士师记 20 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 20:1-48

讨伐基比亚

1于是,从别示巴以及基列的全体以色列人万众一心,来到米斯巴,聚集在耶和华面前。 2以色列各支派的首领都参加了这次上帝子民的聚会,当时有四十万持刀的步兵。 3便雅悯人也听见以色列人聚集在米斯巴的消息。以色列人问那个利未人:“请告诉我们,这件邪恶的事是怎么发生的?” 4利未人,就是被害女子的丈夫说:“我和我的妾到便雅悯基比亚住宿。 5那天晚上,基比亚人包围我们住宿的房子,要杀死我。他们把我的妾蹂躏致死。 6我就把她的尸体切成块,送到以色列的各个地区,让以色列人都知道基比亚人做了邪恶、无耻的事。 7以色列人啊,你们看该怎么处理吧!”

8众人起来异口同声地说:“我们谁也不回帐篷,谁也不回家。 9现在我们要抽签去攻打基比亚10我们要从各支派中抽出十分之一的人负责运粮,等军队到达基比亚后,就可以讨伐在以色列做出这种卑鄙之事的基比亚人。” 11于是,以色列人团结一致,一起去攻打那城。

12他们派人去对便雅悯各地的人说:“你们中间怎么发生了这种邪恶的事! 13现在把那些基比亚的无赖交出来,我们要处死他们,从以色列铲除罪恶。”便雅悯人却充耳不闻, 14还从各城聚集到基比亚以色列人打仗。 15便雅悯人从各城召集了两万六千刀兵,还从基比亚召集了七百精兵。 16军中有七百精兵善用左手甩石,毫发不差。 17其他十一个以色列支派则召集了四十万善战的刀兵。

18以色列人到伯特利去求问上帝,说:“我们当中哪个支派应当先去攻打便雅悯人呢?”耶和华说:“犹大支派。”

19第二天清早,以色列人就在基比亚附近安营, 20摆开阵势,准备攻打便雅悯人。 21便雅悯人从基比亚出来,当天杀了以色列军两万二千人。 22以色列人重整士气,仍在第一天列阵的地方列阵。 23列阵之前,他们在耶和华面前一直哀哭到晚上。他们求问耶和华,说:“我们应该再去攻打我们的同胞便雅悯人吗?”耶和华说:“可以去。”

24第二天,以色列人前去攻打便雅悯人。 25便雅悯人从基比亚出来迎战,又杀了以色列军一万八千刀兵。 26以色列全军来到伯特利,坐在耶和华面前哀哭,那天他们一直禁食到晚上,又在耶和华面前献上燔祭和平安祭。 27-28那时,上帝的约柜就在那里,亚伦的孙子、以利亚撒的儿子非尼哈任祭司。以色列人求问耶和华,说:“我们应该再去攻打我们的同胞便雅悯人吗?还是退兵?”耶和华说:“去攻打吧,因为明天我必把他们交在你们手中。”

29以色列人在基比亚周围设下伏兵。 30第三天,以色列人又像前两次一样在基比亚列阵,攻打便雅悯人。 31便雅悯人前来迎战,被以色列人诱到城外。他们又像前两次一样击杀以色列人,大约三十名以色列人死在通往基比亚伯特利的两条路上。 32便雅悯人说:“我们又打败他们了。”但以色列人已经商议好,用诈败的方法诱敌离城到大路上来。 33以色列全军在巴力·他玛列阵反攻,埋伏在基比亚西面的以色列人也冲了出来。 34有一万以色列精兵从正面攻打基比亚,战事非常激烈。便雅悯人大祸临头了仍懵然不知。 35耶和华帮助以色列人战胜了便雅悯人。那天,以色列人杀了便雅悯两万五千一百刀兵。 36便雅悯人这才意识到自己战败了。

原来以色列人在便雅悯人面前诈败,因为他们已在基比亚附近设下伏兵。 37那些伏兵迅速冲进基比亚,杀了全城的人。 38以色列人和伏兵已有约定,伏兵在城内点起一股浓烟时, 39以色列人便转身杀回。便雅悯人杀了诈败的以色列军大约三十人,以为像以前一样打败了他们。 40这时基比亚城已浓烟滚滚,便雅悯人回头观望,只见全城浓烟四起。 41以色列人转身杀了回来,便雅悯人大惊失色,知道大祸临头了。 42他们从以色列人面前转身逃往旷野,却无法逃脱。以色列人从各城出来夹攻他们。 43以色列人围攻便雅悯人,一路追杀他们直到基比亚的东边。 44便雅悯人共死了一万八千名勇士。 45余下的人都逃往旷野的临门岩,沿途有五千人被杀。以色列人追杀他们,一直追到基顿,又消灭了他们两千人。 46那天,便雅悯人共死了两万五千名英勇的刀兵, 47只有六百人逃到了临门岩,在那里住了四个月。 48以色列人回师便雅悯境内,将各城的男女老少以及牲畜全部杀死,又放火烧毁所有的城邑。

Luganda Contemporary Bible

Balam 20:1-48

Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini

1Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. 2Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. 3Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”

4Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. 5Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. 6Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. 7Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”

8Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. 9Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. 10Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” 11Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.

12Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? 13Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”

Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. 14Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. 15Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. 16Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.

17Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. 18Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”

19Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. 20Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. 21Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. 22Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. 23Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”

24Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. 25Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.

26Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. 27Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga Essanduuko ey’Endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, 28nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”

29Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 31Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.

32Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 33Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 34Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 35Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 36Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.

Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 37Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 38Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, 39abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.

Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” 40Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. 41Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. 42Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. 43Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. 44Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. 45Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.

46Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. 47Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. 48Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.