希伯来书 10 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

希伯来书 10:1-39

永远的赎罪祭

1律法只是将来美事的一个投影,并非本体的真像,所以年复一年的献祭不能使前来敬拜的人纯全。 2否则,献祭的事早已终止了,因为敬拜的人若献一次祭就能彻底得到洁净,他们就不再觉得有罪了。 3然而,每年献祭的事都使人想起自己的罪来, 4因为公牛和山羊的血根本不能除去人的罪。

5所以,基督来到世上的时候曾说:

“上帝啊,祭物和供物非你所悦,

你为我预备了身体。

6你并非喜爱燔祭和赎罪祭。

7于是我说,

‘上帝啊,我来是要遵行你的旨意,

我的事都记在圣经上了。’”

8基督首先说:“祭物、供物、燔祭和赎罪祭都不是你想要的,也不是你喜悦的。”这些都是依照律法献上的。 9然后祂又说:“我来是要遵行你的旨意。”这样,祂废除了前者,为要设立后者。 10上帝的旨意是:耶稣基督只一次献上自己的身体,便使我们永远圣洁了。

11祭司都要天天站着供职,一次次地献上同样的祭物,只是这些祭物根本不能除罪。 12而基督一次献上自己成为永远的赎罪祭后,就坐在上帝的右边, 13等待祂的仇敌成为祂的脚凳。 14祂凭自己的一次牺牲,使那些得以圣洁的人永远纯全。

15圣灵也向我们做见证,说:

16“主说,那些日子以后,

我将与他们立这样的约,

我要把我的律例放在他们心中,

写在他们脑中。

17我要忘记他们的过犯和罪恶。”

18既然过犯和罪恶已经得到赦免,就不需要再为罪献祭了。

坚忍到底

19-20弟兄姊妹,耶稣已用宝血为我们开辟了一条又新又活的路,使我们可以穿过幔子,就是祂的身体,坦然进入至圣所。 21并且,我们有一位大祭司管理上帝的家, 22祂洁净了我们被罪困扰的良心,用清水洗净了我们的身体。因此,我们要信心十足、真诚地到上帝面前。 23我们要坚定不移地持守我们所认定的盼望,因为赐应许的那位是信实的。 24我们要想办法彼此相顾,激发爱心,勉励行善。 25不要停止聚会,像那些停止惯了的人,要互相鼓励,特别是你们知道主再来的日子近了。

26因为我们知道了真理以后,若仍然故意犯罪,就再没有赎罪祭了, 27只有可怕的审判和烧灭敌对者的烈火等候我们。 28人违犯摩西的律法,经两三个人指证后,尚且被毫不留情地处死, 29更何况人践踏上帝的儿子,轻看那使人圣洁的立约之血,又藐视赐人恩典的圣灵?这等人该受多么重的刑罚啊! 30我们知道上帝说过:“申冤在我,我必报应。”祂又说:“主要审判祂的百姓。” 31落在永活上帝的手中是可怕的!

32你们要回想当初的日子,那时你们蒙了光照以后,忍受了各种苦难的煎熬。 33有时候,你们在众目睽睽之下被辱骂,受迫害;有时候,你们和遭受这样苦难的人同舟共济。 34你们体恤那些坐牢的人,即使你们的家业被抢夺,仍然甘心忍受,因为你们知道自己有更美的、永远长存的家业。 35所以切勿失去勇敢的心,因为勇敢的心会给你们带来大赏赐。 36你们需要坚忍到底,这样你们遵行了上帝的旨意后,便可以得到祂的应许。

37因为“将要来临的那位很快要来了,绝不迟延。 38属我的义人必靠信心而活。他若畏缩退后,我必不喜悦他。” 39但我们都不是退后走向灭亡的人,而是因为有信心而灵魂得救的人。

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 10:1-39

Kristo Yeewaayo Omulundi Gumu ku lwa Bonna

1Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 3Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 4Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.

5Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,

“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.

Naye wanteekerateekera omubiri.

6Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,

tewabisiima.

7Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:

Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

8Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, 9n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

11Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.

15Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,

16“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,

oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.

Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,

era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

17Ayongerako kino nti,

“Sirijjukira nate bibi byabwe

newaakubadde obujeemu bwabwe.”

18Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.

Obugumiikiriza

19Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

32Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.

35Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

37Wasigadde akaseera katono nnyo,

oyo ow’okujja ajje era talirwa.

38Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,

kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

39Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.