amusiibudde agende mirembe. 23Yowaabu n’eggye lyonna bwe baatuuka, Yowaabu n’ategeezebwa nga Abuneeri mutabani wa Neeri bwe yazze eri kabaka, naye kabaka n’amusiibula, n’agenda mirembe.

24Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Wakoze ki ekyo, okuleka Abuneeri n’agenda? 25Okimanyi nga Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze okukubuzaabuza, n’okuketta ennyingira yo n’enfuluma yo, ne byonna by’okola?”

26Yowaabu n’ava mu maaso ga Dawudi, n’atuma ababaka okugoberera Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira, naye Dawudi n’atakimanya. 27Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n’amutwala ku bbali w’omulyango, ne yeefuula ng’ayogera naye mu kyama, n’amufumita mu lubuto n’afa. Ekyo Yowaabu y’akikola okumusasula olw’omusaayi gwa Asakeri muganda we.

28Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n’ayogera nti, “Nze n’obwakabaka bwange tetulivunaanibwa ennaku zonna mu maaso ga Mukama olw’omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri. 29Omusaayi gwe gubeerenga ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba ya kitaawe, era mu nnyumba ya Yowaabu mulemenga okubulamu omuziku newaakubadde omugenge, newaakubadde omulema newaakubadde alifa n’ekitala, newaakubadde alibulwa emmere.”

30Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne batta Abuneeri kubanga yatta muganda waabwe Asakeri mu lutalo e Gibyoni. 31Awo Dawudi n’agamba Yowaabu n’abantu bonna abaali naye nti, “Mwambale ebibukutu, mukungubagire mu maaso ga Abuneeri.” Kabaka Dawudi yennyini n’atambulira emabega w’essanduuko omwali omulambo. 32Abuneeri n’aziikibwa e Kebbulooni, kabaka n’akaaba n’eddoboozi ddene awamu n’abantu bonna ku ntaana ya Abuneeri.

33Kabaka n’akungubagira Abuneeri, ng’agamba nti,

“Abuneeri teyandifudde ng’omusirusiru bw’afa.

34Emikono gyo tegyasibibwa, so

n’ebigere byo tebyateekebwa mu masamba.

Ng’omuntu bw’agwa mu maaso g’abo abatali batuukirivu, bwe wagwa bw’otyo.”

Abantu bonna ne bamukungubagira.

35Oluvannyuma bonna ne bagezaako okuwaliriza Dawudi alye ku mmere ng’obudde bukyalaba, naye n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna, okutuusa enjuba ng’emaze okugwa.”

36Awo abantu bonna ne bakitegeera era ne kibasanyusa. Byonna kabaka bye yakolanga ne bisiimibwanga abantu. 37Era ku lunaku olwo abantu bonna ne Isirayiri yenna ne bategeera nga kabaka teyasiima kuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.

38Awo kabaka n’agamba abantu be nti, “Temumanyi nga leero mu Isirayiri mufuddemu omukungu era omusajja omuzira? 39Era leero, newaakubadde nga nze kabaka eyafukibwako amafuta, ndimunafu olw’abaana ba Zeruyiya abampitiriddeko obukakanyavu. Mukama asasule bw’atyo omukozi w’ebibi olw’ebikolwa bye!”